bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 27
Leviticus 27
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Singa oli yeeyamanga okusinga abantu eri Omukama, olw'okutuukiriza obweyamo bwe n'ayagala okuwaayo omuwendo nga bw'ogubaliridde,
3
bw'abanga musajja wakati w'emyaka abiri n'enkaaga, mubalire ku sekeli eza ffeeza amakumi ataano ng'ogerera ku sekeli ekozesebwa mu Kitukuvu;
4
bw'abanga omukazi, omubaliranga ku sekeli amakumi asatu;
5
bw'abanga wakati w'emyaka etaano n'amakumi abiri, omusajja omuwendo gwe ogubaliranga ku sekeli makumi abiri, omukazi ku kkumi;
6
bw'abanga wakati w'omwezi ogumu n'emyaka etaano, omulenzi omuwendo gwe ogubaliranga ku sekeli ttaano eza ffeeza, omuwala ku sekeli ssatu eza ffeeza;
7
bw'abanga ow'emyaka enkaaga n'okusingawo, omusajja omuwendo gwe ogubaliranga ku sekeli eza ffeeza kkumi na ttaano, ate omukazi ku sekeli kkumi.
8
Eyeeyama bw'abanga omwavu ng'omuwendo ogubaliriddwa taasobole kuguwa, gwe yasingawo amutwaliranga kabona, ye omuwendo gwe anaagumubaliranga ng'asinziira ku eyeeyama ky'asobola okuwa.
9
“ ‘Singa ensolo gye yeeyama okuwa eyinza okutambirirwa Omukama, ensolo ng'eyo esingiddwa Omukama eba ntukuvu,
10
tayinza kugiwaanyisamu ndala, oba nnungi kugiwaanyisamu mbi; oba mbi kugiwaanyisamu nnungi. Bw'ewaanyisibwanga, eyasooka n'ezze mu kifo kyayo, zombi ziba ntukuvu.
11
Singa ensolo gye yeeyamye si nnongoofu, eteyinza kutambirirwa Mukama, anaabanga agisuubizza agireetanga awali kabona
12
ye n'asalawo oba nnungi oba mbi; omuwendo gw'aligibalira nga gwe gwo.
13
Agireese bw'ayagalanga okuginunula, ku muwendo ogubadde gugibaliriddwamu ayongerangako ekyokutaano kyagwo.
14
“ ‘Omuntu bwe yeeyamanga okusingira ennyumba ye Omukama, kabona agipimanga n'alaba oba nnungi oba mbi: omuwendo gw'aligibalira, nga gwe gwo.
15
Oli eyeeyama ennyumba ye, bw'aba ayagadde okuginunula, ku muwendo ogubadde gubaliriddwa ayongerangako ekyokutaano kyagwo, olwo ennyumba eriddamu n'eba yiye.
16
“ ‘Oba ettaka ly'oku butaka bwe lye yeeyama okuwa Omukama, omuwendo gwalyo guligererwa ku bungi bw'ensigo ezisobola okusigibwamu; sekeli eza ffeeza amakumi ataano ku buli komeri emu ey'ensigo za sayiri.
17
“ ‘Oba yeeyama okuwa ennimiro ye mu Mwaka ogw'Ekijaguzo, omuwendo ogubaliriddwamu nga gwe gwo.
18
Oba we yeeyamira okuwa ennimiro ye ng'Omwaka ogw'Ekijaguzo guyise, kabona alimulamulira ssente ng'agerera ku bungi bw'emyaka egisigadde okutuusa ku Mwaka ogw'Ekijaguzo oguddako; omuwendo gwayo gulikendeerako.
19
“ ‘Oli eyeeyama okuwa ennimiro bw'ayagalanga okuginunula, ku ssente ezigibaliriddwamu ayongerangako ekyokutaano kyazo, olwo erimuddira n'eba yiye.
20
Bw'abanga taginunudde, oba nga yagitunza omulala, eneebanga tekyazzeeyo kununulibwa.
21
Ennimiro bw'eteebwanga mu Mwaka ogw'Ekijaguzo, eneebanga ntukuvu, ya Mukama, ng'ennimiro eyawongerwa Omukama; erifuuka nnimiro ya bakabona, butaka bwe.
22
“ ‘Singa oli yeeyama okuwa ennimiro naye nga yagula ngule, eteri ku butaka bwe,
23
kabona alibalirira omuwendo gwayo ng'asinziira ku bungi bw'emyaka egisigadde okutuusa ku Mwaka ogw'Ekijaguzo; oli eyeeyama omuwendo aguwanga ku olwo lwennyini ng'ekitukuvu ky'Omukama.
24
Mu Mwaka ogw'Ekijaguzo ennimiro eddiranga gwe yagigulako eyali nnyini butaka.
25
Buli muwendo gwa kubalirira nga gugererwa ku sekeli ekozesebwa mu Kitukuvu, eyenkana gera amakumi abiri ku buli sekeli.
26
“ ‘Ebiggulanda eby'ebisolo biba bya Mukama, tewali yeeyamanga kubisingira Mukama; ne bw'eba nte oba ndiga, ya Mukama.
27
Oba oli yeeyama kuwa nsolo, kyokka nga si nnongoofu, ayinza okuginunula ku muwendo nga bw'ogubaliridde, naye ng'ayongeddeko ekyokutaano eky'omuwendo gwayo. Bw'abanga tayagadde kuginunula, etundibwanga ku muwendo oguliba gugibaliriddwamu.
28
“ ‘Ekintu kyonna omuntu ky'amaze okuwongera Omukama ng'akiggya mu bibye, kibeere muntu, kisolo, oba ttaka, tekiitundibwenga era tekiinunulibwenga; ekintu ekiwongeddwa Omukama mu ngeri eyo kiba kitukuvu nnyo, kya Mukama.
29
Na buli muntu asaliddwa okuzikirizibwa taanunulibwenga, wabula wa kuttibwanga.
30
“ ‘Ekitundu kyonna ekyekkumi mu nsi, kibeere ky'ebyo ettaka bye libaza, oba eky'ebibala eby'emiti, kya Mukama, kintu kitukuvu nnyo.
31
Oli bw'ayagalanga okununula ebyekkumi bye, ku muwendo gwabyo ayongerangamu ekyokutaano.
32
“ ‘Ebyekkumi byonna eby'eggana oba ekisibo, kwe kugamba buli nsolo ey'ekkumi eyita wansi w'omuggo gw'omusumba, biriba bitukuvu, bya Mukama.
33
Temwetaaga kulondamu nnungi oba mbi, wadde okuziwaanyisaamu. Bwe ziwaanyisibwamu, zombi ebaddewo n'ezze mu kifo kyayo zinaabanga ntukuvu, si za kununulibwangayo.’ ”
34
Bino bye biragiro Omukama bye yalagira Musa mu lusozi Sinayi abigambe Abayisirayeli.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27