bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Job 27
Job 27
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 28 →
1
Era Yobu n'atoolera n'olugero lwe, n'agamba nti:
2
“Mazima Omukama nga mulamu, eyanzigyako eddembe lyange, Omuyinza wa buli kantu eyaleeta ennyiike mu mwoyo gwange,
3
ebbanga lyonna nga nkyalimu obulamu, n'omukka gwa Katonda nga gukyandi mu nvumbo,
4
emimwa gyange tegigenda kwatula bubi, yadde olulimi lwange okwogera eby'obulimba.
5
Kikafuuwe nze okukkiriza nti mmwe batuufu; okutuusa okufa sigenda kuva ku bulungi bwange.
6
Obutuukirivu bwange kwe nnyweredde era sigenda kubuta, emmeeme yange tegenda kunvunaana obulamu bwange bwonna.
7
“Ansitukiddemu abeere ng'omubi; abampalana babe ng'abatali batuufu.
8
Omwonoonyi bw'asalwako, aba akyasuubira ki, nga Katonda amuggyeko obulamu bwe?
9
Katonda agenda kuwulira omulanga gwe ennaku bw'eriba emugwiridde?
10
Yadde alisanyukira mu Muyinza wa buli kantu? Alikoowoola Katonda obudde bwonna?
11
“Nzija kubayigiriza ku buyinza bwa Katonda; Ebiri n'Omuyinza wa buli kantu sijja kubikisa.
12
Byonna nammwe mwennyini mubyerabiddeko. Kale lwaki mwogera ebitaliimu?
13
“Guno gwe mugabo gw'omubi okuva ewa Katonda, abakambwe kye basikira ew'Omuyinza wa buli kantu:
14
abaana be ne bwe balyala batya, balifa kitala; ne bazzukulu be tebalikkuta mmere.
15
Ababe abalisigalawo kawumpuli alibaziika, ne bannamwandu baabwe tebalibakaabira.
16
Ne bw'alituuma ffeeza omungi okwenkana enfuufu, n'ebyambalo okwenkana entuumu y'obudongo,
17
by'ategese batuukirivu be balibyambala, ne ffeeza abataliiko musango be balimwegabanira.
18
Ennyumba gy'azimba eri ng'ey'ennyenje, eri ng'ekikaabugo omukuumi ky'assaawo.
19
Yeebaka nga mugagga, naye gwe gusemba; bw'azibula amaaso ge, nga tewakyali kantu.
20
Entiisa emukwatirizza ng'omujjuzo; omuyaga gumwerawo ekiro.
21
Empewo y'ebuvanjuba emutwala, ng'oyo agenze; emukunguzza okuva mu kifo kye.
22
Emufuuwa awatali kusaasira, ng'agezaako okudduka amaanyi gaayo.
23
Emukwasa n'emikono gyayo, emufuuwa okuva mu kifo kye.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42