bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Job 20
Job 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 21 →
1
Naye Zofari ow'e Naame n'ayanukula n'agamba nti:
2
“Ebirowoozo byange bitabanguse ne bimpaliriza okwanukula, kubanga ntawaanyiziddwa.
3
Mpulidde by'onvunaana ebimpeebuula, omutima gwange ne gunsindika nnyanukule.
4
“Kino okimanyi okuva mu masooka, okuva omuntu lwe yateekebwa ku nsi,
5
nti okujaguza kw'ababi kwa kabanga bubanga, essanyu ly'abeeyisa obubi limala kaseera buseera.
6
Okwekuza kwe ne bwe kulituuka ku ggulu, omutwe gwe ne gukoona ku bire,
7
alizikirira emirembe gyonna okufaanana obubi bwe; abaamulaba balibuuza nti: ‘Aluwa?’
8
Abulawo ng'ekirooto, talidddamu kuzuuka; agobeddwawo ng'okulabikirwa kw'ekiro.
9
Eriiso erimulabye, teririmulaba nate, n'ekifo kye tekiriddayo kumutunuulira.
10
Abaana be baliriyira abaavu; emikono gye girizzaayo bye yalina.
11
Amaanyi g'obuvubuka bwe agaali mu magumba ge galyebaka naye mu nfuufu.
12
“Newandibadde ekibi kituŋŋununa mu kamwa ke, ng'akikweka wansi w'olulimi lwe,
13
newandibadde nga tasobola kukkiriza n'akireka, wabula akikisiza mu kamwa ke,
14
naye emmere ye erimukaayirira mu lubuto, erifuuka busagwa bwa ssalambwa munda mu ye.
15
Alyegoga obugagga bwe yamirungusa, Katonda olubuto lwe alirubusesemya.
16
Alinuuna obusagwa bw'amasalambwa, olulimi lw'enswera lulimutta.
17
Taliraba ku bugga bukulukuta muzigo, n'obwala bw'engezi y'omubisi gw'enjuki n'amata.
18
Bye yatuuyanira alibizzaayo nga taliddeeko; amagoba g'aggye mu by'atunze taligeesiimiramu.
19
Kubanga yatulugunya abaavu n'abaleka ttayo; yanyaga amayumba g'ataazimba.
20
“Mazima taliweerako mu kwoya kwe; tasobola kwewonya na bugagga bwe.
21
Tasigazizza kantu ka kulya; awo nno emikisa gye tegiribeerera.
22
Ne mu bugagga obungi mw'ali, ennaku zirimusanga, bwonna obulumi bw'okubonaabona bulimugwira.
23
Ng'amaze okujjuza olubuto lwe, Katonda alita obusungu bwe ne bumwesererako, n'amuyiriba emiggo gye.
24
Alidduka ebyokulwanyisa eby'ekyuma, naye akasaale ak'ekikomo ne kamufumita.
25
Akasaale kasozze ne kafulumira mu mugongo gwe, n'olulimi lwako olumyansa luyise mu kibumba kye; entiisa emujjudde.
26
Enzikiza ekutte erindiridde obugagga bwe; omuliro ogutawujjiddwa gulimusenkenya, gulisenkenya buli ekisigalidde mu weema ye.
27
Eggulu liryoleka okusobya kwe, n'ettaka lirimusitukiramu.
28
Omujjuzo gulikuluggusa ennyumba ye, amataba ku lunaku lw'obuswandi bwa Katonda.
29
Ogwo gwe mugabo Katonda gw'aliwa ababi, obusika Katonda bw'abategekedde.”
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42