bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Job 19
Job 19
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 20 →
1
Yobu n'ayanukula n'agamba nti:
2
“Munaatuusa wa okunnyiikaaza, n'okunseseggula n'ebigambo?
3
Guno gwa kkumi nga munkolokota, temukwatibwa nsonyi kungigganya.
4
Oba ddala nawubwa, ensobi yange esigala mutawaana gwange.
5
“Bwe mwagala okulaga bwe munsinga, ne mweyamba obunaku bwange okunvunaana,
6
mumanye nti Katonda annyigirizza, annyambise ekitimba kye.
7
“Ne bwe ndeekaana nti: ‘Nnyigiriziddwa,’ siddibwamu; ne bwe mpanjaga, tewali annejjeereza.
8
Atadde emisanvu mu kkubo lyange, siyinza kuyitawo; akakubo kange akabuutikidde enzikiza.
9
Annyambudde ekitiibwa kyange, engule aginzigye ku mutwe.
10
Antaaguddetaagudde ku njuyi zonna, nzigwawo, essuubi lyange alisimbudde ng'asimbula omuti.
11
Obuswandi bwe bunneesererako, ambala ng'omu ku balabe be.
12
Amagye ge gataze n'amaanyi, gakutte ekkubo lyago okunnumba, weema yange gagizinze okugyetooloola.
13
“Baganda bange abangobyeko, n'abamanyi banjawukanyeeko.
14
Abeŋŋanda bandeseewo, ne mikwano gyange banneerabidde.
15
Abagenyiwadde ewange n'abazaana bampisa ng'ow'ebweru; mu maaso gaabwe nninga omugwira.
16
Omuweereza wange bwe mmuyita, tannyanukula, nnina kumwegayirira na kamwa kange.
17
Omukka gwe nzisa mukazi wange agwenyinyala, abaana ba nnyabo mbawunyirira.
18
N'obwana obulenzi bungaya, bwe nsituka nga bunjooga.
19
Mikwano gyange enfiirabulago banneetamwa; be njagala banneefuulidde.
20
Ennyama yange n'olususu bikwatidde ku magumba gange, nnyama ya kibuno yokka gye nsigazza.
21
“Munsaasire, munsaasire, mmwe mikwano gyange, kubanga omukono gw'Omukama gunkubye.
22
Lwaki munjigganya nga Katonda? Temukkuta nnyama yange?
23
“Singa nno ebigambo byange biwandiikibwa, singa nno bissiddwa mu kitabo,
24
oba ne byolebwa n'ekyuma ku lubaati, oba ne byolebwa ku lwazi emirembe gyonna!
25
Mmanyi nti Omununuzi wange mulamu, mu luvannyuma aliyimirira ku nfuufu.
26
Newandibadde ng'olususu luno lumaze okwonooneka, awatali mubiri gwange, ndiraba Katonda;
27
ndimulaba nze nzennyini, n'amaaso gange ndimwerolera, si mulala wabula nze. Omutima gwange nga guyaayaana mu nze munda!
28
“Bwe mugamba nti: ‘Tumuyigganye tutya? Anti ensibuko y'emitawaana gye eri mu ye,’
29
mwennyini mwanditidde ekitala, kubanga obusungu bubonereza na kitala; olwo mulimanya nti eriyo okulamula.”
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42