bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 8
Leviticus 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 9 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Leeta Aroni ne batabani be, ebyambalo n'omuzigo ogusiiga, ente ennume ey'ekitambiro olw'ekibi, endiga bbiri ennume, n'ekisero ky'emigaati egitazimbulukuse,
3
okuŋŋaanye ekibiina kyonna ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.”
4
Musa n'akola ng'Omukama bwe yali alagidde. Awo ekibiina kyonna ne kikuŋŋaanira ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano.
5
Musa n'agamba ekibiina nti: “Bino bye bigambo Omukama by'agambye bikolebwe:”
6
Awo Musa n'aleeta Aroni ne batabani be, n'abanaaza n'amazzi.
7
Aroni n'amwambaza ekkanzu, n'amusiba omusipi, n'amwambaza omunagiro, n'amussaako kungulu efodi, n'agimusibirako n'enywera n'ekimyu ky'efodi ekiruke n'obukugu,
8
olwo n'amwambika ekipaapi eky'oku kifuba, n'assa Wurimu ne Tummimu mu kipaapi eky'oku kifuba.
9
N'assa ettambaala ku mutwe gwe, eno mu maaso gaalyo n'assaako akapaapi aka zaabu okwoleddwa akabonero akatukuvu, ye ngule entukuvu, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
10
Ate n'addira omuzigo ogusiiga, n'asiiga Ekisulo na buli kyonna ekyamu, n'abitukuza.
11
Omuzigo ogumu n'agumansira ku mwaliiro emirundi musanvu, n'agusiiga, n'ebigukolako byonna, n'ekinaabirwamu ne kwe kituula; byonna n'abisiiga omuzigo okubitukuza.
12
Omuzigo omulala n'agufuka ku mutwe gwa Aroni, bw'atyo n'amusiiga omuzigo okumutukuza.
13
Ne batabani be n'abaleeta n'abambaza amakanzu, n'abasiba emisipi, n'abazingirira ebitambaala ku mitwe, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
14
Olwo n'aleeta ente ennume ey'ekitambiro olw'ekibi, Aroni ne batabani be ne bagissaako emikono gyabwe ku mutwe.
15
Musa n'agitta, n'addira ku musaayi gwayo, n'olugalo lwe n'agusiiga ku mayembe g'omwaliiro okugutukuza.
16
Omusaayi ogwasigalawo n'aguyiwa wansi w'omwaliiro, n'agufuula mutukuvu ng'addaabiriza ku lwagwo. Musa n'addira amasavu agaali ku byenda, olububi lw'oku kibumba, n'ensigo zombi n'ebigenderako n'abyokera ku mwaliiro.
17
Ente ennume, eddiba lyayo, ennyama n'obusa n'abyokera ebweru w'olusiisira mu muliro, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
18
Yaleeta n'endiga ennume ey'ekitambiro ekyokye Aroni ne batabani be ne bagissaako emikono gyabwe ku mutwe.
19
Olwo Musa n'agitta, omusaayi n'agumansira ku mwaliiro okugwetoolooza.
20
Endiga n'agitemaatema ebifi; ebyo, omutwe, ennyingo n'amasavu n'abyokya ku muliro.
21
N'ayoza n'amazzi ebyenda n'ebigere; olwo endiga yonna n'agyokera ku mwaliiro. Kyali ekitambiro ekyokye, akawoowo akasanyusa, ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
22
N'aleeta n'endiga ennume eyookubiri, ey'omukolo gw'okuwa obwakabona, Aroni ne batabani be ne bagissaako emikono ku mutwe.
23
Musa n'agitta, n'addira ku musaayi gwayo n'agussa ku kasammambiro k'okutu kwa Aroni okwa ddyo ne ku kyalakisajja ey'omukono ogwa ddyo, era ne ku kigere ekisajja ku ddyo.
24
N'azzaako batabani ba Aroni, n'addira ku musaayi ogw'akaliga akatambiddwa n'agussa ku kasammambiro k'okutu kwa buli omu, ne ku kyalakisajja ow'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere kye ekisajja ekya ddyo. Musa n'amansira omusaayi ku mwaliiro okugwetoolooza.
25
N'addira amasavu, ekikira, amasavu gonna agabikka ebyenda, olububi olw'oku kibumba, ensigo zombi ko amasavu gaako, ssaako ekisambi ekya ddyo,
26
ne mu kisero ky'emigaati egitazimbulukuse egyali mu maaso g'Omukama, n'aggyamu omugaati gumu ogutazimbulukuse, ne kkeeki enfumbe n'omuzigo, n'akagaati ak'oluwewere, n'abissa ku biri eby'amasavu n'ekisambi ekya ddyo,
27
byonna n'abissa mu ngalo za Aroni n'eza batabani be. N'abiwuubira mu maaso g'Omukama ng'ekitone eky'okuwuuba.
28
Ate Musa n'abibaggya mu ngalo zaabwe n'abyokera ku mwaliiro kungulu ku kitone eky'ekitambiro ekyokye ng'ekitone eky'okuwa obwakabona, akawoowo akasanyusa, ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro.
29
N'addira ekifuba, gwe mugabo gwa Musa ku ndiga ennume ey'omukolo ogw'okuwa obwakabona, n'akiwuubira Omukama ng'ekitone eky'okuwuuba, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
30
Naddira omuzigo ogusiiga n'omusaayi okuva ku mwaliiro, n'amansira ku Aroni n'ebyambalo bye ne ku batabani be ne ku byambalo byabwe. Bw'atyo n'atukuza Aroni n'ebyambalo bye, ne batabani be n'ebyambalo byabwe.
31
Olwo n'alagira Aroni ne batabani be nti: “Mufumbe ennyama awo ku mulyango gwa Weema era mugiriire awo, n'emigaati egy'ekitambiro eky'okuwa obwakabona egiri mu kisero mugirye nga bwe nalagira nti: ‘Aroni ne batabani be bagiryanga.’
32
Kyonna ekinaafikka ku nnyama ne ku migaati mukyokye.
33
Temuvanga ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano okumala ennaku musanvu okutuusa ng'obudde obw'okubawa obwakabona buweddeko; okubawa obwakabona kunaamalanga ennaku musanvu.
34
Ekikoleddwa olwa leero Omukama ye yakiragira, kibeere okuddaabiriza ku lwammwe.
35
Musigale ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano emisana n'ekiro okumala ennaku musanvu nga mutuukiriza Omukama bye yakuutira, lwe mutaafe: kubanga ekyo kye kyandagirwa.”
36
Aroni ne batabani be ne bakola byonna Omukama bye yalagira ng'ayita mu Musa.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27