bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 25
Leviticus 25
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 26 →
1
Omukama yagamba Musa ku lusozi Sinayi nti:
2
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Bwe muyingiranga ensi gye ndibawa, ettaka liwummulanga ssabbatto ku lw'Omukama.
3
“ ‘Onoosiganga mu nnimiro yo okumala emyaka mukaaga; emyaka mukaaga onoosaliranga emizabbibu gyo n'onoga ebibala byakwo.
4
Naye omwaka ogwomusanvu Sabbaato, ettaka lya kuwummula; Sabbaato ey'okuwummula ku lw'Omukama. Tosiganga nnimiro yo, n'emizabbibu gyo togisaliranga.
5
Ebimererezi tobikungulanga, n'ebirimba eby'omu nnimiro yo ey'emizabbibu gy'otoosalira tobinoganga, kubanga mu ogwo omwaka ettaka lirina okuba n'omwaka ogw'okuwummula.
6
Ettaka bye libazanga mu mwaka ogwa Sabbaato kwe mulyanga, ggwe, omuddu wo n'omuzaana wo, omupakasi, abasenze bo, n'abalala bonna abasula ewuwo,
7
ssaako ensolo zo ez'awaka n'ensolo ez'ettale eziri mu nsi yo. Byonna ettaka bye liribaza bye biririibwanga.
8
“ ‘Obalanga sabbaato musanvu ez'emyaka, kwe kugamba, emyaka musanvu emirundi musanvu; gino gye myaka amakumi ana mu mwenda.
9
Mu mwezi ogwomusanvu, ku lunaku olw'ekkumi, ku Lunaku olw'Okuddaabiriza mufuuwanga eŋŋombe wonna mu nsi.
10
Mutukuzanga omwaka ogw'amakumi ataano; mulangiriranga okuteebwa eri buli mutuuze waayo, guliba Mwaka gwa Kijaguzo gye muli. Muddanga buli omu ku butaka, era buli omu addangayo mu b'ekika kye.
11
Omwaka ogw'amakumi ataano gunaabanga Mwaka gwa Kijaguzo ku mmwe; temusiganga, wadde okukungula ebimererezi, n'emizabbibu egitaasalirwa temuginogangako,
12
kubanga kino kijaguzo kyammwe, mwaka gwammwe mutukuvu. Mulye ebyo byokka ennimiro bye zibaza.
13
“ ‘Mu mwaka ogwo ogw'Ekijaguzo buli omu mu mmwe addangayo ku butaka bwe.
14
Bw'oguzanga munno ettaka, oba n'olimugulako, temuseeragananga.
15
Ogulanga ku munno ettaka okusinziira ku bbanga eryakayitawo okuva ku Mwaka ogw'Ekijaguzo, ate naye anaakuguzanga okusinziira ku myaka egy'okukungula egibulayo.
16
Emyaka egisigaddeyo bwe giba emingi n'omuwendo guliba waggulu, bwe giriba emitono nagwo guliba wansi, kubanga ddala ky'akuguza gye mirundi gy'amakungula.
17
Temuseeragananga, naye otyanga Katonda wo. Nze Mukama Katonda wo.
18
“ ‘Mutuusenga amateeka gange, mukuumenga ennamula yange, lwe munaatuula entende mu nsi.
19
Olwo ettaka liribabaliza ebibala byalyo, ne mulya ne mukkuta, ne mutuula ntede mu nsi.
20
“ ‘Muyinza okubuuza nti: “Mu mwaka ogwomusanvu, bwe tuliba nga tetusiga na kukungula, tulirya ki?”
21
Mu mwaka ogwomukaaga ndibawanga omukisa ettaka lyammwe ne lituusa amakungula ga myaka esatu.
22
Mulituuka okusiga mu mwaka ogwomunaana nga mukyalya ku bye mwabaza ebikadde, mulibirya okutuusa amakungula g'omu mwaka ogwomwenda bwe galituuka.
23
“ ‘Ettaka si lya kutunda kagenderere, kubanga lyange, nammwe muli bagwira, basenze busenze gye ndi.
24
Awo nno obutaka bwammwe, bwe mubutundanga mubeeranga n'engeri ey'okubununula.
25
Muganda wo bw'adoobanga n'atuuka okutunda ekitundu ky'obutaka bwe, ow'oluganda lwe ajjanga n'anunula muganda we ky'aliba atunze.
26
Bw'abanga tazudde akinunula, ye amala asobola okufuna ebimala okukinunula,
27
abaliriranga emyaka okuva lwe kyatundibwa okufuna omuwendo ogukigyamu; ezifikkangawo z'addizanga gwe yakiguza. Olwo anaayinzanga okudda mu butaka bwe.
28
Naye bw'alemererwanga okufuna engeri y'okumusasula, kye yatunda kinaasigalanga n'eyakigula okutuusa ku Mwaka ogw'Ekijaguzo. Eyakigula ateekwa okukiddizanga nnyinikyo mu Mwaka ogw'Ekijaguzo, olwo eyabanga nakyo mu kusooka ayinza okudda mu butaka bwe.
