bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Job 16
Job 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 17 →
1
Yobu n'ayanukula n'agamba nti:
2
“Ebiri ng'ebyo mbiwulidde emirundi mingi. Mwenna muli bakubagiza babi.
3
Ebigambo byo ebikunta ng'empewo tebiggwaayo? Ggwe kiki ekikutinkuula okwogera ebitakutuka?
4
Nange mbadde nsobola okwogera nga mmwe, singa mmwe mubadde mu kifo kyange; nandyogedde bingi ku mmwe, ne mbanyeenyeza n'omutwe.
5
Naye n'akamwa kange nandibagumizza, emimwa gyange gyandibakubagizza ne mutoowolokoka.
6
Naye ne bwe nnaayogera, era obulumi bwange sibuweere; ne bwe nnaasirika, tebujja kugenda.
7
“Kyokka kati Katonda ankooyezza. Mikwano gyange gyonna ogirese ttayo.
8
Ondizze; ampaayiriza afuuse ampaako obujulizi, yeesimbyewo okunnumiriza, ampaayiriza mu maaso gange.
9
Obusungu bwe bunjuzaamu, bunjigga; annumidde n'obujiji; Omulabe wange antunuuliza amaaso makambwe.
10
Abantu baasamya akamwa kaabwe okunsekerera, bankuba empi nga banjolonga, ne beekoba okunnwanyisa.
11
Katonda ampaddeyo mu mikono gy'abeeyisa obubi; n'ankasuka mu buyinza bw'ababi.
12
Nali mirembe, n'ajja ansesseggula; yankwata ebikya n'ambetenta. Nze gw'afudde ow'okulondoola.
13
Obusaale bwe bunneetoolodde, awatali kusaasira afumise olubuto lwange, endulwe yange n'eyiika ku ttaka.
14
Annumba muddiriŋŋanwa; anfubutukira ng'omutabaazi.
15
“Omubiri gwange ngutungiddeko ekikutiya, obwanga bwange mbuziise mu ttaka.
16
Amaaso gammyuse olw'okukaaba, n'ekisiikirize ky'olumbe kibisse ebikowe byange.
17
Naye sso emikono gyange tegikolanga kabi, essaala zange zibadde ntukuvu.
18
“Ayi nsi, tobikka musaayi gwange, n'omulanga gwange guleke gubulweko obuwummuliro.
19
Na kati omujulirwa wange ali mu ggulu, ampolereza ali waggulu eyo.
20
Nze n'omuwolereza wange tuli ba mukwano; eriiso lyange likulukusiza amaziga eri Katonda.
21
Awolereza abantu eri Katonda, ng'omuntu bw'awolereza mikwano gye.
22
Emyaka gijja kuyita mitono, nkwate ekkubo gye sigenda kudda.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42