bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 23
Leviticus 23
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 24 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Yogera eri Abayisirayeli obagambe nti: ‘Zino ze mbaga z'Omukama eziragiddwa lwe munaayitanga enkuŋŋaana entukuvu. Ze zino embaga zange eziragiddwa:
3
“ ‘Mukolanga emirimu ennaku mukaaga, olwomusanvu Sabbaato ey'okuwummula n'olukuŋŋaana olutukuvu. Temukolanga mulimu gwonna yonna gye mubeeranga, Sabbaato lwa Mukama.
4
“ ‘Kale nno zino ze mbaga z'Omukama entukuvu eziragiddwa, lwe munaayitanga enkuŋŋaana entukuvu.
5
“ ‘Mu mwezi ogusooka, nga gwakamala ennaku kkumi na nnya, akawungeezi, ye mbaga ya Pasika y'Omukama
6
Ate ku lw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo, embaga y'Omukama ey'Emigaati Egitazimbulukuse lw'etandika. Okumala ennaku musanvu munaalyanga migaati egitazimbulukuse.
7
Ku lunaku olusooka kunaabangako olukuŋŋaana olutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna muzito.
8
Wabula muweerezanga ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro okumala ennaku musanvu. Ku lwomusanvu mukolanga olukuŋŋaana olutukuvu; temukolerangako mulimu gwonna muzito.’ ”
9
Omukama yagamba Musa nti:
10
“Yogera eri Abayisirayeli obagambe nti: ‘Bwe muyingiranga mu nsi gye ndibawa, ne mukungula ku bibala byayo, omuganda gw'ebirimba by'eŋŋano bye musookanga okukungula muguleeteranga kabona.
11
Anaaguwuubanga mu maaso g'Omukama gulyoke gusiimibwe ku lwammwe. Kabona aguwuubanga ku lunaku oluddirira Sabbaato.
12
Ate ku olwo lwennyini lwe muwuuba omuganda gw'eŋŋano, mutambirirangako Omukama akaliga akalume ak'omwaka ogumu okutali kamogo ng'ekitambiro ekyokye.
13
Kuno muweererezangako ekitone eky'obuwunga obuweza ebyekkumi bibiri ebya efa nga mutabuddwamu omuzigo, ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro, akawoowo akasanyusa. Era ne muweererezaako n'ekitone kyakyo eky'evviini eweza ekyokuna ekya yini.
14
Omugaati n'empeke ensiike n'obuwunga obwakaseebwa eby'eŋŋano gye mukungudde, temubiryanga okutuusa ku lunaku olwo lwennyini lwe muweereza Katonda wammwe ebitone bino. Lino tteeka lya lubeerera mu mazadde gammwe gonna yonna gye mulibeera.
15
“ ‘Okuva ku lunaku oluddirira Sabbaato lwe muweereza omuganda ogw'okuwuuba, mubalanga wiiki musanvu enzijuvu.
16
Mubalanga ennaku amakumi ataano okutuusa ku lunaku oluddirira Sabbaato eyoomusanvu ne muweereza Omukama ekitone ky'obuwunga bw'eŋŋano eyaakakungulwa.
17
Okuva eyo yonna gye muli muleetanga emigaati ebiri egigoyeddwa mu buwunga obukuŋŋunte obulungi obuweza ebyekkumi bibiri ebya efa, omuli ekizimbulukusa, ku lw'ekitone eky'okuwuuba mu maaso g'Omukama eky'ebibala ebisooka eby'amakungula.
18
Ku migaati muweererezangako obuliga obulume musanvu obw'omwaka ogumu, obutaliiko kamogo, ente ennume ento emu n'endiga ennume bbiri. Biriweerezebwa Omukama ng'ekitambiro ekyokye, okwo ssaako ekitone eky'obuwunga n'ekitone eky'okuyiwa; ebitone ebiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama.
19
Muweererezangako n'embuzi ennume emu olw'ekitambiro olw'ekibi, n'obuliga bubiri obw'omwaka ogumu olw'ekitambiro eky'okussa ekimu.
20
Kabona anaawuubanga mu maaso g'Omukama obuliga obubiri ng'ekitone eky'okuwuuba, awamu n'emigaati egy'ebibala ebisooka. Bino biwonge bya Mukama bitukuvu bya kabona.
