bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Job 40
Job 40
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 39
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 41 →
1
Omukama n'agamba Yobu nti:
2
“Oyo awoza n'Omuyinza wa buli kantu anaamugolola? Oyo avunaana Katonda amwanukule.”
3
Yobu n'ayanukula Omukama nti:
4
“Ndi muyabayaba, nkwanukule ki? Omukono gwange ngutadde ku kamwa kange.
5
Nayogedde lumu, sijja kuddamu; n'ogwokubiri, naye sijja kwongera mulala.”
6
Omukama n'ayanukula Yobu ng'ayima mu kibuyaga nti:
7
“Weekindikire mu kiwato ng'omusajja. Nzija kukubuuza, ojja kunnyanukula.
8
“Ennamula yange ogisambajja, nze gw'osalidde omusango, ggwe obeere mutuufu.
9
Olina omukono ng'ogwa Katonda? N'eddoboozi lyo oyinza okubwatuka nga ye?
10
Awo nno weewoomye n'ekitiibwa n'obukulu, yambala ettendo n'okusukkuluma.
11
Ta obuswandi bw'obusungu bwo, kyukira buli eyeekuza yenna omutoowaze.
12
Kyukira buli eyeekuza yenna omusse wansi, ababi babetentere wansi we bali.
13
Baziike bonna wamu mu nfuufu; bazingeko ekigoye obaggalire mu ntaana;
14
olwo nzija kukkiriza, nti ddyo wo asobola okukuwonya.
15
“Tunuulira envubu gye nakola awamu naawe, erya muddo nga nte.
16
Ng'erina amaanyi mu kiwato kyayo, n'obuyinza mu myala gy'olubuto lwayo!
17
Omukira gwayo gwewuuba ng'omuti gw'entolookyo; ebinywa by'ekisambi kyayo byetippye.
18
Amagumba gaayo gali ng'emidumu gy'ekikomo, emikono gyayo giri ng'emitayimbwa egy'ekyuma.
19
Y'esooka mu ebyo Katonda bye yakola, naye eyagikola agirumba n'ekitala kye.
20
Ensozi zigiwa emiti gyazo; ebisolo byonna eby'ettale bizannyira awo.
21
Yeebaka wansi w'ebisaka bya kirobo ku mugga, ne yeekweka mu biwuuwa ne mu bisaalu.
22
Ebisaka bya kirobo bigikweka n'ekisiikirize kyabyo, n'enzibaziba zigyebunguludde.
23
Omugga ne bwe gutumbiira, tekankana; Yorudani ne bw'agikuba ejjengo ku mumwa, esigala nteefu.
24
Ani aligikwata mu maaso gaayo, oba alifumita ennyindo zaayo n'omuguma?
25
“Osobola okukwasa goonya n'eddobo, oba okusiba olulimi lwe n'omuguwa?
26
Osobola okuyisa eddobo mu nnyindo ze, oba okufumita oluba lwe n'olumuli?
27
Aliddiŋŋana okukuwanjagira, oba alyogera naawe ebigonvu?
28
Yadde alikola naawe endagaano, omufuule omuweereza wo ebbanga lyonna?
29
Oyinza okumuzannyisa ng'azannyisa ekinyonyi, oba okumusibira ku muguwa olwa buwala bwo?
30
Abasuubuzi balimulamuzaako, oba abanoonya eby'amaguzi balimugabana?
31
Eddiba lye oyinza okulijjuza obusaale, oba omutwe gwe okugujjuza emiya?
32
Muteekeko omukono gwo; olwo olijjukira ensiitaano, toliddamu nate.”
← Chapter 39
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 41 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42