bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 7
Leviticus 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 8 →
1
“ ‘Na lino lye tteeka ly'e kitambiro olw'omusango; ekitambiro ekitukuvu ennyo.
2
Ekitone olw'omusango kittirwanga mu kifo ebitone eby'ekitambiro ekyokye we bittirwa; omusaayi gwakyo ne gumansirwa omwaliiro okugwetoolooza.
3
Amasavu gonna gookebwanga, kwe kugamba nti: amasavu g'ekikira, amasavu agabikkirira ebyenda,
4
ensigo zombi, n'amasavu agaliko okuliraana endira, n'olububi lw'oku kibumba, nalwo olw'okuggyamu wamu n'ensigo.
5
Kabona abyokeranga Omukama ku mwaliiro ng'ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro. Kino kitambiro olw'omusango.
6
Ow'obulenzi yenna mu lubu lwa bakabona ayinza okukiryako, naye kiriirwanga mu kifo ekitukuvu, anti kitambiro kitukuvu nnyo.
7
“ ‘Etteeka ly'ekitambiro olw'ekibi era lye tteeka ly'ekitambiro olw'omusango: byombi biddira kabona abeera abiweerezza olw'okuddaabiriza.
8
Kabona aweerereza omuntu ekitambiro ekyokye eddiba ly'ekitone liba lirye.
9
Era n'ekitone kyonna eky'obuwunga ekifumbibwa mu kyoto, oba ekisiikibwa ku lusaniya oba ku luggyo, kiriba kya kabona oyo abeera akiweerezza.
10
Na buli kitone kya buwunga, oba kirimu omuzigo oba kikalu, kya batabani ba Aroni nga bakigabana kyenkanyi.
11
“ ‘Lino lye tteeka ly'ekitambiro eky'okussa ekimu oli ky'ayinza okuweereza Omukama:
12
“ ‘Oba akiweerezza lwa kwebaza, wa kuweererezanga ku kitambiro eky'okwebaza bukkeeki obutazimbulukuse, nga mulimu omuzigo, oba emigaati egy'oluwewere egitazimbulukuse ng'agisiizeko omuzigo, ne bukabalagala obufumbe mu buwunga obukuŋŋunte obulungi, obugoyeddwa obulungi obutabuddwamu omuzigo.
13
Ku kitambiro eky'okussa ekimu olw'okwebaza aweererezangako ekitone eky'obukkeeki obutazimbulukuse.
14
Ku buli kimu ajja kuggyangako ekitundu ng'ekitone eky'Omukama. Kinaabanga kya kabona anaabanga amansidde omusaayi gw'ekitambiro eky'okussa ekimu.
15
Ennyama y'ekitambiro eky'okussa ekimu olw'okwebaza eriibwanga ku lunaku olwo lwennyini lwe kiweerezeddwa; talekangawo kantu okutuusa enkeera.
16
“ ‘Ekitambiro bwe kiba eky'okutuukiriza obweyamo, oba ekyeyagalire, nakyo kiriirwangawo ku olwo; kyokka bwe wabangawo ekifisse, kikyayinza okuliibwa ne ku lunaku oluddirira.
17
Ennyama y'ekitambiro lunaku olwokusatu gye lusiŋŋaanangawo eyokebwanga bwokebwa.
18
Bwe wabangawo ennyama y'ekitambiro eky'okussa ekimu eriibwa ku lunaku olwokusatu, eyo tegenda kusiimibwa; agiweerezza teribaako ky'emugasa, kubanga eriba yeenyinyalwa, era agiryangako aneetikkanga omusango gw'ekyonoono kye.
19
“ ‘Ennyama ekoonye ku kintu ekitali kirongoofu teriibwanga, eyokebwanga bwokebwa. Yo ennyama endala omuntu yenna omulongoofu ayinza okugirya.
20
“ ‘Kyokka omuntu atali mulongoofu bw'alyanga ku nnyama y'ekitambiro eky'okussa ekimu ekiweerezeddwa Omukama, akutulwanga ku bantu be.
21
N'oli bw'akwatanga ku muntu atali mulongoofu oba ekisolo ekitali kirongoofu, oba ekintu kyonna ekyenyinyalwa, ate n'alya ku nnyama ey'ekitambiro eky'okussa ekimu, akutulwanga ku bantu be.’ ”
22
Omukama yagamba Musa nti:
23
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Temulyanga masavu ga nte, ga ndiga oba ga mbuzi.
24
Amasavu g'ennyama ya kalannamye oba ag'ensolo etaaguliddwa ku ttale muyinza okugeyambanga mu ngeri endala yonna, naye temugalyanga.
25
Oli alyanga ku masavu g'ekitone ekinaawerezebwa Omukama mu kitambiro ekiwonge n'omuliro wa kukutulwanga ku bantu be.
26
“ ‘Yonna gye muli temulyanga omusaayi, gubeere gwa kinyonyi oba nsolo.
27
Buli yenna alirya omusaayi wa kukutulwanga ku bantu be.’ ”
28
Omukama yagamba Musa nti:
29
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Aweereza Omukama ekitone eky'okussa ekimu, anaaweererezangako ekitundu ng'ekitambiro olw'Omukama.
30
Akireetanga yennyini mu mikono gye ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro. Wa kuleetanga amasavu n'ekifuba; ekifuba n'akiwuubira mu maaso g'Omukama ng'ekitone eky'okuwuuba.
31
Kabona ayokeranga amasavu ku mwaliiro; kyo ekifuba kinaabanga kya Aroni ne batabani be.
32
Ekisambi ekya ddyo eky'ekitambiro eky'okussa ekimu okiwanga kabona ng'omugabo gwe.
33
Ekisambi ekya ddyo kye kinaabanga omugabo gwa mutabani wa Aroni anaabanga aweerezza omusaayi n'amasavu ag'ekitambiro eky'okussa ekimu.
34
Ekifuba ekiwuubiddwa n'ekisambi ekya ddyo ekitoneddwa mbiggye ku bitone by'Abayisirayeli bye baleeta olw'ekitambiro kyabwe eky'okussa ekimu, ne mbiwa Aroni Kabona ne batabani be ng'omugabo gwabwe ogw'olubeerera okuva mu Bayisirayeli.’ ”
35
Gwe guugwo omugabo ogwaweebwa Aroni kabona ne batabani be ku biwongerwa Omukama n'omuliro ku lunaku lwe yabasimbawo baweereze Omukama nga bakabona.
36
Ku lunaku lwe baasiigibwa omuzigo Omukama yalagira Abayisirayeli bagubawe ng'omugabo gwabwe ogw'olubeerera amazadde gaabwe gonna.
37
Ago ge mateeka g'ekitambiro ekyokye, n'ekitone eky'obuwunga, n'ekitambiro olw'ekibi, n'ekitambiro olw'omusango, n'ekitambiro eky'okuwa obwakabona, n'ekitambiro eky'okussa ekimu,
38
Omukama ge yawa Musa ku lusozi Sinayi ku lunaku lwe yagamba Abayisirayeli baweereze ebyabwe Omukama mu ddungu ly'e Sinayi.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27