21
“ ‘Ku lunaku olwo lwennyini muyitanga olukuŋŋaana olutukuvu; temukolerangako mulimu gwonna muzito. Lino tteeka lya lubeerera mu mazadde gammwe gonna yonna gye mulibeera.
22
“ ‘Bwe mukungulanga ensi yammwe by'ebazizza, temukungulanga kutuukira ddala ku lubibiro lwa nnimiro, n'ebigenda bisigalira mu by'okungula temubikuŋŋaanyanga; obirekeranga baavu n'abagwira. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
23
Omukama yagamba Musa nti:
24
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Olunaku olusooka mu mwezi ogwomusanvu lunaabanga lunaku lwammwe lwa kuwummula; mulukuzanga ng'ekijjukizo nga mukola olukuŋŋaana olutukuvu ko n'okufuuwa eŋŋombe.
25
Temukolanga mulimu gwonna muzito, naye muweerezanga ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro.’ ”
26
Omukama yagamba Musa nti:
27
“Olunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwomusanvu, Lunaku lwa Kuddaabiriza; mubeeranga n'olukuŋŋaana olutukuvu; musiibanga era ne muweereza ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro.
28
Ku lunaku olwo lwennyini temukolanga mulimu gwonna, kubanga Lunaku lwa Kuddaabiriza, wanaabangawo okuddaabiriza ku lwammwe mu maaso g'Omukama Katonda wammwe.
29
Omuntu yenna atalisiiba ku lunaku olwo lwennyini anaakutulwanga ku bantu be.
30
N'oyo akolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo lwennyini ndimuzikiriza mu bantu be.
31
Temukolerangako mulimu gwonna. Lino tteeka lya lubeerera mu mazadde gammwe gonna yonna gye mulibeera.
32
Luno olunaku Sabbaato ya kuwummula gye muli, musiibanga. Okutandika n'akawungeezi k'olunaku olwomwenda olw'omwezi, okutuusa akawungeezi akaddirira, mukuzanga Sabbaato yammwe.”
33
Omukama yagamba Musa nti:
34
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwomusanvu embaga y'Omukama ey'Ensiisira lw'etandika; ya kumalanga ennaku musanvu.
35
Olunaku olusooka lwa lukuŋŋaana olutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna muzito.
36
Okumala ennaku musanvu munaawerezanga ebitone ebiwongere Omukama n'omuliro. Ku lunaku olwomunaana mubeeranga n'olukuŋŋaana olw'ekitiibwa, era ne muweereza ebitone ebiwongere Omukama n'omuliro; lwe lukuŋŋaana olufundikira. Temukolanga mulimu gwonna muzito.
37
“ ‘Ezo ze mbaga enkulu ez'Omukama eziragiddwa lwe muyitanga olukuŋŋaana olw'ekitiibwa, era muweerezanga ebitone ebiwongere Omukama n'omuliro: ekitambiro ekyokye, ebitone eby'obuwunga, ebitambiro n'ebitone eby'okuyiwa okusinziira ku lunaku n'ekitone kyalwo.
38
Zino ennaku zongereza ku lwa Sabbaato y'Omukama, ne ku bitambiro byammwe, ne ku bweyamo bwammwe ne ku bitone ebyeyagalire bye muweereza.
39
“ ‘Awo nno ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwomusanvu nga mumaze okukungula ebibala byonna mu nsi, mumalanga ennaku musanvu nga mukuza embaga y'Omukama enkulu. Olunaku olusooka lwa kuwummula, n'olwomunaana lwa kuwummula.
40
Ku lunaku olusooka, mukwatanga ebibala by'omuti ebisinga obulungi, n'amatabi g'enkindu, n'amatabi agaggumizza ebikoola, n'ag'oku nzibaziba ne musanyukira mu maaso ga Katonda wammwe okumala ennaku musanvu.
41
Buli mwaka embaga eno mugikuzanga ku lw'Omukama okumala ennaku musanvu. Lino tteeka lya lubeerera mu mazadde gammwe gonna. Embaga mugikuzanga mu mwezi ogwomusanvu.
42
Musulanga mu nsiisira okumala ennaku musanvu. Buli yenna omuzaaliranwa mu Yisirayeli asulanga mu nsiisira,
43
bazzukulu bammwe balyoke bamanye nti Abayisirayeli nabasuza mu nsiisira bwe nali mbaggya mu nsi y'e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
44
Musa n'alangirira eri Abayisirayeli embaga z'Omukama eziragiddwa.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27