bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Job 36
Job 36
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 37 →
1
Eliwu n'ayongera n'agamba nti:
2
“Ŋŋumiikirizaako katono, nzija kukunnyonnyola, nkyalinayo bye njogera ku lwa Katonda.
3
Amagezi gange ngaggya wala; Eyankola y'ampa obutuukirivu bwange.
4
Kikakafu ebigambo byange temuli bulimba; ow'amagezi amatuufu gw'oli naye kati.
5
“Katonda wa buyinza; naye tanyooma; wa maanyi, wa buyinza ne mu mutima.
6
Ababi tabaleka kulama; sso abeegose abakuumira ebyabwe eby'obwebange.
7
Amaaso ge tagaggya ku mutuukirivu; abassa ku nnamulondo wamu ne bakabaka, n'abagulumiza ennaku zonna.
8
Naye bwe basibibwa empingu, ne baliggyibwa emiguwa gy'okubonaabona,
9
abalaga bye baakola n'emisango gyabwe, nti baayonoona olw'okwekuza kwabwe.
10
Aggula amatu gaabwe, abalabule, n'abalagira bave mu bubi.
11
Bwe bawulira ne bamuweereza, ennaku zaabwe ezisigadde balizimala bulungi, n'emyaka gyabwe mu kusanyuka.
12
Naye bwe batawulira, balifa ekitala, ne bafiira mu butategeera.
13
Aboonoonyi tebaggwaako ssungu ku mutima, ne bw'abasiba amasamba tebaliwanjaga kuyambibwa.
14
Bafiira mu buvubuka, mu bamalaaya abasajja ab'omu biggwa.
15
Sso ababonaabona abawonya ennaku yaabwe, ayogera nabo mu bunaku bwabwe.
16
“Akuwooyawooya akuggye mu mannyo g'obulemu, akutwale awagazi awatali kwenyiga, ku mwaliiro okuli ebyokulya ebya ssava.
17
Naye kati olamulibwa ng'omubi; okulamulibwa n'omusango bikukwatirizza.
18
Wegenderezanga oli n'atakuguya na bugagga; enguzi ennyingi tekuwugulanga.
19
Okuwanjaga kwo kulikuggya mu bizibu, oba okufuba n'amaanyi gonna?
20
Teweesunganga kiro, olyoke oggye abantu mu mayumba gaabwe.
21
Wegendereze obutawugukira mu kukola bubi, ky'oyagala n'okusinga okubonaabona.
22
“Laba, Katonda musuffu mu buyinza bwe; Muyigiriza, ani amwenkana?
23
Ani amulaga amakubo ge, oba okumugamba nti: ‘Okoze bubi’?
24
Jjukira okutendereza omulimu gwe, abantu gwe bagulumiza mu nnyimba.
25
Abantu bonna bagulaba ne beewuunya; abantu bagulengerera wala.
26
Katonda nga mukulu, asukkiridde amagezi gaffe! Omuwendo gw'emyaka gye teguteeberezeka.
27
Amatondo g'amazzi agambusa waggulu, n'agatonnyesa ng'enkuba okuva mu bire;
28
ebire ne biyiwa amazzi gaabyo, enkuba n'etonnyera abantu enkumu.
29
Ddala ddala ani amanyi bw'abamba ebire? Bw'abwatuka ng'ayima mu weema ye?
30
Laba bwe yeebunguluza yennyini n'ekitangaala kye, n'abikka entobo y'ennyanja.
31
N'ebyo bw'alamula amawanga, n'awa emmere mu bungi.
32
Emikono gyombi agijjuza ekimyanso, n'akiragira kikube ku ntono.
33
Enjota emulangirira, bw'aba ajja mu busungu bwe okulamula aboonoonyi.
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 37 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42