29
“ ‘Oli bw'atundanga ennyumba ye eri mu kibuga ekiriko bbugwe, anaayinzanga okuginunula mu bbanga ery'omwaka ogumu oluvannyuma lw'okugitunda. Mu bbanga eryo ayinza okuginunula.
30
Omwaka bwe guyitanga nga taginunudde, ennyumba eri mu kibuga ekiriko bbugwe eneefuukanga y'oyo eyagigula ne bazzukulu be ennaku zonna; si ya kununula newandibadde mu Mwaka ogw'Ekijaguzo.
31
Naye ennyumba mu bibuga okutali bbugwe abyetoolodde, za kuyisanga ng'ebyalo; ziriyinzanga okununulibwa, era mu Mwaka ogw'Ekijaguzo za kuzzibwangayo.
32
“ ‘Abaleevi bayinza okununula ennyumba zaabwe eziri mu bibuga byabwe eby'obutaka ebbanga lyonna.
33
Eby'Abaleevi byo biyinza okununulibwa, kwe kugamba, ennyumba ezaagulwa mu kibuga eky'obutaka, mu mwaka gw'Ekijaguzo biddiranga bannyinibyo, kubanga ennyumba z'omu bibuga by'Abaleevi butaka bwabwe mu Bayisirayeli.
34
Go amalundiro agali ku bibuga byabwe tegatundibwanga, buno butaka bwabwe obw'olubeerera.
35
“ ‘Muganda wo bw'adoobanga nga takyasobola kweyimirizaawo mu mmwe, muyambenga nga bwe wandiyambye omugwira oba omusenze, asobole okusigala mu mmwe.
36
Tomuwolanga na buliika, wabula tya Katonda wo, muganda wo asobole okusigala mu mmwe.
37
Ssente zo tozimuwolanga na buliika, wadde okumuguza emmere yo ng'onoonyaako amagoba.
38
Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, mbawe ensi y'e Kanaani, era mbeere Katonda wammwe.
39
“ ‘Muganda wo bw'adoobanga n'atuuka n'okwetunda gy'oli, tomukozesanga ng'omuddu,
40
wabula ng'omupakasi oba omusenze. Akukoleranga okutuusa ku Mwaka ogw'Ekijaguzo.
41
Oluvannyuma alikuviira n'addayo, ye n'abaana be, mu baganda be ne ku butaka bwa bajjajjaabe.
42
Kubanga Abayisirayeli baddu bange, nze nabaggya mu nsi y'e Misiri; si ba kutundwanga nga baddu.
43
Tomufuzisanga bukambwe, wabula otyanga Katonda wo.
44
“ ‘Omuddu n'omuzaana obaggyanga mu mawanga agabeetoolodde: mu abo gye mugulanga omuddu n'omuzaana.
45
Muyinza era okubagula mu baana b'abasenze abali mu mmwe ne mu ŋŋanda zaabwe abazaaliddwa mu nsi yammwe ne bafuukira ddala bammwe ab'obwannannyini.
46
Muyinza n'okubalaamiranga abazzukulu bammwe ng'obusika bwabwe obw'obwannannyini, ne bafuuka baddu baabwe emirembe gyonna; naye bo baganda bammwe, Abayisirayeli, temubafuzisanga bukambwe.
47
“ ‘Omugwira oba omusenze asula mu mmwe bw'agaggawalanga, muganda wo adoobye amala yeetunda eri omugwira asula mu mmwe, oba ew'omulala ow'olulyo lwe,
48
ng'amaze okwetunda, ayinza okununulibwa. Omu mu b'oluganda lwe amununulanga.
49
Kitaawe omuto, kojjaawe, oba muganda we mu lulyo lwe ayinza okumununula, naye bw'aligaggawala, aliyinza okwenunula.
50
Babalagananga n'eyamugula okuva oli lwe yeetunda okutuusa ku mwaka gw'Ekijaguzo; ssente ez'okumununula zijja kugererwanga ku ezo ezisasulwa omupakasi mu bbanga ery'emyaka ono gy'amaze nga mugule.
51
Oba emyaka egikyabulayo okutuusa ku mwaka gw'Ekijaguzo mingi, asasulangayo ekitundu ekisinga obunene ekya ssente ezaamugula.
52
Oba mitono, abaliriranga n'asasula okununulibwa kwe okusinziira ku myaka gy'amukoledde.
53
Wa kubalibwa ng'omupakasi abadde asasulibwa buli mwaka. Olina okulaba ng'eyamugula tamufuzisanga bukambwe.
54
Bwe wabulangawo amununula mu buli ngeri yonna, era wa kuteebwanga, ye n'abaana be mu Mwaka ogw'Ekijaguzo.
55
Kubanga Abayisirayeli baddu bange; baddu bange be naggya mu nsi y'e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27