bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 14
Leviticus 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 15 →
1
Era Omukama yagamba Musa nti:
2
“Lino lye tteeka ly'omukolo ogw'okutukuza omugenge ku lunaku lw'alitukuzibwa: Omugenge aleetebwanga ewa kabona.
3
Kabona agendanga ebweru w'olusiisira n'amukebera; bw'abanga awonye ekigenge kye,
4
kabona anaalagiranga ne baleeta, olw'ono ow'okutukuzibwa, ennyonyi bbiri ennamu ennongoofu, akati k'entolookyo, ewuzi entwakaavu ne yissopo.
5
Emu ku nnyonyi alagiranga n'ettirwa mu kibya eky'ebbumba mu mazzi ag'oku luzzi.
6
Addiranga ennyonyi endala ennamu, wamu n'akati k'entolookyo, n'olugoye olutwakaavu ko yissopo n'abinnyika mu musaayi gw'ennyonyi eyattiddwa ku mazzi ag'oku luzzi.
7
Omusaayi ogwo n'agumansira emirundi musanvu ku mugenge ow'okutukuza, n'amulangirira nti mulongoofu. Awo ennyonyi ennamu aligirekanga n'ebuuka n'eraga mu ttale.
8
Ow'okutukuza ayozanga engoye ze, n'amwa obwoya bwonna ku mubiri n'anaaba n'amazzi; awo anaabanga alongoose. Olwo aliyingira mu lusiisira, naye asigalanga bweru wa weema ye okumala ennaku musanvu.
9
Ku lwomusanvu amwanga enviiri ze, n'ekirevu n'ebisige, n'obwoya ku mubiri gwe gwonna. Engoye ze azoozanga n'anaaba n'omubiri, olwo anaabanga alongoose.
10
“Ku lunaku olwomunaana, aleetanga obuliga bubiri obulume obutaliiko kamogo n'akaliga akakazi ak'omwaka ogumu akataliiko kamogo, n'obuwunga obw'eŋŋano obukuŋŋunte obulungi obuweza ebyekkumi bisatu ebya efa ne logi emu ey'omuzigo.
11
Kabona anaamulangirira okuba omulongoofu amuleetanga na bino byonna n'amwanjula mu maaso g'Omukama ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
12
Awo kabona addiranga akaliga akalume akamu n'akaweereza ng'ekitambiro olw'omusango wamu ne logi y'omuzigo. Bino abiwuubanga mu maaso g'Omukama ng'ekitone eky'okuwuuba.
13
Akaliga akattiranga mu kifo ekitukuvu we battira ebitone eby'ekitambiro olw'ekibi n'eby'ekitambiro ekyokye. Nga bwe kiri ku kitambiro olw'ekibi, n'eby'ekitambiro olw'omusango biddira kabona, bintu bitukuvu nnyo.
14
Kabona addiranga ku musaayi gw'ekitambiro olw'omusango n'agusiiga ku kasammambiro k'okutu okwa ddyo we n'okw'oyo atukuzibwa, ne ku kyalakisajja owa ddyo we n'ekigere ekisajja ekya ddyo we.
15
Kabona addiranga ku logi y'omuzigo n'aguyiwa mu kibatu kye ekya kkono,
16
n'annyika olunwe lwe olwa ddyo mu muzigo oguli mu kibatu kye ekya kkono, n'amansira emirundi musanvu mu maaso g'Omukama.
17
Kabona addiranga omuzigo ogukyali mu kibatu n'agusiiga ku kasammambiro k'okutu okwa ddyo ne ku kyalakisajja owa ddyo we n'ekigere ekisajja ekya ddyo we, kungulu ku musaayi gw'ekitambiro olw'omusango.
18
Era ogukyafisseewo mu kibatu kabona aguyiwanga ku mutwe gw'oli atukuzibwa, bw'atyo anaddaabirizanga ku lulwe mu maaso g'Omukama.
19
Kabona olwo atambiranga ekitambiro olw'ekibi n'addaabiriza ku lw'oyo atukuzibwako obutali bulongoofu. “Awo anattanga ekitone ky'ekitambiro ekyokye.
20
Kabona akiweerezanga ku mwaliiro wamu n'ekitone eky'obuwunga, n'addaabiriza ku lulwe, olwo anaabanga alongoose.
21
“Bw'aba nga mwavu ebyo nga taasobole kubifuna: aleetanga akaliga akalume ng'ekitambiro olw'omusango kawuubwe olw'okuddaabiriza ku lulwe, ko n'obuwunga obw'eŋŋano obukuŋŋunte obulungi obuweza ekyekkumi kimu ekya efa nga butabuddwamu omuzigo olw'ekitone eky'obuwunga, ko ne logi y'omuzigo,
22
ko amayiba abiri oba obuyiibwa obuto bubiri, bw'aliba asobodde okufuna, akamu ka kitambiro olw'ekibi ate akalala ka kitambiro ekyokye.
23
Abiweerezanga ku lunaku olwomunaana olw'okutukuzibwa kwe n'abikwasa kabona ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano mu maaso g'Omukama.
24
Kabona addiranga akaliga ak'ekitambiro olw'omusango ne logi y'omuzigo wamu n'abiwuuba mu maaso g'Omukama ng'ekitone eky'okuwuuba.
