bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 13
Leviticus 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 14 →
1
Omukama yagamba Musa ne Aroni nti:
2
“Omuntu bw'afunanga ekizimba oba okubutukabutuka, oba ebbala essiiwuukirivu ku lususu lw'omubiri gwe, kiyinza okuba ekigenge ku lususu lw'omubiri gwe; atwalibwanga eri Aroni kabona, oba eri omulala yenna mu baana be bakabona.
3
Kabona akeberanga ebbwa eriri ku mubiri gwe, bw'asanganga obwoya obuli mu bbwa nga bweruse n'ebbwa nga lisimye mu lususu lw'omubiri, ekyo kigenge ku lususu lw'omubiri gwe; kabona ng'amaze okumukebera, anaamulangiriranga nti si mulongoofu.
4
Naye ebbala ku lususu lw'omubiri gwe bwe libanga nga si lyeru era nga terisimye mu lususu n'obwoya obulirimu nga tebweruse, kabona amukuumiranga bbali yekka okumala ennaku musanvu.
5
Ku lunaku olwomusanvu anaamukeberanga, bw'azuulanga ng'okweruukirira tekweyongedde era nga tekubunye ku lususu, ayongeranga okumukuumira ebbali yekka okumala ennaku endala musanvu.
6
Ku lunaku olwomusanvu, anaamukeberanga; ekiba bwe kiba nga kiddugazzaddugazza, era nga tekibunye ku lususu, alangiriranga nti mulongoofu, kubadde kubutuukirira kwokka. Oyo ayozanga engoye ze, olwo anaabanga mulongoofu.
7
“Ng'amaze okweraga ewa kabona alangirirwe nti mulongoofu, ate ebbala ne likomawo, ne libunira ddala ku lususu, addangamu okweraga ewa kabona;
8
kabona anaamukeberanga; ebbala bwe libanga libunye ku lususu, anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ekyo kigenge.
9
“Ekigenge bwe kibeeranga ku muntu, aleetebwanga ewa kabona.
10
Kabona anaamukeberanga, era ku lususu bwe kubeerangako ekizimba ekyeru, n'obwoya nga bweruukiridde, n'ennyamma ento ng'etandise okujja mu kizimba,
11
ekyo kigenge ekigundidde ekikutte ku lususu lw'omubiri gwe. Kabona anaamulangirirangawo nti mugenge. Teyeetaaga na kumukuumira bbali yekka kubanga ono kikakafu si mulongoofu.
12
“Ekigenge bwe kiriba kiyiye ku lususu, ne kibuna wonna ku lususu okuva ku mutwe okutuuka ku bigere, okutuusa wonna kabona w'asobola okulaba,
13
kabona anaamukeberanga. Bw'asanganga nti ekigenge kibunye wonna, alangiriranga omulwadde oyo nti mulongoofu. Kubanga yenna ayeruukiridde, oyo mulongoofu.
14
Naye ng'ennyama ento ekyayongera okujja ku ye, oyo si mulongoofu.
15
Kabona bw'agirabanga, anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Ennyama ento si kintu kirongoofu, n'omuntu mugenge.
16
Naye ennyama ento bw'etandika okweruukirira, agendanga eri kabona.
17
Kabona anaamukeberanga, ennyama ento bw'eneebanga efuuse njeru, omulwadde anaamulangiriranga nti mulongoofu, olwo anaabanga mulongoofu.
18
“Singa omuntu afuna ejjute ku lususu lwe, naye ne liwona,
19
ate mu kifo awabadde ejjute ne wajjawo ekizimba ekyeruukirivu oba ebbala erimyukirivu, oyo yeeraganga ewa kabona.
20
Kabona anaamukeberanga; singa ekizzeewo kiriba kisimye mu lususu n'obwoya obuliwo nga bweruse, anaamulangiriranga nti si mulongoofu, kubanga ekyo kigenge ekifulumye mu jjute.
