bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 20
Leviticus 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 21 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Gamba Abayisirayeli nti: “ ‘Omu ku Bayisirayeli, oba ku bagwira abali mu Yisirayeli, bw'akwatanga omu ku baana be, n'amuwa Moleki, wa kuttibwanga; abantu ab'omu nsi bamussanga mayinja.
3
Nange ndimwefuulira ne mukutula okuva ku bantu be, kubanga yaddira omu ku baana be n'amuwa Moleki, bw'atyo n'avvoola ekitukuvu kyange, n'ayonoona n'erinnya lyange ettukuvu.
4
Abantu mu nsi bwe baliraba ng'omuntu ono awa Moleki omu ku baana be naye ne bakibikkirira, ne batamutta,
5
ŋŋenda kwefuulira omuntu oyo n'ekika kye; ye na bonna abassa ekimu naye ne bakola obwamalaaya ne Moleki, ndibakutula ku bantu baabwe.
6
“ ‘Omuntu alyekubira ku ndagu n'abasamirira emizimu, n'akola obwamalaaya na bino ng'abakkiririzaamu, ndimwefuulira ne mmukutula ku bantu be.
7
“ ‘Mwetukuze mubeere batukuvu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
8
“ ‘Mukwatanga amateeka gange era mugatuusanga. Nze Mukama abatukuza.
9
“ ‘Omuntu avumiriranga kitaawe ne nnyina, wa kuttibwanga; avumye kitaawe ne nnyina; omusaayi gwe gunaabeeranga ku mutwe gwe.
10
“ ‘Omuntu ayendanga ne muka bandi, n'akola eby'obukaba ne muka munne, bombi ayenze ne gwe bayenzeeko ba kuttibwanga.
11
“ ‘Omusajja eyeebakanga ne muka kitaawe, aliba aweebudde kitaawe, bombi omusajja n'omukazi ba kuttibwanga; omusaayi gwabwe gunaabeeranga ku mitwe gyabwe.
12
“ ‘Omusajja eyeebakanga ne mukaamwana, bombi ba kuttibwanga, kubanga bakoze kya bugwagwa; omusaayi gwabwe gunaabeeranga ku mitwe gyabwe.
13
“ ‘Omusajja eyeebakanga n'omusajja kyenkana nga bwe yandyebase n'omukazi, bombi bakoze ekyenyinyalwa, ba kuttibwanga; omusaayi gwabwe gunaabeeranga ku mitwe gyabwe.
14
“ ‘Omusajja awasanga omuwala ate n'akubirako ne nnyina w'omuwala abeera akoze kya bugwenyufu. Bonsatule babookyanga omuliro mu mmwe muleme kubeeramu bugwenyufu buno.
15
“ ‘Omuntu akabawalanga n'ekisolo wa kuttibwanga, n'ekisolo mukittanga.
16
“ ‘Omukazi asembereranga ekisolo kyonna okukabawala nakyo, mumuttanga era n'ekisolo kya kuttibwanga; omusaayi gwe gunaabeeranga ku mutwe gwe, era n'ekisolo nakyo bwe kityo.
17
“ ‘Omusajja awasanga mwannyina, kwe kugamba, muwala wa kitaawe oba wa nnyina, ne beebaka bombi, kiriba kya nsonyi; battirwanga mu maaso ga bantu baabwe, kubanga omusajja yeebase ne mwannyina; aneetikkanga omusango gw'ekyonoono kye.
18
“ ‘Omusajja eyeebakanga n'omukazi mu biseera bye eby'omwezi, anaabanga abikkudde ensulo ye, n'omukazi anaabanga abikkudde ensulo y'omusaayi gwe; bombi ba kukutulwanga ku bantu baabwe.
19
“ ‘Teweebakanga ne nnyoko omuto oba ssengaawo; akola ekyo abeera aweebudde ab'oluganda lwe; bombi baneetikkanga omusango gw'ekyonoono kyabwe.
20
“ ‘Ayebakanga ne ssengaawe anaabanga aweebudde kitaawe omuto. Ye ne gwe yeebase naye balyetikkanga omusango gw'ekibi kyabwe; bombi balifa tebafunye baana.
21
“ ‘Oli awasanga muka muganda we anaabanga akoze kya bugwagwa era ng'aweebudde muganda we; tebaliba na baana.
22
“ ‘Mukwatenga amateeka gange gonna n'ennamula yange yonna; mubituusenga, ensi gye mugenda okuyingira, egenda okuba eyammwe, ereme kubasesema.
23
Temugobereranga mpisa z'amawanga ge ŋŋenda okugobawo mu maaso gammwe, kubanga byonna ebyo gaabikola, ne ngatamwa.
24
Naye mmwe nabagamba nti: “Mmwe mulitwala ensi yaabwe; ndigibawa ebeere yammwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.” “ ‘Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaawula mu mawanga amalala.
25
Awo nno mwawulanga wakati w'ensolo ennongoofu n'eteri nnongoofu, n'ennyonyi eteri nnongoofu ku eyo ennongoofu. Temwejaajaamyanga na nsolo oba ekinyonyi oba ebyewalula ku ttaka, ebyo bye nabaawuliramu nti si birongoofu gye muli.
26
“ ‘Mubeeranga batukuvu gye ndi, kubanga nange Omukama ndi mutukuvu, ate nnabaawula mu mawanga amalala mubeere bange.
27
“ ‘Omukazi oba omusajja aliko omulaguzi, oba asamirira emizimu, wa kuttibwanga; wa kuttisanga mayinja; omusaayi gwabwe gunaabeeranga ku mitwe gyabwe.’ ”
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27