bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Job 24
Job 24
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 25 →
1
“Lwaki Omuyinza wa buli kantu teyasalawo budde? Lwaki abamumanyi tebamanyi nnaku ze?
2
Abamu ebituuti by'ettaka babiseeseetula, banyaga amagana ne bagalunda.
3
Batwala endogoyi ya mulekwa, ente ya nnamwandu ne bagitwala ng'omusingo.
4
Abaavu babasindiikiriza okuva mu kkubo, bawaliriza abanaku b'omu ggwanga okwekweka.
5
Ng'endogoyi z'ettale mu ddungu, abaavu bafuluma okukola emirimu gyabwe, nga banoonya ekyokulya, olukoola lwe luwa abaana baabwe emmere.
6
Basala essubi mu nnimiro, ne banoga mu mizabbibu gy'ababi.
7
Basula bwereere, tebalina ngoye; tebalina kya kwebikka mu mpewo.
8
Batotobadde enkuba y'omu nsozi, beerippa ku njazi olw'okubula obwewogomo.
9
Kamulekwa bakasikako ku mabeere; akaana k'omunaku bakatwala ng'omusingo.
10
Tebalina ngoye, batambula bwereere; basomba emiganda naye basigala bayala.
11
Bakamula omuzigo wakati mu oliva; basamba ekitaliri mu mizabbibu naye basigala bayonta.
12
Okusinda kw'abafa kusituse mu kibuga; emyoyo gy'abafumitiddwa giwanjaga. Naye essaala yaabwe Katonda tagitegera kutu.
13
“Abo be bajeemera ekitangaala, abatamanyi makubo gaakyo; abatanywerera mu bisinde byakyo.
14
Olunaku bwe luziba, ye omutemu ng'agolokoka, n'atta omunaku, omwavu; mu kiro asoonooka ng'omubbi.
15
Eriiso ly'omwenzi lyezira kawungeezi; agamba nti: ‘Teri anandaba,’ amaaso agakuuma mabikke.
16
Mu nzikiza basima amayumba, emisana ne beggalira; tebaagala kulaba ku kitangaala.
17
Ku bo enzikiza ekutte bwe budde okukya; entiisa y'ekisiikirize ky'olumbe ye mukwano gwabwe.
18
“Awewuka ku ngulu ku mazzi; omugabo gwe ku nsi muvumirire, tewali alaga eri mizabbibu gye.
19
Ng'ebbugumu n'ekyeya bwe bimalawo amazzi g'omuzira, n'amagombe bwe gamalawo abo abakola ebibi.
20
Enda ya nnyina emwerabira, envunyu n'emunuuna; takyajjukirwa, ddala empisa embi zasaayasibwa ng'oluku.
21
Ayisa bubi omugumba n'atalina mwana, ne nnamwandu tamulaga kisa.
22
Naye Katonda asikambulawo ab'amaanyi n'obuyinza bwe; yandibeerawo, naye obulamu bwe tebwesiguza.
23
Abawa aweesiifu we babeera, ne kibagumya, naye amaaso ge gatunuulidde amakubo gaabwe.
24
Bagulumizibwa akaseera, mangu ne babulawo, batoowazibwa ne bakuŋŋaanyizibwa ng'abalala bonna; basalwako ng'ebirimba by'eŋŋano.
25
“Oba si bwe kiri, ani asobola okunnumiriza obulimba, n'ajungulula ebigambo byange?”
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42