bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 19
Leviticus 19
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 20 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Yogera eri ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli obagambe nti: ‘Mubeere batukuvu, kubanga nange Omukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.
3
“ ‘Buli omu mu mmwe atyenga nnyina ne kitaawe. Sabbaato zange muzitukuzenga. Nze Mukama Katonda wammwe.
4
“ ‘Temwekubiiranga ku bifaananyi bya balubaale, era temwekoleranga balubaale basaanuuse. Nze Mukama Katonda wammwe.
5
“ ‘Bwe muweerezanga Omukama ekitambiro eky'okussa ekimu, mukitambiranga mu ngeri esaanidde kiryoke kisiimibwe ku lwammwe.
6
Kiriibwanga ku lunaku lwe kitambirwanga ne ku lunaku oluddirira; buli kyonna ekiribanga kisigaddewo okutuusa ku lwokusatu, kyokebwanga bwokebwa.
7
Ekiririibwanga ng'olwokubiri luyise, kiriba kyenyinyalwa, tekirisiimibwa.
8
Alibanga akiridde aneetikkanga omusango gw'ekyonoono kye, kubanga anaabanga ajaajaamizza ekitukuvu ky'Omukama era oyo akutulwanga ku bantu be.
9
“ ‘Bwe mukungulanga bye mubazizza, tokungulanga ddala kutuuka ku lubibiro lwa nnimiro yo; ebirimba ebigenda bisigalira tobikuŋŋaanyanga.
10
Ng'onoze mu nnimiro yo ey'emizabbibu togiddangamu gwa kubiri, n'ebirimba ebigenda bisigalira mu by'okungula tobikuŋŋaanyanga, obirekeranga abaavu n'abagwira. Nze Mukama Katonda wo.
11
“ ‘Tobbanga. Tolimbanga; buli omu takumpanyanga munne.
12
Tolayiranga linnya lyange bitaliimu n'ovuma erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.
13
Tolyazaamaanyanga munno, tomunyaganga. Empeera y'omukozi tosigalanga nayo okutuusa enkeera.
14
Kiggala tomuvumanga, ne muzibe tomuteganga kintu kw'aneesittala, wabula otyanga Katonda wo. Nze Mukama.
15
“ ‘Tobeeranga atali mwenkanya mu kulamula; teweekubiiranga wa mwavu n'omugagga tomutiisanga amaaso. Munno omulamulanga mu butuukirivu.
16
Togendanga ng'okonjera mu bantu bo; tossanga bulamu bwa munno mu kabi. Nze Mukama.
17
Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo. Munno omwatuliranga oleme kubeera na musango naye.
18
Towooleranga ggwanga oba okusibira bantu b'eggwanga lyo obusungu, wabula oyagalanga munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala. Nze Mukama.
19
“ ‘Mukwatenga amateeka gange. Tolekanga nsolo zo ezaawula ebika okulinnyiragana. Ennimiro yo togisigangamu nsigo bbiri ez'enjawulo. Toyambalanga kyambalo ekiruke mu ngoye ebbiri ezaawula ebika.
20
“ ‘Omusajja bwe yeebakanga n'omukazi nga muzaana ayogerezebwa, naye nga tannaba kununulibwa oba okuteebwa, anaabonerezebwanga, naye bombi si ba kuttibwa, kubanga omuzaana yali tannateebwa.
21
Naye omusajja aleetanga endiga ennume ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano aweereze Omukama ekitambiro olw'omusango.
22
Kabona yeeyambanga endiga eyo ey'ekitambiro olw'omusango n'addaabiriza ku lulwe mu maaso g'Omukama olw'ekibi ky'aliba akoze, era olwo ekibi kinaamusonyiyibwanga.
23
“ ‘Bwe muyingiranga mu nsi ne musimba emiti egya buli ngeri egibala ebibala, ebisookera ddala bizira. Okumala emyaka esatu ng'omuti ogwo guzira, temugulyangako.
24
Mu mwaka ogwokuna buli kibala kyakwo kiribanga kitukuvu, ekiwongeddwa Omukama okumuwa ettendo.
25
Mu mwaka ogwokutaano muyinzanga okulya ku bibala byagyo, olwo amakungula gaabyo galibaddira. Nze Mukama Katonda wammwe.
26
“ ‘Temulyanga nnyama ng'ekyalimu omusaayi. Temukolanga bya bulaguzi wadde okuloga.
27
“ ‘Temusalanga kigooli, era ekirevu temukikomoolereranga.
28
Nga mukungubaga temwesalaasalanga emibiri; temweyolangako bifaananyi ku lususu. Nze Mukama.
29
“ ‘Togwagwawazanga muwala wo ng'omuwaayo mu bwamalaaya, sikulwa ng'ensi eyonooneka n'ejjula obugwenyufu.
30
“ ‘Sabbaato zange muzikuzanga: ekifo kyange ekitukuvu mukityenga. Nze Mukama.
31
“ ‘Temwekubiiranga ku ndagu oba abasamirira emizimu, kubanga bagenda kuboonoona. Nze Mukama Katonda wammwe.
32
“ ‘Awali ow'envi oyimiriranga; omukadde omussangamu ekitiibwa n'otya Katonda wo. Nze Mukama.
33
“ ‘Omugwira bw'abeeranga naawe mu nsi, tomuyisanga bubi.
34
Wabula omugwira abeera nammwe omutwalanga ng'omuzaaliranwa; omwagalanga nga bwe weeyagala, anti nammwe mwali bagwira mu nsi y'e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
35
“ ‘Tobeeranga atali mwenkanya mu kulamula ebipimo by'obuwanvu, obuzito n'obungi bw'ekintu.
36
Mweyambenga minzaani entuufu, amayinja amatuufu, efa entuufu ne yini entuufu. Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri.
37
“ ‘Mukwatenga amateeka gange gonna n'ennamula yange yonna, era mubituuse. Nze Mukama.’ ”
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27