bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 26
Leviticus 26
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 27 →
1
“ ‘Temwekoleranga bifaananyi bya balubaale ebyole, temusimbanga mpagi za mayinja, era mu nsi yammwe temussangamu bifaananyi bya balubaale bibajje mu mayinja kubisinza. Kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
2
Mutukuzanga Sabbaato zange, mussanga ekitiibwa mu kifo kyange ekitukuvu. Nze Mukama.
3
“ ‘Bwe muligoberera amateeka gange ne mukwata ebiragiro byange, ne mubituusa,
4
ndibawanga enkuba mu budde bwayo, ettaka liribabaliza ensigo yaalyo n'emiti giribawanga ebibala byagyo.
5
Okuwuula ebikunguddwa kulituusanga ku kunoga emizabbibu, n'okunoga kulituusanga ku kusiga; muliryanga omugaati gwammwe ne mukkuta, ensi yammwe muligituulamu ntende.
6
“ ‘Ndiwa eddembe ensi yammwe; mulikkalira bulungi nga tewali abakanga. Ebisolo ebikambwe ndibigoba mu nsi, n'ekitala tekiriyitako mu nsi yammwe.
7
Muliwondera abalabe bammwe, ne bafa ekitala kyammwe awo mu maaso gammwe.
8
Abataano mu mmwe baliwondera ekikumi, n'ekikumi baliwondera omutwalo, abalabe bammwe ne bafa ekitala kyammwe awo mu maaso gammwe.
9
“ ‘Nzija kubassaako eriiso, mbawe muzaale, mwale; ndinyweza endagaano yange nammwe.
10
Muliba mukyalya ku byakungulwa mu mwaka oguyise, ne muwalirizibwa okuggyamu ebikadde mukolere ebiggya ekifo.
11
“ ‘Ekisulo kyange nzija kukissa mu makkati gammwe, omutima gwange tegulibeetamwa.
12
Nditambulanga mu mmwe, ndibeera Katonda wammwe, nammwe mulibeera bantu bange.
13
Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu Misiri mukome okuweereza Abamisiri obuddu; nze namenya emiti gy'ekikoligo kyammwe, ne mutambula nga mwegolodde.
14
“ ‘Naye bwe mutalimpulira, ne mutakola byonna bye mbalagira,
15
bwe muligaya ennamula yange, bwe mulikyawa amateeka gange, bwe mutalituusa mpisa zange, bwe mutyo ne mumenya endagaano yange,
16
nange bino bye ndibakola: “ ‘Ndibaleetera ebikangabwa, endwadde ezikenenya, emisujja egiziba amaaso n'egyo egikonvubya; mulisigiranga bwereere ensigo, kubanga abalabe bammwe be balibirya.
17
Ndibeefuulira, abalabe bammwe ne babalinnyako; abo ababakyawa be balibafuga; mulidduka nga mpaawo n'abagoba.
18
“ ‘Singa n'oluvannyuma temulimpulira, ndibabonereza okusingawo emirundi musanvu olw'ebibi byammwe.
19
Ndimenya okwekuza kw'obuyinza bwammwe. Eggulu ndirifuula ng'ekyuma waggulu wammwe n'ettaka ne liba ng'ekikomo wansi wammwe.
20
Okutegana kwammwe kulibeeranga kwa bwereere, kubanga ettaka teriimezenga nsigo, n'emiti tegiibalenga bibala.
21
“ ‘Bwe mulinneefuulira okunnwanyisa nga temwagala kumpulira, ebibonerezo byammwe ndibikubisaamu emirundi musanvu ebibi byammwe nga bwe bigwanira.
22
Ndibasindikira ebisolo eby'oku nsiko; biribamalako abaana, ne bizikiriza amagana gammwe, nammwe biribakendeeza n'enguudo zammwe zirisigala nkalu.
23
“ ‘N'ekyo bwe kitalimala kubazza gye ndi, ne mwongera okunnwanyisa,
24
nange mwene ndibalwanyisa, ndibabonereza emirundi musanvu olw'ebibi byammwe.
25
Ndibasindikira ekitala kiwoolere eggwanga olw'okumenya endagaano yange. Bwe muliddukira mu bibuga byammwe ndibayiwamu kawumpuli ne mbawaayo mu mikono gy'omulabe.