21
“Naye kabona oluvannyuma lw'okumukebera, singa tewaabenga bwoya bweru mu kyo, nakyo nga tekisimye mu lususu n'okukendeera nga kikendedde, anaamukuumiranga bbali yekka okumala ennaku musanvu.
22
Bwe kyeyongeranga okubuna ku lususu, anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Ekyo kigenge.
23
Ebbala bwe lisigalanga nga bwe libadde ne liteeyongera kubuna, eyo ebadde nkovu ya jjute; kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu.
24
“Omuntu bw'abangako ebbwa ery'omuliro ku lususu lwe, mu nnyama ento awookeddwa ne mujjamu ebbala erimyukirivu oba eryeru,
25
kabona anaakeberanga ebbala eryo. Obwoya bwe buba butukuuliridde nga n'ebbala lisimye mu lususu, kino kigenge ekifulumye mu bbwa ly'omuliro. Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Kino kigenge.
26
Naye kabona bw'akeberanga, mu bbala ne muba nga temuli bwoya bweru, era nga terisimye mu lususu munda, era nga likendedde bukendeezi, anaamukuumiranga bbali yekka okumala ennaku musanvu.
27
Ku lwomusanvu anaamukeberanga; ebbwa bwe libanga ddala libunye ku lususu, anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ekyo kigenge.
28
Naye oba ebbala lisigadde nga bwe lyali nga teribunye ku lususu, n'okukendeera nga likendedde, ekyo kizimba olw'omuliro. Kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu, kubanga eyo nkovu ya muliro yokka.
29
“Omusajja oba omukazi nga ku mutwe gwe oba ku kalevu ke kuzzeeko ebbwa,
30
kabona anaamukeberanga ebbwa. Bwe libanga lisimye mu lususu nga n'obwoya obulimu buseenyuuse ate nga bwa lumaggamagga, anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Ekyo kikeke, kigenge kya mu mutwe oba ku kalevu.
31
Naye kabona bw'akeberanga ebbwa, ebbwa ne liba nga terisimye mu lususu n'obwoya obulimu nga si buddugavu, omulwadde anaamukuumiranga ebbali yekka okumala ennaku musanvu.
32
Ku lwomusanvu akeberanga ebbwa; ekikeke bwe kiba tekibunye, n'obwoya obulimu nga tebuseenyuuse, nga tekisimye mu lususu,
33
omuntu oyo amwebwanga yenna okuggyako awali ekirwadde, kabona n'ayongera okumukuumira ebbali yekka okumala ennaku endala musanvu.
34
Ku lwomusanvu akeberanga ekikeke, bwe kibanga tekibunye ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu. Omulwadde ayozanga engoye ze; olwo anaabanga mulongoofu.
35
Naye singa ekikeke kyeyongera okubuna ku lususu ng'amaze okulangirirwa nti mulongoofu,
36
kabona anaamukeberanga, bwe kibanga nga kibunye ku lususu, olwo teyetaaga na kunoonya bwoya buseenyuuse, kubanga ddala oyo si mulongoofu.
37
Naye ye nga bw'aba alabye, ebbwa bwe libanga terikyuseeko, nga n'obwoya obuddugavu buzzeemu okulimeramu, olwo ekikeke kiriba kiwonye, oyo mulongoofu, era kabona amulangiriranga nti mulongoofu.
38
“Omusajja oba omukazi bw'afunanga amabalabala ameeru ku lususu lw'omubiri gwe,
39
kabona anaagakeberanga. Amabala bwe gabeeranga nga meeruukirivu, kino kikaata ekitali kya maanyi ekiyiye ku lususu lw'omubiri gwe; oyo mulongoofu.
40
“Omusajja bw'akunyuukanga enviiri ku mutwe, ekyo kiwalaata kya mu mutwe, oyo mulongoofu.
41
Enviiri bwe zimuggwanga mu bwenyi, era ekyo kiwalaata kya mu bwenyi, oyo mulongoofu.
