bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 21
Leviticus 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 22 →
1
Omukama yagamba Musa nti: “Yogera eri bakabona batabani ba Aroni obagambe nti: ‘Kabona yeewalanga obutaba mulongoofu olw'omu ku bantu be afudde.
2
Wabula beppo ab'oluganda olw'okumpi, nga nnyina, kitaawe, mutabani we, muwala we, muganda we,
3
ne mwannyina atannafumbirwa kubanga ono akyali mu bulabirizi bwe. Ku lwa bano anaamalanga gaganya n'ataba mulongoofu.
4
Kabona teyeeereteranga bw'atyo butaba mulongoofu olw'okubeera omukulembeze mu bantu be, bw'atyo ne yeeyonoona.
5
“ ‘Bakabona tebamwanga mitwe gyabwe wadde okukomoolerera ebirevu byabwe; tebeesalaasalanga mibiri gyabwe.
6
Babeeranga batukuvu eri Katonda waabwe, era tebayonoonanga linnya lye, kubanga bawongera Omukama ebitambiro n'omuliro, ekyokulya kya Katonda waabwe; awo nno babeeranga batukuvu.
7
“ ‘Bakabona tebawasanga abakazi aboonoonefu bamalaaya oba abaagobwa ewa babbaabwe, kubanga bakabona batukuvu eri Katonda waabwe.
8
“ ‘Kabona omutwalanga nga mutukuvu kubanga aweereza ekyokulya kya Katonda wo. Mutwale nga mutukuvu kubanga nange Omukama abatukuza ndi mutukuvu.
9
“ ‘Muwala wa kabona bwe yeegwagwawazanga n'akola obwamalaaya, abeera ayonoonye erinnya lya kitaawe; ayokebwanga muliro.
10
“ ‘Kabona omukulu, oyo mu baganda be eyayiibwako omuzigo ogusiiga ku mutwe, n'aweebwa obwakabona, okwambala ebyambalo ebitukuvu, tasasamazanga nviiri ze; tayuzanga byambalo bye,
11
era tayingiranga n'akatono awali omulambo, era teyeereteranga obutaba mulongoofu, ne bwe kibanga ku lwa kitaawe wadde nnyina, aleme kwonooneka.
12
Era tavanga mu Kitukuvu kya Katonda, aleme kukijaajaamya, kubanga yatukuzibwa n'omuzigo gwa Katonda ogusiiga. Nze Mukama.
13
“ ‘Awasanga omukazi mbeerera.
14
Tawasanga nnamwandu oba oyo eyagobebwa ewa bba, oba eyeegwagwawaza n'obwamalaaya. Wabula omuwala embeerera ow'omu kika kye gw'awasanga,
15
bw'atyo n'ataweebuula lulyo lwe, kubanga nze Mukama amutukuza.’ ”
16
Omukama yagamba Musa nti:
17
“Gamba Aroni nti: “ ‘Mu batabani bo, mu mazadde gaabwe gonna, aliko enkeka yonna tasemberanga okuweereza Katonda ekyokulya kye.
18
Kubanga buli yenna aliko enkeka taasemberenga: omuzibe w'amaaso, omulema, omusale w'ennyindo, omugongobavu,
19
omumenyefu w'ekigere oba omukono,
20
ow'ebbango, nnakalanga, ow'ensenke, alina olukuku, omubootongo, oba ow'enjagi ezaayatika.
21
Mu baana ba Aroni, buli aliko enkeka tasemberanga kuwongera Mukama bitone n'omuliro. Aliko enkeka, tasaanidde kusembera kuweereza Katonda we kyakulya.
22
“ ‘Ayinza okulya ku kyokulya ekitukuvu ennyo ekya Katonda ne ku mmere entukuvu,
23
naye olw'enkeka emuliko, tasemberanga awali olutimbe, wadde ku mwaliiro, n'ajaajaamya ekifo kyange ekitukuvu, kubanga nze Mukama abitukuza.’ ”
24
Ebyo Musa yabigamba Aroni ne batabani be n'Abayisirayeli bonna.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27