bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 22
Leviticus 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 23 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Gamba Aroni ne batabani be basse ekitiibwa mu bitukuvu Abayisirayeli bye bampongera, bwe batyo baleme kwonoona linnya lyange. Nze Mukama.
3
“Bagambe nti: “ ‘Mu mazadde gammwe gonna omuntu yenna asemberanga nga si mulongoofu eri ebitukuvu Abayisirayeli bye bawongedde Omukama, anaakutulwanga mu maaso gange. Nze Mukama.
4
“ ‘Ow'omu zzadde lya Aroni, nga mugenge, oba alina okukulukuta kw'amazzi, talyanga ku biwonge ebitukuvu, okutuusa ng'amaze okulongoosebwa. Bw'akwatanga ku kintu ekyonoonese olw'okukoona ku mulambo oba ku musajja afulumizza amazzi ag'ekisajja, taabenga mulongoofu.
5
Era taabenga mulongoofu bw'alikwata ku kyewalula ekimufuula atali mulongoofu oba ku muntu atali mulongoofu, obutali bulongoofu bwe bubeere bwa ki oba ki.
6
Akwatanga ku bintu ng'ebyo taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi, era talyenga ku biwonge ebitukuvu, okuggyako ng'amaze kunaaba mubiri n'amazzi.
7
Enjuba ng'emaze okugwa olwo anaabanga alongoose, olwo ayinza okulya ku biwonge ebitukuvu, kubanga ebyo mmere ye.
8
“ ‘Ennyama eya kalannamye n'ey'ebitaaguju tagiryanga, sikulwa ng'afuuka atali mulongoofu olwa ebyo. Nze Mukama.
9
“ ‘Bakabona bakwatanga kye nakuutira baleme kubeera na musango, ne bafa olw'okukyonoona. Nze Mukama abatukuza.
10
“ ‘Omuntu owa bulijjo talyanga ku biwonge ebitukuvu, ne bw'abanga musenze wa kabona oba mupakasi we.
11
Naye kabona bw'abanga aguze omuddu ne ssente, oba ng'omuddu yazaalibwa awo mu maka ge, omuddu oyo ayinza okubiryako.
12
Muwala wa kabona afumbiddwa omusajja owa bulijjo, talyanga ku bitambiro ebitukuvu.
13
Muwala wa kabona bw'abanga nnamwandu oba omugobe ewa bba, nga talina baana, abeera ewa kitaawe nga bwe yali mu buvubuka bwe, ayinza okulya ku mmere ya kitaawe. Omulala yenna owa bulijjo takkirizibwa kulyako.
14
Oli bw'alyanga ku biwonge ebitukuvu nga tategedde, anaaliwanga olw'ekitukuvu ky'alidde n'agattangako ekyokutaano kyakyo, n'abiwa kabona.
15
Bakabona tebajaajaamyanga ebitukuvu Abayisirayeli bye bawongera Omukama
16
nga babakkiriza ne balya ku biwonge ebitukuvu ne beereetera omusango oguliko n'okuliwa. Nze Mukama abatukuza.’ ”
17
Omukama yagamba Musa nti:
18
“Gamba Aroni ne batabani be n'Abayisirayeli bonna nti: “ ‘Singa omu ku mmwe, ow'omu nnyumba ya Yisirayeli, oba omugwira asula mu Yisirayeli, abanga aweerezza ekitambiro ekyokye mu maaso g'Omukama olw'okutuukiriza obweyamo, oba ng'ekitambiro ekyeyagalire,
19
okusobola okusiimibwa ku lulwe, aleetanga kirume ekitaliiko kamogo okuva mu nte, endiga oba embuzi.
20
Temuweerezanga kyonna kiriko nkeka, kubanga tekijja kusiimibwa ku lwammwe.
21
“ ‘Oli anaabanga aweerezza Omukama ng'aggya mu ggana oba mu kisibo ekitambiro eky'okussa ekimu olw'okutuukiriza obweyamo oba ekitambiro ekyeyagalire, ekitambiro okusiimibwanga kibeeranga tekiriiko kamogo oba nkeka yonna.
22
Ekizibi ky'amaaso, ekimenyefu, ekisaleko, eky'amabwa, eky'olukuku, oba ekiriko awatanye, temukiweerezanga Mukama. Temukissanga ku mwaliiro ng'ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro.
23
Ku kitambiro ekyeyagalire okyayinza okuweereza ente ennume oba endiga eŋŋongobavu oba eyakonvuba; kyokka ey'engeri eyo tekkirizibwa mu kitambiro eky'okutuukiriza obweyamo.
24
Temuweerezanga Mukama kisolo kyonna ng'enjagi zaakyo zizimbye, oba nga zaabetentebwa, oba nga zayasibwa, oba nga zaggyibwamu, oba nga zaasalibwako; era mu nsi yammwe ekyo temukikolanga n'akamu.
25
Abagwira nga babireese temubikkirizanga ne mubiweereza ng'ekyokulya ekya Katonda wammwe. Tebigenda kusiimibwa ku lwammwe, kubanga byayonooneka, biriko enkeka.’ ”
26
Omukama yagamba Musa nti:
27
“Ente, endiga oba embuzi bw'ezaalibwanga, ebeeranga ne nnyina waayo okumala ennaku musanvu; okutandika n'olwomunaana enekkirizibwanga ng'ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro.
28
Ente oba endiga tettirwanga ku lunaku lumu n'omwana gwayo.
29
“Bwe mutambiriranga Omukama ekitambiro eky'okwebaza, mukitambiranga nga kisobola okusiimibwa ku lwammwe.
30
Kiriirwangawo ku olwo; temulekangawo kantu okutuusa enkeera. Nze Mukama.
31
“Mukwatenga ebiragiro byange, mubituuse. Nze Mukama.
32
Temwonoonanga linnya lyange ttukuvu, Abayisirayeli balyoke bategeere nga ndi mutukuvu. Nze Omukama abatukuza,
33
eyabaggya mu nsi y'e Misiri mbeere Katonda wammwe. Nze Mukama.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27