bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 17
Leviticus 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 18 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Gamba Aroni ne batabani be n'Abayisirayeli bonna nti: ‘Kino Omukama ky'alagidde:
3
“ ‘Omuntu yenna mu nnyumba ya Yisirayeli anattanga ente oba endiga oba embuzi mu lusiisira oba ebweru waalwo,
4
nga tamaze kugireeta ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano okugiweereza Omukama mu Kisulo ky'Omukama, anaavunaanibwanga okuyiwa omusaayi; anaabanga ayiye omusaayi, n'olw'ekyo wa kukutulwanga ku bantu be.
5
Kino kinaabanga bwe kityo Abayisirayeli ebitambiro byabwe bye baweereza eyo mu byalo babireetenga ewa kabona, babiweereze Omukama ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano, babiweereze Omukama ng'ekitambiro eky'okussa ekimu.
6
Kabona anaamansiranga omusaayi ku mwaliiro gw'Omukama oguli ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano, n'amasavu n'agookera Omukama ng'akawoowo akasanyusa Omukama.
7
Tebaddangayo kutambirira bifaananyi bya mbuzi ebibakozesa obwamalaaya. Lino tteeka lya lubeerera gye bali mu mazadde gaabwe gonna.’
8
“Era bagambe nti: ‘Omu ku b'omu nnyumba ya Yisirayeli oba omugwira asula mu bo anaaweerezanga ekitambiro ekyokye oba ekitone
9
nga takireese ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano kukiweereza Mukama, wa kukutulwanga ku bantu be.
10
“ ‘Buli wa mu nnyumba ya Yisirayeli oba omugwira asula mu bo, bw'alyanga omusaayi, ndimwefuulira, era ndimukutula okuva mu bantu be.
11
Kubanga obulamu bw'ekintu buli mu musaayi; nze nagubawa musobole okuddaabiriza ku lwammwe ku mwaliiro; omusaayi gwe muwaayo ng'omutango ku lw'obulamu bwammwe.
12
Kyenva ŋŋamba Abayisirayeli nti: “Mu mmwe temubangamu n'omu alya omusaayi, newandibadde omugwira ali mu mmwe; tolyanga omusaayi.”
13
“ ‘Buli Muyisirayeli oba omugwira asula mu bo, ng'ayigga, bw'akwasanga ensolo oba ennyonyi eriibwa, alekanga omusaayi gwayo gwonna ne gutiiriika, n'agubikkako ettaka,
14
kubanga obulamu bw'ekintu buli mu musaayi. Kyennava ŋŋamba Abayisirayeli nti: “Temulyanga musaayi gwa kintu kyonna, kubanga obulamu bw'ekintu buli mu musaayi. Buli yenna anaabanga agulidde wa kukutulwangako.”
15
“ ‘Buli yenna alibanga alidde ennyama eya kalannamye oba etaaguddwa ebisolo eby'ettale, abeere muzaaliranwa oba omugwira, ayozanga ebyambalo bye n'anaaba n'amazzi: taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi; oluvannyuma anaabanga mulongoofu.
16
Bw'atalyoza byambalo bye wadde okunaaba omubiri, aneetikkanga omusango gw'ekyonoono kye.’ ”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27