bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Job 9
Job 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 10 →
1
Yobu n'ayanukula, n'agamba nti: b
2
“Mazima mmanyi nti kino kituukirivu, naye omuntu asobola atya okuba omutuufu mu maaso ga Katonda?
3
Bw'alyagala okuwerennemba naye, talisobola kumwanukula n'ogumu ku mirundi olukumi.
4
Mugezi mu mutima, muzira mu maanyi; ani yali amwesimbyemu, n'asigala mirembe?
5
Asengula ensozi, ne zitamanya, n'azimegga eri mu buswandi bwe.
6
Anyeenya ensi mu kifo kyayo, empagi zaayo n'azikankanya.
7
Agamba enjuba, n'eteyaka, emmunyeenye n'azissaako envumbo.
8
Ayabamba eggulu obw'omu ati, n'atambulira ku mayengo g'ennyanja.
9
Yakola emmunyeenye Ddubu ne Oriyoni n'Emmunyeenye Omusanvu, n'ebibinja ebirala emaserengeta.
10
Akola ebinene ebiteefumiitirizika, n'ebyewuunyisa ebitabalika.
11
Bw'ampitako, sirimulaba; bw'ayitawo, sirimumanya.
12
Bw'akwakkula, ani anaamuziyiza? Ani anaamubuuza nti: ‘Okola ki?’
13
Katonda takomera busungu bwe, n'abayambi ba Rakabu baavunnama wansi we.
14
“Nze ani nange amwesimbamu, nnaalondoba ntya ebigambo eby'okwogera naye?
15
Ne bwe sandibadde na musango, era sandyanukudde, omulamuzi wange nandimuwanjagidde buwanjagizi.
16
Ne bwe nandimuyise n'ayitaba, sikkiriza nti yandimpulirizza.
17
Yandimmerengudde ne kibuyaga, ebiwundu byange n'abyongera obungi awatali nsonga.
18
Tandeka kussa ku mukka; anzijjuzza okukaayirirwa.
19
Bwe gaba maanyi, w'amaanyi. Bwe buba bwenkanya, ani anaamutumya?
20
Ne bwe sandibadde na musango, akamwa kange kandigunsalidde; mba butabaako kinvunaanibwa, kandigunsinzizza.
21
Siriiko musango, naye seefaako; obulamu bwange sibulabamu kantu.
22
Byonna kye kimu; kyenva ŋŋamba nti: ‘Ataliiko musango n'omubi bombi abazikiriza.’
23
Akabenje bwe kattirawo amangu, asekerera okutekemuka kw'abataliiko musango.
24
Ensi bw'egwa mu mikono gy'ababi, abalamuzi baayo abasiba kantuntunu. Oba si ye, kale ye ani oyo?
25
Ennaku zange ziwenyuka okukira omuddusi, zifuumuuka nga tezirabye ku ssanyu.
26
Ziyitawo nga ziseeyeeya ng'amaato ag'emmuli, ng'empungu egwira omuyiggo gwayo.
27
Singa ŋŋamba nti: ‘Nzija kwerabira ebinnuma, nzija kukyusa ku maaso, nsanyukeko,’
28
mba nkyatya ennaku yange yonna, nga mmanyi nti tojja kunzigyako musango.
29
Oba gwansinga dda, nteganira ki omutali nsa?
30
Ne bwe nnaanaaba n'omuzira, emikono ne ngitukuza ne ssabbuuni,
31
wandinnyinyise mu kirombe, n'ebyambalo byange ne bintamwa.
32
Si muntu nga nze nti nandimwanukudde, nti twandisisinkanye mu mbuga.
33
Singa nno wabaddewo atuwozesa ffembi, n'atussaako ffembi emikono gye,
34
n'anzigyako omuggo gwe, okutiisa kwe ne kulekera awo okunkanga.
35
Olwo nandyogedde nga simutya; naye kati nga bwendi agakikola sigalina.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42