25
Olwo n'atta akaliga ak'ekitambiro olw'omusango, n'addira ku musaayi gwako n'agusiiga ku kasammambiro k'okutu okwa ddyo okw'oli atukuzibwa ne ku kyalakisajja owa ddyo we, n'ekigere ekisajja ekya ddyo we.
26
Kabona afukanga ekitundu ky'omuzigo mu kibatu ekya kkono we,
27
n'amansira n'olunwe olwa ddyo we emirundi musanvu mu maaso g'Omukama.
28
Omuzigo ogukyali mu kibatu kye agusiiganga we yasiize omusaayi gw'ekitone eky'ekitambiro olw'omusango, kwe kugamba, ku kasammambiro k'okutu okwa ddyo okw'oli atukuzibwa, ku kyalakisajja owa ddyo we ne ku kigere ekisajja ekya ddyo we.
29
Omuzigo ogusigaddewo mu kibatu kabona aguyiwanga ku mutwe gw'atukuzibwa, addaabirize ku lulwe mu maaso g'Omukama.
30
Olwo atambiranga amayiba oba obuyiibwa, oli by'aliba asobodde okufuna,
31
akamu ng'ekitambiro olw'ekibi, ate akalala ng'ekitambiro ekyokye, awamu n'ekitone eky'obuwunga. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga mu maaso g'Omukama ku lw'oyo atukuzibwa.
32
“Eryo lye tteeka ery'oyo aliko ekigenge ayagala okutukuzibwa naye nga tasobola kufuna bitone olw'okutukuzibwa kwe.”
33
Omukama yagamba Musa ne Aroni nti:
34
“Bwe muyingiranga mu nsi y'e Kanaani gye ndibawa ng'obutaka bwammwe, ne nkuba n'ekigenge eky'obukuku ennyumba ey'omu nsi eribaweebwa ng'obutaka bwammwe,
35
nnannyini nnyumba agendanga n'abuulira kabona nti: ‘Mu nnyumba yange ndabyemu ekifaanana okuba obukuku.’
36
Kabona alagiranga ne bafulumya byonna ebiri mu nnyumba nga tannayingira kukebera bukuku, sikulwa nga byonna abirangirira nti si birongoofu; oluvannyuma ayingiranga, n'akebera ennyumba.
37
Akeberanga obukuku ku bisenge, bwe wabangayo awamogose obukuku nga mu ndabika yaawo wa kiragalalagala oba nga wamyuukirivu, ate nga wasse nnyo mu kisenge,
38
kabona afulumanga ennyumba, ng'atuuse ku mulyango n'agiggala okumala ennaku musanvu.
39
Ku lunaku olwomusanvu kabona akomangawo n'agikebera; bw'asanganga obukuku bubunye ku kisenge,
40
alagiranga n'amayinja agakwatiddwa ne gakoonebwamu, ne gasuulibwa ebweru w'ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu.
41
Alagiranga ennyumba n'ekalakatibwa munda okugyetoolooza, omwiko ogukalakatiddwako ne gusuulibwa ebweru w'ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu,
42
ne bazza amayinja amalala mu kifo kya gali agaggyibwamu, ne baddira omwiko omuggya ennyumba ne bagimaala.
43
“Obukuku bwe buddamu okuyiwa mu nnyumba oluvannyuma lw'amayinja okuggyibwamu, ebisenge okukalakatibwa, n'okumaalibwa,
44
kabona addangamu n'akebera ennyumba. Obukuku bwe buba bubunye mu nnyumba, ekyo kigenge ekikwata, ennyumba si nnongoofu.
45
Bagyabyanga, amayinja gaayo, embaawo n'omwiko eby'ennyumba eyo ne bitwalibwa ebweru w'ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu.
46
“Ayingiranga mu nnyumba eyo ng'emaze okuggalibwa taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
47
Ate oli anaabanga asuzeemu oba n'abaako ky'aliiriddemu, ayozanga engoye ze.
48
“Kabona bw'ayingiranga, obukuku ne buba nga tebubunye mu nnyumba oluvannyuma lw'ennyumba okumaalibwa, olwo alangiriranga nti nnongoofu, kubanga okukukula kugenze.
49
Okutukuza ennyumba, anaaleetanga ennyonyi bbiri, akati k'entolookyo, ewuzi entwakaavu ne yissopo.
50
Attanga emu ku nnyonyi mu kibya ky'ebbumba mu mazzi ag'oku luzzi.
51
Olwo n'addira akati k'entolookyo ne yissopo n'olugoye olutwakaavu n'ennyonyi ennamu n'abinnyika mu musaayi gw'ennyonyi etambiddwa ne mu mazzi ag'oku luzzi, n'amansira ennyumba emirundi musanvu.
52
Ennyumba anaagitukuzanga n'omusaayi gw'ennyonyi n'amazzi ag'oku luzzi n'ennyonyi ennamu, ssaako akati k'entolookyo ne yissopo n'ewuzi entwakaavu.
53
Olwo ennyonyi ennamu agiteeranga ku ttale ebweru w'ekibuga; bw'atyo anaddaabirizanga ku lw'ennyumba, olwo eneebanga nnongoofu.”
54
Lino lye tteeka ku buli kigenge eky'oku mubiri, ekikeke,
55
obukuku ku ngoye, obukuku mu nnyumba,
56
ku kizimba, okubutukabutuka n'ebiba,
57
okusobola okumanya nti ekintu kirongoofu oba si kirongoofu. Lino lye tteeka ku bigenge ne ku bukuku.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27