bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 6
Leviticus 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 7 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Lagira Aroni ne batabani be nti: ‘Lino lye tteeka ly'ekitambiro ekyokye: kwe kugamba, ekitone eky'ekitambiro ekyokye kisigalanga ku kyoto ky'oku mwaliiro ekiro kyonna okutuusa enkeera, n'omuliro gw'oku mwaliiro gusigalanga gumema ku mwaliiro.
3
“ ‘Kabona ayambalanga ekkanzu ey'olugoye, ne munda empale ey'olugoye, olwo n'addira evvu ly'amasavu ag'ekitambiro ekyokye, omuliro gwe gasiriizizza ku mwaliiro, n'alissa ku mabbali g'omwaliiro.
4
Yeeyambulanga ebyambalo ebyasoose, n'ayambala ebyambalo ebirala, evvu ly'amasavu n'alifulumya ebweru w'olusiisira mu kifo ekirongoofu.
5
Gwo omuliro gusigalanga gumema ku mwaliiro, teguzikiranga; kabona aguliikirizanga n'enku ku makya buli lunaku nga bw'assaako ekitambiro ekyokye, kungulu n'ayokerako amasavu g'ebitambiro eby'okussa ekimu.
6
Omuliro ogwo gumemanga ku mwaliiro obutasalako, teguzikiranga.
7
“ ‘Lino lye tteeka ly'ekitone eky'obuwunga: Batabani ba Aroni banaakireetanga mu maaso g'Omukama mu maaso g'omwaliiro:
8
Kabona anaatoolangako olubatu lw'obuwunga, n'ateekamu omuzigo n'obubaani, n'abwookera ku mwaliiro ng'ekitundu kyakyo eky'ekijjukizo, ng'akawoowo akasanyusa Omukama.
9
Obuwunga obusigadde Aroni ne batabani be babulyanga, naye nga temuli kizimbulukusa; buliirwanga mu kifo ekitukuvu mu luggya lwa Weema ey'Ensisinkano.
10
Tebufumbibwanga nga mulimu ekizimbulukusa, kubanga gwe mugabo gwabwe gwe mbawadde ku bimpongeddwa n'omuliro. Okufaanana ng'ekitambiro olw'ekibi n'ekitambiro olw'omusango na kino kitukuvu nnyo.
11
Ab'ezzadde lya Aroni abasajja bayinza okukiryako. Guno gwe mugabo gwabwe ogw'olubeerera ku biwongeddwa Omukama n'omuliro mu mazadde gaabwe gonna. Buli kyonna ekikikoonako kifuuka kitukuvu.’ ”
12
Omukama yagamba Musa nti:
13
“Aroni ne batabani be bino bye baliweereza Omukama ku lunaku buli omu lw'alisiigibwa: baweerezanga ekyekkumi ekya efa eky'obuwunga obukuŋŋunte obulungi ng 'ekitone eky'obuwunga eky'olubeerera; ekitundu kiweerezebwa ku nkya, ekitundu ekirala kawungeezi.
14
Busiikibwanga mu lusaniya n'omuzigo. Obuleetanga nga bugoye bulungi, ekitone eky'obuwunga n'okisalaasalamu obutundu, akawoowo akasanyusa Omukama.
15
Mutabani we alimusikira nga kabona omusiige y'abufumbanga. Ekitone kya kwokya kisirikke, kino gwe mugabo gw'Omukama ogw'olubeerera.
16
Buli kitone kya bakabona eky'obuwunga kya kwokyanga kisirikke; tekiriibwanga.”
17
Omukama yagamba Musa nti:
18
“Gamba Aroni ne batabani be nti: ‘Lino lye tteeka ery'ekitambiro olw'ekibi: ekitone kya kuttirwanga mu maaso g'Omukama ebitone eby'ekitambiro ekyokye we bittirwa, anti kitukuvu nnyo.
19
Kabona akiweereza akiryanga; kiriirwanga mu kifo kitukuvu, mu luggya lwa Weema ey'Ensisinkano.
20
Buli kyonna ekirikoona ku nnyama yaakyo kirifuuka kitukuvu. Omusaayi gwakyo bwe gumansukiranga ku kyambalo; ekyambalo kyolezebwanga mu kifo ekitukuvu.
21
Entamu ekitambiro mwe kifumbirwa eyasibwanga. Bwe kifumbirwanga mu ntamu ey'ekikomo, ekuutibwanga n'eyozebwa n'amazzi.
22
Buli wa bulenzi yenna ow'omu kika kya bakabona ayinza okukiryako. Kitambiro kitukuvu nnyo.
23
Naye ekitambiro kyonna olw'ebibi, omusaayi gwakyo oguyingiziddwa mu Weema ey'Ensisinkano okuddaabiriza eri mu kitukuvu, kyo tekiriibwanga, kyokebwanga ku muliro.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27