bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Job 38
Job 38
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 37
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 39 →
1
Omukama n'ayima mu kibuyaga ow'amaanyi n'ayanukula Yobu nti:
2
“Ani oyo abuzaabuza enjigiriza yange, ng'ayogera ebigambo omutali magezi?
3
Weekindikire mu kiwato ng'omusajja, nzija kukubuuza, ojja kunnyanukula.
4
“Bwe nali mmangawo ensi wali ludda wa? Mbuulira, oba olina ky'omanyi.
5
Ani yagipima? Nkakasa omanyi. Ani yagikubako olukoba olupima?
6
Emisingi gyayo ginyweredde ku ki? Ani yassaawo ejjinja ly'omu nsonda,
7
eno emmunyeenye ez'omu makya nga ziyimbira wamu, n'abaana ba Katonda bonna nga bakuba emizira?
8
Ani yaggalira ennyanja n'enzigi, lwe yafubutuka ng'eva mu lubuto,
9
lwe naddira ebire ne mbigyambaza, ne ngizingirira mu nzikiza ekutte,
10
lwe nagissizaawo ekkomo, ne mpangamu enzigi n'emiyingo gyazo,
11
lwe nagamba nti: ‘Wano ojja kutuukawo, naye tosukkawo; wano amayengo go agakulumbadde we ganaakomanga’?
12
“Mu budde bwo ggwe walagira amaliiri, oba ggwe wawa mmambya ekifo kye,
13
nti anaakwatanga ku nsonda z'ensi, n'awujja ababi ne bakunkumukako?
14
Ensi efuukafuuka ng'ekitoomi ekiri mu katiba; ennyikibwa mu ddagala ng'ekyambalo.
15
Ababi balimmibwa ekitangaala kyabwe, n'emikono gyabwe gye bagolodde girimenyebwa.
16
“Wali otuuse ensulo z'ennyanja gye ziri, wali oyiseeko mu ddubi eyo ekkuzimu?
17
Wali ogguliddwa emiryango gy'olumbe? Wali olabye emiryango gy'ekisiikirize ky'olumbe?
18
Wali wekkaanyizza obwagaagavu bw'ensi? Ntegeeza, oba bino obimanyi byonna.
19
“Liruwa ekkubo erigenda ku kisulo ky'ekitangaala, n'enzikiza ebeera wa,
20
olyoke obitwale buli kimu gye kisula? Omanyi amakubo agatwala ku nnyumba zaabyo?
21
Kituufu omanyi, anti wali ozaaliddwa, n'omuwendo gw'ennaku z'omaze munene.
22
Wali oyingidde amawanika ga sserugi, yadde okulaba amaterekero g'amayinja g'omuzira,
23
bye nterekera obudde obw'akabenje, ennaku ez'obulwa n'ez'olutalo?
24
Liruwa ekkubo erituusa ekitangaala gye kikasukirwa, n'empewo y'ebuvanjuba gy'esaasaanyizibwa okubuna nsi?
25
Ani yassaawo emyala gy'ebire by'enkuba, n'atemera n'omuyaga ekkubo,
26
bitonnye ku nsi awatali muntu, mu ddungu, eteri n'omu abeerayo,
27
bivubirize amalungu n'enkoola, bimezeemu omuddo?
28
Enkuba erina kitaawe waayo? Kitaawe w'obutondo bw'omusulo ye ani?
29
Embajjo z'omuzira zaava mu lubuto lw'ani, n'obubooya bw'omuzira obuva mu ggulu ani abuzaala,
30
amazzi lwe gakaluba ng'ejjinja, kungulu kw'eddubi ne kukwata?
31
“Osobola okuyunga enjegere z'Emmunyeenye Omusanvu? Yadde okusumulula emiguwa gya Oriyoni?
32
Oyinza okuggyayo ebibinja by'emmunyeenye mu budde bwazo? N'oleeta n'emmunyeenye Ddubu n'obwana bwazo?
33
Omanyi amateeka agafuga eggulu, osobola okugassa mu buwandiike bwago ku nsi?
34
“Osobola okuleekaana eri ebire, wenna amazzi agabijjudde gakubuutikire?
35
Osindika ebimyanso ne bigenda, ne bidda ne bikugamba nti: ‘Tuutuno’?
36
Ani yassa munda muli amagezi? Ani yawa omwoyo okutegeera?
37
“Ani alina amagezi agabala ebire? Ensumbi z'amazzi ag'eggulu ani ayinza okuzibundula,
38
enfuufu lw'eguma n'efuuka ekitole, n'amafufungu g'ettaka ne ganywerera wamu?
39
“Empologoma ggwe ogiyiggira ekyokulya, ggwe otta enjala y'obwana bw'empologoma,
40
nga bubwamye mu nfo yaabwo, oba nga buteegedde mu kasaka?
41
Ani ategekera nnamuŋŋoona ky'alya, obwana bwe lwe buwanjagira Katonda, lwe butangatanga olw'obutaba na kye bulya?”
← Chapter 37
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 39 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42