bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 10
Leviticus 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 11 →
1
Batabani ba Aroni, Nadabu ne Abiwu baddira ebyoterezo buli omu ne bassaamu omuliro, ne bagattako obubaani, ne baweereza mu maaso g'Omukama ekitambiro eky'omuliro ekitakkirizibwa, kye yali tabalagidde.
2
Omuliro ne guva ew'Omukama ne gubatta, ne bafiira awo mu maaso g'Omukama.
3
Musa n'agamba Aroni nti: “Kino Omukama kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “ ‘Ndyoleka obutuukirivu bwange mu abo abansemberera, mu maaso g'abantu bonna ndiraga ekitiibwa kyange.’ ” Aroni yasirika busirisi.
4
Musa n'ayita Misayeli ne Eluzafani batabani ba Wuzziyeli kitaawe omuto owa Aroni, n'abagamba nti: “Mujje muggye baganda bammwe mu maaso g'Ekitukuvu mubatwale ebweru w'olusiisira.”
5
Amangu ago ne bagenda ne babaggyawo, nga bakyali mu makanzu gaabwe, ne babafulumya ebweru nga Musa bwe yali alagidde.
6
Musa n'agamba Aroni ne batabani be, Eleyazari ne Yitamari nti: “Temusasamaza nviiri zammwe n'ebyambalo temubiyuza, sikulwa nga nammwe mufa, Omukama n'asunguwalira ekibiina kyonna. Bo baganda bammwe, ennyumba yonna eya Yisirayeli ka bakungubagire abo Omukama b'ayokezza omuliro.
7
Mmwe temuva ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano, sikulwa nga mufa, kubanga omuzigo gw'Omukama ogwabasiize gukyabaliko.” Nabo ne bakola nga Musa bwe yabalagira.
8
Era Omukama n'agamba Aroni nti:
9
“Ggwe ne batabani bo nga munaayingira mu Weema ey'Ensisinkano, temunywanga evviini oba ekitamiiza ekirala, sikulwa nga mufa; lino tteeka lya lubeerera amazadde gammwe gonna.
10
Mwawulanga ekitukuvu ku kitali kitukuvu, ekyonoonefu ku kirongoofu,
11
n'okuyigiriza Abayisirayeli amateeka Omukama ge yabawa ng'ayita mu Musa.”
12
Musa n'agamba Aroni ne batabani be abaali basigaddewo, Eleyazari ne Yitamari nti: “Muddire ekitone eky'obuwunga obw'ekitambiro ekyafisseewo ku kiri ekyawongeddwa Omukama n'omuliro, mukiriire awo okumpi n'omwaliiro nga temuli kizimbulukusa, kubanga kitukuvu nnyo.
13
Mukiriire mu kifo ekitukuvu, kubanga gwe mugabo gwo ne batabani bo ku kitambiro ekyawongeddwa Omukama n'omuliro. Bwe ntyo bwe nalagirwa.
14
“Ekifuba ekiwuubibwa n'ekisambi ekya ddyo ekiwongebwa, ggwe ne batabani bo ne bawala bo, muyinza okubirya. Mubiriiranga mu kifo ekirongoofu, kubanga biggyiddwa ku kitambiro eky'okussa ekimu eky'Abayisirayeli, ne bikuterekerwa ggwe n'abaana bo ng'omugabo gwammwe.
15
Ekisambi ekiwongebwa, ekifuba ekiwuubibwa n'amasavu ag'okuweereza ku muliro bireetebwanga ne biwuubibwa mu maaso g'Omukama ng'ekitambiro olw'ekibi. Guno gwe mugabo gw'abaana bo ogw'olubeerera ng'Omukama bwe yalagira.”
16
Musa bwe yabuuza ku kyabadde ku mbuzi ennume olw'ekibi, n'amanya nti yayokeddwa, n'anyiigira Eleyazari ne Yitamari batabani ba Aroni be yali asigazza, n'abuuza nti:
17
“Lwaki ekitambiro olw'ekibi temwakiriiridde mu Kifo Ekitukuvu? Kintu kitukuvu nnyo. Kyabaweebwa, mwetikke bwe mutyo omusango gw'ebyonoono by'ekibiina kyonna, muddaabirize ku lwabwe eri Omukama.
18
Kubanga omusaayi gwakyo tegwayingizibwa mu Kitukuvu, mwali muteekwa okukiriira mu Kifo Ekitukuvu, nga bwe nabalagira.”
19
Aroni n'ayanukula Musa nti: “Olwa leero baweerezza ku lwabwe ekitambiro olw'ekibi n'ekitambiro ekyokye mu maaso g'Omukama, naye ebiri nga bino byanzijidde. Mba kulya kitambiro olw'ekibi, Omukama yandisanyuse?”
20
Musa bwe yawulira ekyo, n'amatira.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27