bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 4
Leviticus 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 5 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Oli bw'ayonoonanga mu butanwa, n'abaako ky'akola ku ebyo ebigaanibwa mu biragiro by'Omukama, anaakolanga ati:
3
“ ‘Kabona omusiige bw'akolanga ekibi, n'aleetera atyo abantu okugwa mu musango, olw'ekibi kye ekyo ky'akoze, atoolanga mu ggana ente ennume ento etaliiko kamogo ng'ekitone eri Omukama olw'ekitambiro olw'ekibi.
4
Atwalanga ente ennume ento ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano mu maaso g'Omukama, n'assa omukono ku mutwe gwayo, n'agittira awo mu maaso g'Omukama,
5
Kabona omusiige asenanga ku musaayi gwayo n'aguyingiza mu Weema ey'Ensisinkano.
6
Annyikanga engalo mu musaayi, n'agumansira emirundi musanvu mu maaso g'Omukama, mu maaso g'olutimbe lw'Ekitukuvu.
7
Kabona addiranga ogumu ku musaayi ogwo n'agussa ku mayembe g'omwaliiro ogw'obubaani mu maaso g'Omukama oguli mu Weema ey'Ensisinkano. Omusaayi omulala gwonna ogusigaddewo aguyiwanga awo wansi w'omwaliiro ogw'ekitambiro ekyokye oguli ku mulyango gwa Weema.
8
“ ‘Aggyangamu amasavu gonna ag'ente ennume ey'ekitambiro olw'ekibi, agabikkiridde ebyenda na buli kyonna ekisava ekiriko,
9
ensigo zombi ko amasavu gaakwo agazibikka eno nga mu ndira, n'olububi lw'oku kibumba; aggyangako amasavu ago nga bw'akola ku nsigo,
10
mu ngeri ye emu ng'amasavu bwe gaggyibwa mu nte olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Byonna ebyo kabona anaabyokeranga ku mwaliiro gw'ekitambiro ekyokye.
11
Naye eddiba n'ennyama yonna, omutwe n'ebigere ko n'obusa,
12
kwe kugamba nti byonna ebisigaddewo ku nte ennume, abifulumyanga ebweru w'olusiisira, mu kifo ekirongoofu awayiibwa evvu ly'amasavu, n'abyokera ku nku n'omuliro; byokerwanga mu kifo awayiibwa evvu ly'amasavu.
13
“ ‘Ekibiina kya Yisirayeli kyonna bwe kikolanga ekibi, naye mu butanwa, nga kye bakola tebakitegedde, ne babaako bye bakola ku ebyo ebigaanibwa mu biragiro by'Omukama, banaabanga bazizza omusango.
14
Oluvannyuma bwe bategeera ekibi kyabwe, ekibiina kyonna wamu kinaaweerezanga olw'ekitambiro olw'ekibi, ente ennume ento; banaagireetanga mu maaso ga Weema ey'Ensisinkano.
15
Olwo abakadde b'ekibiina, banaagissangako emikono ku mutwe mu maaso g'Omukama, ne bagittira mu maaso g'Omukama.
16
Awo Kabona omusiige, anaddiranga ku musaayi gwayo n'aguyingiza mu Weema ey'Ensisinkano
17
n'annyikamu olugalo, n'amansira mu maaso g'Omukama emirundi musanvu mu maaso g'olutimbe.
18
Era ku musaayi ogwo anaggyangako ogumu n'agussa ku mayembe g'omwaliiro oguli mu maaso g'Omukama mu Weema ey'Ensisinkano. Omusaayi ogusigaddewo aguyiwanga wansi awo ku mwaliiro gw'ekitambiro ekyokye oguli ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
19
Anaggyangamu amasavu gaamu gonna n'agookera ku mwaliiro.
20
Nga bwe yakola ku nnume ey'ekitambiro olw'ekibi, bw'alikola ne ku nnume eno. Bw'atyo Kabona anaddaabirizanga olw'ekisobyo kyabwe, era olwo banaasonyiyibwanga.
21
Olwo ente ennume yennyini agifulumyanga ebweru w'olusiisira n'agyokya nga bwe yakola ku nnume eyasoose. Kino kye kitambiro olw'ekibi ku lw'ekibiina.
22
“ ‘Omukulembeze bw'akolanga ekibi mu butanwa, n'abaako ky'akola ku ebyo ebigaanibwa mu biragiro by'Omukama, newandibadde ng'akikoze nga tamanyi, anaabanga azzizza omusango.
23
Bw'amanyisibwanga ekibi kye kye yakola, aleetanga embuzi ennume eteriiko kamogo ng'ekitone kye.
24
Assanga omukono ku mutwe gwayo n'agittira mu kifo awattirwa ekitone ky'ekitambiro ekyokye mu maaso g'Omukama; kino kitambiro olw'ekibi.
25
Olwo kabona addiranga ku musaayi gw'ekitambiro olw'ekibi, n'aguteeka ku mayembe g'omwaliiro ogw'ekitambiro ekyokye n'olugalo lwe, ate ogusigaddewo n'aguyiwa awo wansi w'omwaliiro.
26
Amasavu go agookeranga kungulu ku mwaliiro, nga bw'akola ku kitambiro eky'okussa ekimu. Bw'atyo Kabona anaddaabirizanga olw'ekibi ky'omukulembeze, era olwo anaasonyiyibwanga.
27
“ ‘Omu mu kibiina singa anaagwanga mu kibi mu butanwa, n'abaako ky'akola ku ebyo ebigaanibwa mu biragiro by'Omukama, anaabanga azzizza omusango.
28
Bw'anaamanyisibwanga ekibi kye, aleetanga mu maaso g'Omukama embuzi enduusi etaliiko kamogo ng'ekitambiro kye olw'ekibi kye kye yakola.
29
Ateekanga omukono gwe ku mutwe gw'ekitone ekinaaweerezebwa olw'ekibi, n'agittira mu kifo awattirwa ekitone eky'ekitambiro ekyokye.
30
Olwo kabona anaddiranga ku musaayi gw'ekitambiro olw'ekibi, n'aguteeka ku mayembe g'omwaliiro gw'ekitambiro ekyokye n'olugalo lwe, ate ogusigaddewo n'aguyiwa awo wansi w'omwaliiro.
31
Amasavu gonna agaggyangako, ng'amasavu bwe gaggyibwa ku kitone ky'ekitambiro eky'okussa ekimu, olwo kabona n'agookera ku mwaliiro ng'ekitambiro, ng'akawoowo akasanyusa Omukama. Bwatyo kabona anaddaabirizanga ku lulwe, era olwo anaasonyiyibwanga.
32
“ ‘Bw'abanga aleese ndiga ng'ekitone olw'ekitambiro olw'ekibi aleetanga akaliga kaluusi, akataliiko kamogo.
33
“ ‘Assanga omukono ku mutwe gwako n'akattira mu kifo ekitone ky'ekitambiro ekyokye we kittirwa.
34
Kabona addiranga ku musaayi gw'ekitone olw'ekibi, n'aguteeka ku mayembe g'omwaliiro ogwokerwako ebitone n'olugalo lwe, ate ogusigaddewo n'aguyiwa awo wansi w'omwaliiro.
35
Aggyangako amasavu gonna, nga bwe gaggyibwa ku kaliga k'ekitambiro eky'okussa ekimu, n'agookera ku kitone eky'ekitambiro olw'ekibi ku mwaliiro ng'ekitambiro ekiwongere Omukama n'omuliro. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lulwe olw'ekibi kye kye yakola, era olwo anaasonyiyibwanga.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27