bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Job 34
Job 34
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 35 →
1
Eliwu n'ayongera, n'agamba nti:
2
“Abagezi muwulirize ebigambo byange; mumpulirize mmwe abaayiga.
3
Kubanga okutu kwe kugeza ebigambo, ng'olulimi bwe luwulira obuwoomi bw'emmere.
4
Ffennyini tweramulire tulabe ekituufu, tunoonyereze wamu tuzuule ekirungi.
5
“Yobu agamba nti: ‘Ndi mutuufu, naye Katonda aggyeewo obutuufu bwange.
6
Newandibadde ndi mutuufu, bagamba nnimba; awatali musango akasaale kanfumise ekiwundu ekitawona.’
7
Muntu ani ali nga Yobu, anywa okusekererwa ng'anywa amazzi;
8
asiba ekinywi n'aboonoonyi; n'ayita n'abantu abeeyisa obubi?
9
Anti yagamba nti: ‘Omuntu tekimugasa ne bw'agezaako okusanyusa Katonda.’
10
“Kale nno mumpulirize mmwe ab'omutima ogutegeera: Kikafuuwe Katonda okweyisa obubi, Omuyinza wa buli kantu okubeera atali mwenkanya.
11
Aweera omuntu okusinziira ku ky'akoze; amuleka ne kimutuukirira nga bwe yeeyisa.
12
Mazima ddala Katonda takola bubi, Omuyinza wa buli kantu tatyoboola bwenkanya.
13
Ani yamukwasa ensi ye? Ani yassaawo ensi yonna?
14
Singa aba ayagadde mu mutima gwe, omwoyo gwe n'omukka abisika ne bidda gy'ali,
15
abantu bonna bandifudde lumu, omuntu yandizzeeyo mu nfuufu.
16
“Kale nno oba olimu akategeera, wulira kino; wuliriza bye ŋŋamba.
17
Kale atayagala butuufu asobola okufuga obwakabaka? Omutuukirivu era Omuyinza olimusingisa omusango?
18
Si ye yagamba bakabaka nti: ‘Temulina kye mugasa.’ N'abakungu nti ‘Muli babi’?
19
Ateekubiira wa mukungu; atattira ku liiso mugagga n'asaliriza omwavu, kubanga bonna mulimu gwa mikono gye.
20
Bafa mangu, ate mu ttumbi; abantu bakubwa encukwe, ne babulawo; ab'amaanyi baggyibwawo awatali na mukono guyambyeko.
21
Anti amaaso ge agasimbye ku makubo g'abantu; yekkaanya buli nta za bigere byabwe.
22
Mpaawo kizikiza yadde ekisiikirize ky'olumbe abeeyisa obubi gye basobola okwekweka.
23
Katonda teyeetaaga kuteerawo muntu kadde, ajje gy'ali alamulibwe.
24
Amerengula ab'obuyinza awatali na kubuuliriza, n'assaawo abalala mu kifo kyabwe.
25
Anti ye amanyidde ddala bye bakola, abayirimula wansi ekiro, n'ababetenta.
26
Abakuba olw'empisa zaabwe embi mu kifo abantu we babalabira.
27
Kubanga baamwawukanako; tebassa mwoyo ku makubo ge gonna.
28
Baleetera emiranga gy'omwavu okwambuka gy'ali, n'awulira emiranga gy'abanaku.
29
Singa asirika busirisi, anaamuvunaana? Bw'akweka amaaso ge, ani anaamulaba? So nga ye omu akuuma eggwanga n'abantu,
30
ababi baleme kufuga, baleme kutega bantu mitego.
31
“Singa omuntu agamba Katonda nti: ‘Nayonoona; sikyaddamu kukola bubi.
32
Kye siraba kinjigirize; oba nayonoona, ekyo sikyaddamu kukikola.’
33
Alikuweera olw'okubeera ebigambo byo bw'ogaana okwenenya? Ggwe onoolondawo, si nze; ggwe yogera ky'omanyi.
34
Abantu abategeevu mumbuulire; abantu abagezi abampuliriza, mugambe nti:
35
‘Yobu tayogezza butegeevu, n'ebigambo bye mubulamu amagezi.’
36
Singa nno Yobu agezebwa okutuusa ku ntikko, olw'okwanukula ng'abantu ababi!
37
Kubanga ku bibi bye ayongerako obujeemu; engalo azikubamu mu makkati gaffe, n'ayongera obungi ebigambo bye ebivuma Katonda.”
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42