bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Job 31
Job 31
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 32 →
1
“Nakuba endagaano n'amaaso gange, obutatunuulira mbeerera.
2
Omugabo gwange gwe guluwa ewa Katonda waggulu eyo, busika ki ew'Omuyinza wa buli kantu waggulu eyo?
3
Si kuzikirira kw'ababi, na kacwano eri abo abeeyisa obubi?
4
Teyekkaanya makubo gange, n'abala n'enta zonna ez'ebigere byange?
5
“Oba natambulira mu bulimba, oba nalandukira eby'obukumpanya,
6
ampime mu minzaani entuufu, Katonda ajja kulaba bwe siriiko musango.
7
“Oba ebigere byange byawubako ku kkubo, oba omutima gwange gwatwalirizibwa amaaso gange, oba amabala gaakwata emikono gyange,
8
abalabe bange balye bye nasiga, n'ebirime byange bikuulibwe.
9
“Oba omutima gwange gwali guseemezeddwa omukazi, oba naliimisa ku mulyango gwa munnange,
10
kale mukazi wange aseerere omusajja omulala, n'abasajja abalala beebake naye.
11
Anti ekyo kyandibadde kya nsonyi, omusango ogwanditwaliddwa mu mbuga;
12
omuliro ogukavvula okutuusa ku kuzikirira, ogwandisimbudde buli kye nnina.
13
“Oba nagaana okuwulira omuddu wange n'omuzaana nga banninako ensonga,
14
ndikola ntya nga Katonda asituse okunnamula, ndimwanukula ki bwe ndisabibwa okuwoza?
15
Eyankola mu lubuto si ye yakola na bali? Si ye omu eyatubumba ffembi mu mbuto za bannyaffe?
16
“Oba abaavu saabawa kye baali baagala, oba naleka amaaso ga nnamwandu ne gamuyimbaala,
17
oba nalya akagaati kange mu nkiso, ne sigabanyizaako nfuuzi,
18
naye ng'okuva mu buvubuka bwange namugunjula nga kitaawe, n'okuva mu lubuto lwa nnyabo namulambika,
19
oba nalaba afa olw'obutaba na kyakwambala, oba omwavu atalina kya kwebikka,
20
omutima gwe ne gutansabira mukisa, olw'okumubugumya n'ebyoya by'endiga zange,
21
oba nagololera omukono gwange ku nfuuzi, nga ndaba ku mulyango endiyo obuyambi,
22
omukono gwange guweekuke ku kibegabega, gumenyekeko mu nnyungiro.
23
Kubanga okuzikirira okuva ewa Katonda kwantiisa; olw'okutya ekitiibwa kye ebyo saabikola.
24
“Obanga mu zaabu mwe nassa essuubi lyange, oba nagamba zaabu omuwawule nti: ‘Ggwe bwesige bwange,’
25
oba nasanyukira obugagga bwange obungi, ebirungi emikono gyange bye gyafuna,
26
oba nalaba enjuba bw'etangalijja, n'omwezi bwe guseeyeeya mu kitiibwa kyagwo,
27
omutima gwange ne gulimbibwalimbibwa, omukono gwange ne gubinywegera,
28
na bino ebibi byanditwaliddwa mu mbuga, kubanga Katonda ali waggulu mmwegaanyi.
29
“Oba nasanyukira ennaku y'omulabe wange, ne njaganya kubanga akabi kamujjidde __
30
saaleka kamwa kange kwonoona, bwe sadda awo kuvumirira bulamu bwe __
31
oba abasajja b'omu weema yange tebagamba nti: ‘Ani atalidde kukkuta ku nnyama ye?’
32
naye tewali muyise yasula bweru, kubanga omulyango gwange gwaggulirwanga buli mutambuze
33
oba nakweka ekibi kyange ng'omuntu bw'akola, nga nkweka omusango gwange mu mutima gwange,
34
oba bwe nalaba obunene bw'ekibiina, n'entya okugayibwa ab'ekika, wabula ne nsirika busirisi, ne sibuuka mulyango kufuluma
35
(Singa nalina nno ampuliriza? Ako ke kabonero kange. Omuyinza wa buli kantu annyanukule. Annumiriza asse empaaba ye mu buwandiike.
36
Nandigyambalidde ku kibegabega kyange, nandigyetisse ng'engule.
37
Nandimunnyonnyodde buli kigere kye nsimbula; nandimusemberedde ng'oweekitiibwa) __
38
oba ettaka lyange lireekaana nga linvunaana, ng'empangi zaalyo zonna zikaaba,
39
oba bye libaza nabirya nga sisasudde, ne nnyiikaaza omutima gwa nnannyini lyo,
40
mu kifo ky'eŋŋano amatovu ge gaba gamerawo, oba omuddo mu kifo kya sayiri.” Ebigambo bya Yobu biweddeyo.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42