26
Ndisala ku kibasakirira emmere, olwo abakazi kkumi balifumbanga omugaati gwammwe mu kabiga kamu, buli omu ne bamugabira mu kipimo kye, muliryanga naye temulikkuta.
27
“ ‘Ne mu ebyo byonna bwe mutalimpulira, ne mwongera okunnwanyisa,
28
nange mu busungu bwange ndibalwanyisa, nze mwene ndibabonereza emirundi musanvu olw'ebibi byammwe.
29
Mulirya ennyama ya batabani bammwe ne bawala bammwe.
30
Ebiggwa byammwe ebigulumivu ndibizikiriza, n'emyaliiro kwe mwokera obubaani ndigimenyaamenya, emirambo gyammwe ndigituuma ku mirambo gy'ebifaananyi byammwe ebya balubaale; omutima gwange gulibeetamwa.
31
Ebibuga byammwe ndibifuula matongo, ebifo byammwe ebitukuvu birifuuka bifulukwa, siriwunyiriza na kawoowo ka bitambiro byammwe akasanyusa.
32
Ensi yammwe nzija kugireka matongo n'abalabe bammwe abaagisengamu eribeewuniikiriza.
33
Mmwe nzija kubasaasaanya mu mawanga; ndisowola ekitala kyange ne mbagoba. Ensi yammwe erifuuka ddungu, n'ebibuga byammwe matongo.
34
Ensi eryeyagalira mu sabbaato zaayo ennaku z'erimala nga ddungu nga mmwe muli mu nsi y'abalabe bammwe; eriba mu kuwummula ng'esanyukira mu sabbaato zaayo.
35
Mu bbanga eryo w'eribeerera eddungu, eriba mu kuwummula, kw'etaafuna ku sabbaato zammwe bwe mwali mukyagirimu.
36
Ku mmwe abaliba basigaddewo, ndireetera emitima gyabwe okutekemuka mu nsi z'abalabe baabwe gye baliba, n'akakoola obukoola empewo k'efuuye kalibakanga ne badduka ng'abadduka ekitala; balidduka bwe bagwa newandibadde nga tewali abagoba.
37
Omu alyesittala ku munne, ne bagwaŋŋanako kyenkana ng'abadduka ekitala, sso nga mpaawo abagoba. Temulifuna gayimirira mu maaso g'abalabe bammwe;
38
mulizikiririra mu mawanga, ensi y'abalabe bammwe eribabwebwena.
39
Era bwe walibaawo abakyasigaddewo, eyo gye bali mu nsi z'abalabe baabwe gye balikonvubira olw'ebibi byabwe, n'olw'ebibi bya bajjajjaabwe balikonvuba.
40
“ ‘Bwe balyatula ebibi byabwe n'ebya bajjajjaabwe, enkwe zaabwe n'okunnwanyisa,
41
nange ebyandeetera okubalwanyisa ne mbawaŋŋangusiza mu nsi y'abalabe baabwe, kale nno ng'omutima gwabwe ogutali mutayirire gwetoowazizza, ne basasula olw'ekibi kyabwe,
42
olwo ndijjukira endagaano yange gye nakola ne Yakobo, n'endagaano yange ne Yizaake, n'endagaano yange ne Yiburayimu, n'ensi ndigijjukira.
43
Ensi baligireka awo ttayo, kyokka erisanyukira mu sabbaato zaayo ebbanga ly'eribeerera awo nga tebaliimu. Bo balisasula olw'ebibi byabwe, kubanga ddala baasambajja ennamula yange n'amateeka gange ne bagakyawa.
44
“ ‘Newandibadde ebyo biri bityo, nga bali mu nsi y'abalabe baabwe, sigenda kubasuulira ddala na kubeetamwa kutuusa ku kubamalirawo ddala, ate ne mmenya bwe ntyo endagaano yange nabo. Nze Mukama Katonda waabwe.
45
Ndijjukira ku lwabwe endagaano yange gye nakola ne bajjajjaabwe lwe nabaggya mu nsi y'e Misiri ng'amawanga galaba, ndyoke mbeere Katonda waabwe. Nze Mukama.’ ”
46
Bino ge mateeka, ennamula n'ebiragiro Omukama bye yassaawo wakati we n'Abayisirayeli ku lusozi Sinayi ng'ayita mu Musa.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27