bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 15
Leviticus 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 16 →
1
Omukama yagamba Musa ne Aroni nti:
2
“Mugambe Abayisirayeli nti: “ ‘Omusajja bw'abanga alina ekikulukuto ky'amazzi mu mubiri gwe, ekikulukuto kye si kirongoofu.
3
Ekikulukuto ky'amazzi bwe kiti bwe kinaaleetanga obutaba mulongoofu: “ ‘Ekikulukuto ky'amazzi kibeere nti kisalikako, oba nti kigira ne kizibikira, mu ngeri zombi ono si mulongoofu.
4
“ ‘Ekitanda kyonna alina ekikulukuto ky'amazzi mw'abanga yeebase kiriba si kirongoofu, na buli w'abanga atudde si walongoofu.
5
“ ‘Omuntu akwatanga ku kitanda kye, ayozanga engoye ze, n'anaaba n'amazzi; taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
6
“ ‘Atuula alina ekikulukuto ky'amazzi w'abadde atudde, naye ayozanga engoye ze, n'anaaba n'amazzi; taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
7
“ ‘Buli akwatanga ku muntu alina ekikulukuto ky'amazzi ayozanga ebyambalo bye naye n'anaaba n'amazzi; taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
8
“ ‘Omuntu alina ekikulukuto ky'amazzi bw'awandiranga omuntu omulongoofu amalusu, gwe bawandidde ayozanga ebyambalo bye n'anaaba n'amazzi; taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
9
“ ‘Ekitebe kyonna kw'atuula nga yeebagadde ensolo nakyo kinabanga si kirongoofu.
10
“ ‘Buli yenna akwatanga ku kintu kw'aba atudde, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Abanga akutte ku ebyo by'abadde atuddeko, ayozanga ebyambalo bye n'anaaba n'amazzi; taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
11
“ ‘Buli yenna omusajja alina ekikulukuto ky'amazzi gw'akwatangako nga tamaze kunaaba ngalo na mazzi, ayozanga ebyambalo bye n'anaaba n'amazzi; taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
12
“ ‘Ekintu eky'ebbumba ky'abanga akutteko, kyasibwanga bwasibwa. Bwe kiba eky'omuti, kyozebwanga n'amazzi.
13
“ ‘Ow'obulwadde obwo bw'awonanga ekikulukuto ky'amazzi, abalanga ennaku musanvu okutuusa ku kutukuzibwa kwe; awo ayozanga engoye ze n'anaaba omubiri gwonna mu mazzi ag'oku luzzi, olwo anaabanga mulongoofu.
14
Ku lunaku olwomunaana aleetanga amayiba abiri oba obuyiibwa obuto bubiri, n'ajja mu maaso g'Omukama ku mulyango gwa Weema ey'Ensisikano, n'abikwasa kabona.
15
Kabona abuweerezanga, akamu ng'ekitambiro olw'ekibi, ate akalala ng'ekitambiro ekyokye, bw'atyo anaddaabirizanga ku lulwe mu maaso g'Omukama olw’ ekikulukuto ky'amazzi ky'abadde nakyo.
16
“ ‘Omusajja bw'afulumyanga amazzi ag'ekisajja, anaabanga amazzi omubiri gwonna; taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
17
Ekyambalo oba eddiba okuli amazzi ago byozebwanga; biriba si birongoofu okutuusa akawungeezi.
18
“ ‘Omusajja bw'abanga yeebase n'omukazi n'afulumya amazzi ag'ekisajja, bombi banaanaabanga n'amazzi, era tebaabenga balongoofu okutuusa akawungeezi.
19
“ ‘Omukazi mu biseera bye eby'omwezi anaabalirwanga ennaku musanvu nga si mulongoofu. Buli yenna amukwatako taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
20
“ ‘Na buli kyonna kw'agalamidde oba kw'atudde mu biseera bye eby'omwezi tekibenga kirongoofu.
21
“ ‘Akwatanga ku kitanda kye, ayozanga engoye ze n'anaaba n'amazzi; taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
22
“ ‘Na buli yenna anaabanga akutte ku kintu ky'aba atuddeko ayozanga engoye ze n'anaaba n'amazzi; taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
23
Na buli anaabanga akutte ku kintu omukazi oyo ky'aliba atuddeko oba ekiri ku kitanda kye, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
24
“ ‘Omusajja bwe yeebakanga naye ng'ali mu biseera bye eby'omwezi omusaayi gumala gumutuukako, omusajja oyo anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu, n'ekitanda kyonna mw'alyebaka tekibenga kirongoofu.
25
“ ‘Omukazi alwa n'ekikulukuto ky'omusaayi ennaku ennyingi nga si mu biseera bya mwezi, oba okukulukuta ebiseera bye eby'omwezi bwe kusukkirizangamu, ebbanga lyonna ly'amala n'ekikulukuto taabenga mulongoofu kyenkana nga bwe yandibadde mu biseera ebya buli mwezi.
26
Ekitanda kwe yeebaka mu bbanga lino tekibenga kirongoofu nga bwe guba mu biseera bye eby'omwezi, na buli kyonna ky'atuulako tekibenga kirongoofu nga bwe guba mu biseera bye eby'omwezi.
27
Na buli alibanga amukutteko taabenga mulongoofu; ayozanga ebyambalo bye, naye yennyini n'anaaba amazzi, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28
“ ‘Bw'amalanga okutukuzibwako ekikulukuto kye, abalanga ennaku musanvu, oluvannyuma anaabanga mulongoofu.
29
Ku lunaku olwomunaana aleetanga amayiba abiri oba obuyiibwa bubiri obuto n'abukwasa kabona ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
30
Kabona akamu akaweerezanga ng'ekitambiro olw'ekibi, akalala ng'ekitambiro ekyokye. Bw'atyo kabona bw'aliddaabirizanga ku lulwe mu maaso g'Omukama olw'obutaba mulongoofu obwava ku kikulukuto kye.’
31
“Mwawulanga nno Abayisirayeli ku bibafuula abatali balongoofu, sikulwa nga bafa olw'obutaba balongoofu ne bajaajaamya ekisulo kyange ekiri mu bo.
32
Lino lye tteeka ku musajja alina ekikulukuto ky'amazzi, ku oyo atali mulongoofu olw'okufulumya amazzi ag'ekisajja,
33
ku mukazi mu biseera bye eby'omwezi, ku musajja afulumya amazzi oba omukazi akulukuta, era ne ku musajja eyeebaka n'omukazi atali mulongoofu.”
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27