bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Job 4
Job 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 5 →
1
Elifazi ow'e Temani n'ayanukula n'agamba nti:
2
“Singa oli aneetambaala okwogera naawe, onookaluubirirwa? Naye ani akyasobola okwekuuma obutayogera?
3
Lowooza bwe wayigiriza abangi, n'emikono egiragaya nga bwe wagigumya.
4
Ebigambo byo byanyweza abanafuye, wagumya entegetege be zifambye.
5
Naye kati ekizibu bwe kikujjidde, okaluubiriddwa; bwe kikwezinzeeko, otidde.
6
Okutya kwo Katonda wo si kwe kwandikubeeredde obwesige bwo, n'amakubo go amalungi essuubi lyo?
7
Jjukira: ani ataliiko musango eyali azikiridde? Wa abatuufu gye baali bamaliddwawo?
8
Nze nga bwe ndabye: abo abeeyisa obubi, abo abasiga akabi, ke bakungula.
9
Katonda bw'assa omukka, nga bazikirira; olufuuwa obuswandi bwe, nga basaanawo.
10
Empologoma ensajja ewuluguma, n'enkazi ekaaba, amannyo g'obuwologoma obuto ne gamenyekamenyeka.
11
Empologoma yazikirira, kubanga teyalina ky'erya, n'obwana bw'empologoma ne bubuna emiwabo.
12
“Ekigambo kya ndeeterwa mu bubba, okutu kwange kwawulira nga kyogerwa mu kaama.
13
Mu kutaataaganya kw'ebirooto mu kiro, otulo otungi we tukwatira abantu,
14
okutya kwankwata ne njugumira, amagumba gange gonna ne gakankana.
15
Omwoyo gwayita mu maaso gange, obwoya ku mubiri gwange ne bujagalala.
16
Gwayimirira awo, naye saasobola kutegeera nfaanana yaagwo; gwandabikira mu maaso gange, ne mpulira akaloboozi akasiiya nti:
17
‘Omuntu obuntu ayinza okusinga Katonda mu butuukirivu? Omuntu ayinza okuba omutukuvu okusinga Eyamukola?’
18
Oba Katonda teyeesiga baweereza be, ne mu bamalayika be ng'asangamu ensobi,
19
leero alabisa bano, abasula mu nnyumba ez'ebbumba, emisingi gyazo agisimbye mu nfuufu, ababetenteka amangu n'okusinga ennyenje!
20
Okuva enkya okutuusa akawungeezi babetentebwa, bazikirira ennaku zonna nga tewali n'ategedde.
21
Weema zaabwe tezibaweekuddwako, ne bafa nga tebaliimu na ggezi?”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42