bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 16
Leviticus 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 17 →
1
Omukama yayogera ne Musa nga batabani ba Aroni ababiri bamaze okufa, lwe baasembera mu maaso g'Omukama ne battibwa,
2
n'amugamba nti: “Gamba Aroni muganda wo nti tamalanga gayingira akadde konna mu Watukuvu Ennyo emabega w'olutimbe mu maaso g'Entebe y'Obusaasizi, ebikka ku Ssanduuku, sikulwa ng'afa, kubanga ndabikira mu kire ku Ntebe ey'Obusaasizi.
3
Wabula bw'ati bw'ayingiranga Awatukuvu Ennyo: aleetanga ente ennume ento ey'ekitambiro olw'ekibi, n'endiga ennume olw'ekitambiro ekyokye.
4
Ayambalanga ekkanzu ey'olugoye, ne munda empale ey'olugoye, yeesibanga omusipi ogw'olugoye, n'azingirira ettambaala ku mutwe ery'olugoye; ebyo bye byambalo ebitukuvu; abyambalanga. Amalanga kunaaba na mazzi nga tannabyambala.
5
“Mu Bayisirayeli aggyangayo embuzi bbiri ennume olw'ekitambiro olw'ekibi, n'endiga ennume olw'ekitambiro ekyokye.
6
Aroni aweerezanga ente ennume ento ng'ekitambiro kye olw'ekibi, olw'okuddaabiriza ku lulwe ne ku lw'ennyumba ye.
7
Aleetanga mu maaso g'Omukama embuzi zombi ennume ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
8
Zombi azikubangako akalulu, akamu ku lw'Omukama, akalala ku lwa Azazeli.
9
Aroni addiranga embuzi akalulu gye kaguddeko ku lw'Omukama n'agiweereza olw'ekitambiro olw'ekibi.
10
Embuzi endala akalulu gye kaguddeko ng'eya Azazeli agireetanga mu maaso g'Omukama nga nnamu ku lw'okuddaabiriza ng'esindikibwa eri Azazeli mu ddungu.
11
“Aroni aweerezanga ente ennume ento ey'ekitambiro olw'ekibi okuddaabiriza ku lulwe ne ku lw'ennyumba ye, ente ennume ento n'agitta ng'ekitambiro kye olw'ekibi.
12
Addiranga ekyoterezo ky'ajjuzizza amanda agengeredde g'aggye ku mwaliiro oguli mu maaso g'Omukama, n'embatu bbiri ez'obubaani obw'olufufugge, obuwunya akawoowo, n'abitwala emabega w'olutimbe.
13
Olwo n'ateeka obubaani ku manda mu maaso g'Omukama, omukka gwabwo ne gukola ekire ne kibikka Entebe y'Obusaasizi eri ku Ndagaano, bw'atyo n'atafa.
14
Addiranga ku musaayi gw'ente ennume ento n'amansira n'olugalo kungulu ku Ntebe y'Obusaasizi, ate n'amansira emirundi musanvu mu maaso gaayo.
15
“Olwo attanga embuzi ey'ekitambiro olw'ekibi ku lw'abantu. Ayingiranga Awatukuvu Ennyo n'omusaayi gwayo n'agukola kye kimu nga bwe yakoze ogw'ente ennume ento: agumansiranga ku Nnamulondo y'Obusaasizi ne mu maaso gaayo.
16
Anaddaabirizanga bw'atyo Awatukuvu Ennyo olw'obutali bulongoofu, emisango n'ebibi eby'Abayisirayeli ebirala byonna. Mu ngeri ye emu era bw'aliddaabirizanga Weema ey'Ensisinkano, esula mu makkati gaabwe, eyeetooloddwa obutali bulongoofu bwabwe.
17
Tewabangawo muntu n'omu abeera mu Weema ey'Ensisinkano nga kabona ayingira Awatukuvu Ennyo okuddaabiriza ku lulwe ne ku lw'ennyumba ye ne ku lw'ekibiina kyonna ekya Yisirayeli, okutuusa lw'afuluma.
18
Avangayo, n'alaga ku mwaliiro oguli mu maaso g'Omukama n'aguddaabiriza. Addiranga ku musaayi gw'ente ennume ento n'embuzi ennume n'agussa ku mayembe g'omwaliiro.
19
Anaamansiranga omwaliiro omusaayi n'olugalo lwe emirundi musanvu n'agitukuzaako obutali bulongoofu bw'Abayisirayeli.
20
“Bw'amalirizanga okuddaabiriza Awatukuvu Ennyo ne Weema ey'Ensisinkano ko n'omwaliiro, olwo asembezanga embuzi ennume nga nnamu.
21
Aroni agissangako emikono gye gyombi, n'ayatulirako ebyonoono byonna eby'Abayisirayeli, emisango gyabwe gyonna n'ebibi byabwe byonna, n'abissa ku mutwe gwayo, n'agisindika mu ddungu ng'agikwasa omuntu ategekeddwa okugitwalayo.
22
Embuzi eryetikka ebibi byabwe byonna n'ebitwala mu ddungu, eyagikulembedde n'agireka eyo mu ddungu.
23
“Olwo Aroni ayingiranga mu Weema ey'Ensisinkano n'aggyamu ebyambalo by'abaddemu ng'ayingira mu Watukuvu Ennyo, n'abireka eyo.
24
Anaabanga omubiri n'amazzi mu kifo ekitukuvu n'ayambala engoye ze eza bulijjo. Afulumanga n'aweereza ekitambiro ekyokye, ekikye n'eky'ekibiina, n'addaabiriza ku lulwe ne ku lw'abantu.
25
N'amasavu ag'ekitambiro olw'ekibi agookeranga ku mwaliiro.
26
“Oli eyatadde embuzi ennume eya Azazeli mu ddungu ayozanga ebyambalo bye, n'omubiri n'agunaaba n'amazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira.
27
Ente ennume ento n'embuzi ennume eby'ekitambiro olw'ekibi, omusaayi gwabyo ogwayingiziddwa Awatukuvu Ennyo olw'okuddaabiriza, bifulumizibwanga ebweru w'olusiisira: amaliba, ennyama n'obusa ne byokebwa omuliro.
28
Oyo alibyokya ayozanga ebyambalo bye n'omubiri n'agunaaba n'amazzi; oluvannyuma anaayingiranga mu lusiisira.
29
“Lino lye tteeka lyammwe ery'olubeerera: “Mu mwezi ogwomusanvu nga gwakamala ennaku kkumi, musiibanga, temukolanga mulimu na gumu, abeere muzaaliranwa oba omugwira asula mu mmwe.
30
Kubanga olunaku olwo wanaabangawo okuddaabiriza ku lwammwe okubatukuza; mu maaso g'Omukama muliba balongoofu abataliiko kibi.
31
Eneebanga Sabbaato yammwe ya kuwummula; musiibanga. Lino tteeka lya lubeerera.
32
“Kabona eyasiigibwa omuzigo okusikira kitaawe nga kabona omukulu, y'akolanga emikolo egy'okuddaabiriza. Ayambalanga ebyambalo eby'engoye, ebyambalo ebitukuvu,
33
n'addaabiriza ku lw'Awatukuvu Ennyo, ku lwa Weema ey'Ensisinkano ne ku lw'omwaliiro, ku lwa bakabona ne ku lw'abantu bonna.
34
Lino tteeka lyammwe ery'olubeerera: Okuddaabiriza ku lw'ebibi by'Abayisirayeli kwa kukolebwanga omulundi gumu mu mwaka.” Ne bakola nga Katonda bwe yali alagidde Musa.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27