bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Job 10
Job 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 11 →
1
“Neetamiddwa obulamu bwange; n'olw'ekyo ka mpe ebbeetu okwemulugunya kwange, ka njogere nga nzigya mu kunyolwa kw'omu mutima gwange.
2
Nzija kugamba Katonda nti: ‘Tonsalira musango; ntegeeza ky'onvunaana.
3
Okunyigiriza kikuyamba, n'okanyuga eri omulimu gw'emikono gyo, n'oseka busesi ku biteeso by'ababi?
4
Amaaso g'olina ga mubiri? Olaba ng'omuntu bw'alaba?
5
Ennaku zo ziri ng'ez'omuntu, n'emyaka gyo giri ng'egigye,
6
kyova owenja ensobi zange, n'onoonyereza ekibi kyange,
7
sso ng'omanyi siriiko musango era nga mpaawo ayinza kunnunula mu mikono gyo?
8
Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola, kati oneefuula n'onsanyaawo?
9
Jjukira nti wammumba ng'ebbumba, kati ate oyagala onzizeeyo mu nfuufu?
10
Tewanfukumula ng'amata, n'onkwasa wamu nga bbongo,
11
n'onnyambaza olususu n'ennyama, n'onduka n'amagumba n'ebinywa?
12
Wampa obulamu, n'ondaga ekisa, mu bulabirizi bwo okuuma omwoyo gwange.
13
Naye kino wakikisa mu mutima gwo, mmanyi nti okirina mu mwoyo gwo:
14
Nti bwe mba nkoze ekibi, ontunuulira; toganya kibi kyange kusigala nga tekibonerezeddwa.
15
Bwe mba omusobya, zinsanze! Ne bwe sandibadde na musango, sandiyimusizza mutwe gwange, Kubanga nzijudde ensonyi, nebbise mu nnaku zange.
16
Bwe neewanika, onjigga ng'omwana gw'empologoma, n'oyoleka amaanyi go ageewuunyisa ku nze.
17
Oleeta abajulirwa abaggya bannumirize, n'oyongera okunsunguwalira; n'onsindikira amagye go, limu ku ddala.
18
Wanzigyira ki mu lubuto? Singa nno nafa nga tennaba liiso lindaba!
19
Singa nno saabererawo ddala, oba singa olwava mu lubuto ne ntwalibwa mu ntaana!
20
Obunaku buti obw'obulamu bwange tebuweddeeko? Kyukira eri, nfuneko ku kalembereza ak'essanyu,
21
nga sinnagenda gye batadda, mu nsi y'ekizikiza n'ekisiikirize eky'olumbe,
22
ensi ey'ekizikiza ekikutte be zigizigi, ey'ekisiikirize ky'olumbe n'obutabangufu, ekitangaala gye kyaka naye ne kiba ng'ekizikiza.’ ”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42