bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Job 6
Job 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 7 →
1
Naye Yobu n'ayanukula n'agamba nti:
2
“Singa nno obulumi bwange bupimibwa, n'ennaku yange yonna ne bagissa ku minzaani!
3
Yandizitoye okusinga omusenyu gw'ennyanja, tekyewuunyisa bwe mmala googera.
4
Kubanga obusaale bw'Omuyinza wa buli kantu bundaaliddemu, omwoyo gwange gunuuna obusagwa bwagwo, n'entiisa ya Katonda esitukiddemu okunnwanyisa.
5
Endogoyi y'ettale ekaaba ng'efunye omuddo, n'ente eŋooŋa ng'eri ku ssubi erya?
6
Emmere etewooma eriibwa omutali munnyo, oba mulimu kiwooma ki mu kinyama ky'eggi?
7
Saayagala kubikwatako, naye mu bulwadde bwange ye mmere yange.
8
Singa nno nfunye kye nsaba, Katonda n'ampa kye neegomba!
9
Singa nno Katonda akkiriza n'ammerengula, n'asumulula omukono gwe n'anzita!
10
Kino kyandisigadde kinkubagiza, essanyu lyange mu bulumi obutasalikako, nti saagaana bigambo by'Oyo Omutuukirivu.
11
Amaanyi nnina galiwa nsobole okugumiikiriza? Ye ngoba ki ndyoke neewalirize?
12
Amaanyi agange ga jjinja, nandiki ennyama eyange ya kikomo?
13
Nkyalinamu otwanyi okweyamba, kati ng'okuwonyezebwa kwagobwa we ndi?
14
“Aterebuse yandiragiddwa mikwano gye omukwano, ne bw'aba alekedde awo okutya Omuyinza wa buli kantu.
15
Naye baganda bange bannimbye ng'ensalosalo z'emigga; ng'emigga egyalaala:
16
giddugala olw'okukwata kw'omuzira, oba ne gibooga olw'omuzira okusaanuuka.
17
Naye mu budde obw'ekyeya gikalira; mu bbugumu gibulawo mu bifo byagyo.
18
Ebibinja by'abasuubuzi byakyama okuva mu makubo gaabyo, ne byambuka mu ddungu, ne bizikiririra eyo.
19
Ebibinja by'abasuubuzi okuva e Teema binoonya amazzi, Abatambuze b'e Saba banoonya n'essuubi.
20
Baasoberwa kubanga baali bazze basuubira; baatuukawo, naye kyababuukako.
21
Bwe mutyo nammwe temunnyambye, bwe mulabye ekikanga, ne mutya.
22
Nali ŋŋambye nti: ‘Mumpeeyo ku kantu, munsasulire okuva ku byammwe;
23
mumponye mu mikono gy'omulabe, munnunule mu buyinza bw'omukambwe’?
24
“Munjigirize, nzija kusirika; mummanyise we situusizza.
25
Ebigambo by'amazima nga bikaawa! Naye okugolola kwammwe kugolodde ki?
26
Mwagala okugolola bye njogedde, ebigambo by'omuterebufu mubifuule mpewo?
27
Musobola n'okukuba akalulu ku mulekwa, ne mukwano gwammwe okumuwaayo.
28
Kale nno, mukkirize muntunuulire. Mulowooza nandibalimbye?
29
Mweddemu, obwonoonefu buleme kubaawo. Mwerowooze nate, bwo obutuukirivu bwange bukyaliwo.
30
Ku lulimi lwange kuliko bubi? Akamwa kange tekategeera bubi?
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42