42
Naye mu kiwalaata eky'omu mutwe gwe, oba mu bwenyi bwe, bwe mujjangamu ebbwa eryeruukirivu oba erimyukirivu, ekyo kigenge ekifulumye mu kiwalaata eky'omu mutwe gwe oba mu kiwalaata eky'omu bwenyi bwe.
43
Kabona amukeberanga. Ebbwa bwe libanga lyeruukiridde oba nga limyuukiridde mu kiwalaata eky'omu mutwe gwe oba mu kiwalaata eky'omu bwenyi bwe ng'ekigenge eky'oku lususu lw'omubiri,
44
omuntu oyo mulwadde era si mulongoofu; kabona amulangiriranga nti si mulongoofu olw'ebbwa eriri ku mutwe gwe.
45
“Omuntu akubiddwa ekigenge, ayambalanga ebyambalo biyulifu, enviiri ku mutwe nga nsasamavu, ekirevu akibikkangako, ate agendanga aleekaana nti: ‘Si mulongoofu! Si mulongoofu!’
46
Ebbanga lyonna ly'amala n'ekigenge, si mulongoofu. Abeeranga yekka, asulanga bweru w'olusiisira.
47
“Obukuku bwe bubeeranga mu lugoye olwa wuulu oba kitaani,
48
lubeere luluke oba lulange mu wuzi eza wuulu oba kitaani, oba ku ddiba oba ku kintu kyonna eky'eddiba,
49
ng'ebbala eryo ku lugoye, oba ku ddiba, oba ku kiruke oba ekirange, oba ekintu ekikole mu ddiba, lya kiragala oba limyuukirivu, ekyo kigenge kya bukuku. Ekintu kiragibwanga kabona.
50
Kabona akikeberanga obukuku, n'akikuumira ebbali kyokka okumala ennaku musanvu.
51
Ku lunaku olwomusanvu addangamu n'akikebera, bw'aliraba ng'obukuku bubunye ku lugoye, oba ku kiruke oba ekirange mu wuulu oba kitaani, oba ku ky'eddiba ekya buli ngeri, ekyo kigenge ekikwata; ekintu si kirongoofu.
52
Olugoye, oba ekiruke oba ekirange mu wuulu oba kitaani, oba ekintu kyonna eky'eddiba, ekisiigiddwa obulwadde, akyokyanga omuliro, kubanga ekigenge kikwata; ekintu si kirongoofu.
53
“Kabona oluvannyuma lw'okukikebera bw'asanganga obukuku tebubunye ku lugoye, ku kiruke, oba ku kirange, oba ku kintu eky'eddiba,
54
alagiranga ne booza ekyo ekyasiigibwa obulwadde; olwo ate n'akikuumira ebbali kyokka okumala ennaku musanvu.
55
Ekintu ekyafuna ekigenge bwe kimalanga okwozebwa, obukuku bwe bubanga busigadde nga bwe bwali, newandibadde nga tebubunye, kiriba si kirongoofu; okyokyanga omuliro; oba obukuku buli mu maaso oba mabega waakyo.
56
“Nga kimaze okwozebwa, kabona bw'akikeberanga, obukuku ne buba nga bukendedde, ekitundu ekyasiigibwa obulwadde akisalangamu mu lugoye, oba ku kintu eky'eddiba, oba mu kiruke, oba ekirange.
57
Obukuku bwe bweyongeranga okulabika ku lugoye, oba ku kiruke, oba ekirange, oba ku kintu kyonna eky'eddiba, awo kiriba kyongera okubuna; buli kirina obukuku kya kwokyanga omuliro.
58
Naye olugoye, oba ekiruke, oba ekirange, oba ekintu eky'eddiba ekya buli ngeri ndala yonna ekimaze okwozebwa, ne kiba nga tekikyalina bukuku, kyozebwanga ogwokubiri, olwo kinaabanga kirongoofu.
59
“Lino lye tteeka ly'ekigenge eky'obukuku ku lugoye olwa wuulu oba kitaani, ku kiruke oba ekirange, oba ku kintu kyonna eky'eddiba, erinaasinziirwangako okubirangirira oba birongoofu oba si birongoofu.”
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27