bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 11
Leviticus 11
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 12 →
1
Omukama yagamba Musa ne Aroni nti:
2
“Mugambe Abayisirayeli nti: ‘Zino ze nsolo ze muyinzanga okulya mu nsolo zonna ez'oku lukalu:
3
Buli nsolo eyawula ekiganja, ekinuulo nga kiryebulemu, ate ng'ezza obwenkulumu, eyo mugiryanga.
4
Naye zino temuziryanga okuva mu ezo ezizza obwenkulumu oba mu zaawula ekiganja: eŋŋamiya kubanga ezza obwenkulumu naye teyawula kiganja; eyo si nnongoofu gye muli;
5
omusu guzza obwenkulumu naye tegwawula kiganja; si mulongoofu gye muli;
6
akamyu, kubanga nako kazza obwenkulumu naye tekaawula kiganja, si kalongoofu gye muli;
7
n'embizzi eyawula ekiganja, ekinuulo kiryebulemu, naye tezza bwenkulumu, si nnongoofu gye muli.
8
Temulyanga nnyama yaabyo wadde okukwata ku kalannamye waabyo kubanga si birongoofu gye muli.
9
“ ‘Ku byonna ebibeera mu mazzi ag'omu nnyanja oba mu migga, bino bye muyinza okulya: buli ekirina amayindu n'amagamba; ebyo muyinza okubirya.
10
Naye mu by'omu mazzi, mu migga oba mu nnyanja, ekitalina mayindu n'amagamba, mu ebyo ebifumbekedde mu mazzi, ne mu byonna ebisula mu mazzi, mubyenyinyalanga.
11
Ebyo byenyinyalwa; awo nno temubiryanga nnyama, ne kalannamye waabyo mumwenyinyalanga.
12
Byonna eby'omu mazzi ebitalina mayindu n'amagamba mubyenyinyalanga.
13
“ ‘Mu nnyonyi, zino muzeenyinyalanga, temuziryanga, zeenyinyalwa: empungu, ensega ne makwanzi;
14
kamunye, buli kika kya ddiirawamu,
15
buli kika kya nnamuŋŋoona;
16
wonzi, olubugabuga, enkunga na buli kika kya kakubampanga;
17
ekiwuugulu, olusoove n'ekkukufu,
18
ennunda, ekiwuugulu eky'amatu, eŋŋaaŋa,
19
enkonkonamasonko, buli kika kya ssekanyolya, ekkookootezi n'ekinyira.
20
“ ‘Ebiwuka byonna ebibuuka ebitambulira ku magulu ana, ebyo mubyenyinyalanga.
21
Naye bino muyinza okubirya mu ebyo ebiwuka ebibuuka nga birina amagulu ana: ebyo ebirina amagulu abiri amawanvu waggulu ku bigere byabyo okusobola okuccoppa ku ttaka;
22
ebyo muyinza okubirya, nga: buli kika kya nzige, buli kika kya jjenje, buli kika kya jjanzi na buli kika kya nseenene.
23
Ebirala mu bibuuka byonna nga birina amagulu ana gokka mubyenyinyalanga.
24
“ ‘Mugenda kweyonoona n'ebyo; alikwata ku kalannamye waabyo taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
25
Buli yenna alirondawo kalannamye waabyo, ayozanga engoye ze, era alisigala si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
26
Buli nsolo yonna eyawula ekiganja, naye ng'ebitundu by'ekiganja tebyawukanidde ddala, oba nga tezza bwenkulumu, eyo si nnongoofu gye muli. Oli agikutteko taabenga mulongoofu.
27
Mu bisolo byonna eby'amagulu ana, ebitambuza ebibatu, si birongoofu gye muli; akwatanga ku kalannamye waabyo taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28
Oli aggyawo kalannamye w'ebyo, ayozanga engoye ze, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi, kubanga ebyo byonna si birongoofu gye muli.
29
“ ‘Ku byewalula ku ttaka, na bino si birongoofu gye muli: eggunju, emmese, n'ebika byonna eby'eminya:
30
ekkonkome, enswaswa, ebinya, omunya ne nnawolovu.
31
“ ‘Byonna ebyewalula ku ttaka si birongoofu gye muli; oli abikwatangako nga bifudde, abeera si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
32
Singa ekimu ku ebyo, nga kifu, kigwa ku kintu, ekintu ekyo tekibenga kirongoofu, kibeere kya muti, lugoye, ddiba oba kkutiya. Kinnyikibwanga mu mazzi, naye tekibenga kirongoofu okutuusa akawungeezi, oluvannyuma kiriba kirongoofu.
33
Naye bwe kigwa mu kintu eky'ebbumba, kyonna ekirimu tekibenga kirongoofu, nakyo mukyasanga bwasa.
34
Emmere ey'okulya bw'eba nga yatonnyeeko amazzi agavudde mu nsuwa eyo, teebenga nnongoofu; na buli kyakunywa ekivaamu tekiibenga kirongoofu.
35
Na buli kintu ekitundu kya kalannamye kwe kiba kigudde tekibenga kirongoofu; bwe kaba akabiga oba entamu byasibwanga bwasibwa, si birongoofu; si birongoofu gye muli.
36
Oluzzi n'ekidiba omukuŋŋaanira amazzi bisigala birongoofu, naye akoona ku kalannamye waabyo taabenga mulongoofu.
37
Kalannamye w'ebyo singa abeera agudde ku nsigo ez'okusiga, zisigala nnongoofu.
38
Naye singa ekitundu kya kalannamye w'ebyo kizigwako, teziibenga nnongoofu gye muli.
39
“ ‘Ensolo gye mukkirizibwa okulya bw'efanga, oli amala akwata ku kalannamye waayo, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
40
Abanga alidde ku kalannamye waayo, ayozanga engoye ze, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. N'oyo anaabanga asituddewo kalannamye oyo ayozanga engoye ze, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi
41
“ ‘Buli kyonna ekyewalula ku ttaka kyenyinyalwa; tekiriibwanga.
42
Buli kyonna ekyekululira ku kifuba, oba ku magulu ana, oba ku bugulu obungi, oba ekyewalula ku ttaka, temukiryanga kubanga kyenyinyalwa.
43
Temwejaajaamyanga na bino ebyewalula; mwewalanga okufuuka abatali balongoofu olw'ebyo, oba byo okubafuula abatali balongoofu.
44
Nze Mukama Katonda wammwe; mwetukuze mubeere batukuvu, kubanga nange ndi mutukuvu. Temweyonoonanga olw'ekintu n'ekimu ekyewalula ku ttaka,
45
Nze Mukama eyabaggya mu nsi y'e Misiri, mbeere Katonda wammwe. Awo nno mubeeranga batukuvu, kubanga nange ndi mutukuvu.
46
“ ‘Lino lye tteeka erifa ku bisolo ne ku binyonyi ne ku buli kiramu ekiri mu mazzi n'ebyewalula ku ttaka.
47
Mwawulanga ebirongoofu ku bitali birongoofu, ebiramu bye muyinza okulya ku ebyo ebizira okulya.’ ”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27