bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 1
Leviticus 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 2 →
1
Omukama yayita Musa n'ayogera naye ng'ayima mu Weema ey'Ensisinkano n'agamba nti:
2
“Yogera eri Abayisirayeli obagambe nti: “ ‘Bwe mubangamu mu mmwe aweereza Omukama ekitone, ekitone kyammwe bwe kibanga kivudde mu bisolo by'awaka, kivanga mu ggana oba mu kisibo.
3
“ ‘Ekitone ky'ekitambiro ekyokye bwe kibanga kivudde mu ggana, kibeeranga kya nnume ento eteriiko kamogo. Akireetanga ku mulyango gwa Weema ey'Ensisikano Omukama alyoke akisiime
4
Assanga omukono ku mutwe gw'ekitone ky'ekitambiro ekyokye, kirisiimibwa ku lulwe, kiryoke kiweerezebwe okuddaabiriza ku lulwe.
5
Olwo ente ennume ento aggittiranga mu maaso g'Omukama, batabani ba Aroni, bakabona, ne baweereza omusaayi gwayo nga bagumansira ku mwaliiro oguli ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano okugwetoolooza.
6
Ekitone eky'ekitambiro ekyokye akibaagangako eddiba n'akitemaatema ebifi.
7
Batabani ba Aroni, bakabona, ne bakuma omuliro mu mwaliiro, ne bassa enku ku muliro.
8
Olwo bakabona batabani ba Aroni bassanga ebitundu ebitemeddwatemeddwa, omutwe n'amasavu ku nku eziri ku mwaliiro.
9
Ebyenda n'amagulu abyozanga mu mazzi ate kabona n'abyokera mu mwaliiro okutuusa okusirikka. Kino kitambiro ekyokye, ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama.
10
“ ‘Obanga ekitone eky'ekitambiro ekyokye kivudde mu kisibo, kwe kugamba nti mu ndiga oba mu mbuzi, aweerezanga kirume, ekitaliiko kamogo;
11
akittiranga mu maaso g'Omukama ku luuyi lw'omwaliiro olutunuulidde emambuka. Batabani ba Aroni, bakabona, omusaayi gwakyo ne bagumansira ku mwaliiro okugwetoolooza.
12
Anaakitemaatemanga ebifi, byo n'omutwe, n'amasavu, kabona n'abissa ku nku ezimaze okukoleezebwa ku mwaliiro.
13
Anaayozanga mu mazzi ebyenda n'amagulu, byonna kabona n'abyokera ku mwaliiro okutuusa okusirikka. Ekyo kitambiro ekyokye, ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama.
14
“ ‘Oba ekitone ky'ekitambiro ekyokye ky'aweerezza Omukama kivudde mu binyonyi, aweerezanga jjiba oba enjiibwa ento.
15
Kabona anaakireetanga ku mwaliiro n'akinyoola ensingo okukutulako omutwe, n'agwokera ku mwaliiro. Omusaayi gwakyo gukamulwangamu awo mu mbiriizi z'omwaliiro.
16
Ekisakiro n'ebyoya abikasukanga ku ludda olw'ebuvanjuba bw'omwaliiro mu kifo evvu ly'amasavu we liyiibwa.
17
Akwatanga ebiwaawatiro byakyo ku buli luuyi n'akiryebulamu wabiri, naye ate nga takikutuddeemu. Olwo kabona anaakyokyanga ku nku ezikoleezeddwa ku mwaliiro. Ekyo kitambiro ekyokye, ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama.’ ”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27