bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 5
Leviticus 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 6 →
1
“ ‘Oli bw'ayonoonanga olw'obutoogera ng'abadde asabiddwa okuwa obujulizi ku kintu ky'alinako obujulizi, kye yalaba oba ky'amanyiiko, aneetikkanga omusango gw'ekyonoono kye.
2
“ ‘Oli bw'abanga akutte ku kintu ekitali kirongoofu, nga kalannamye w'ekisolo eky'ettale ekitali kirongoofu, oba kalannamye w'ekisolo eky'awaka ekitali kirongoofu, oba kalannamye w'ekyewalula ekitali kirongoofu, naye n'atakimanya, yennyini taabenga mulongoofu, era anaabanga azzizza omusango;
3
oba bw'aliba akutte ku bw'onoonefu bw'omuntu, kwe kugamba obutali bulongoofu ku muntu obuleetera munne obutaba mulongoofu, bubeere buno oba buli, yennyini n'atakimanya, amala akimanya oluvannyuma, anaabanga azzizza omusango.
4
“ ‘Omuntu bw'alayiranga okukola ekintu, ekirungi oba ekibi, mu ebyo abantu bye bamala galayira, naye nga takitegedde, oluvannyuma bw'akitegeeranga, anaabanga azzizza omusango.
5
“ ‘Oli bw'abanga azzizza omusango mu kimu ku ebyo, yeetondenga olw'ekibi ky'akoze.
6
Ng'omutango olw'ekibi ky'akoze, anaaweerezanga Omukama akaliga akaluusi, oba akabuzi akaluusi, k'aggye mu kisibo kye, kabeere ekitambiro olw'ekibi. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lulwe.
7
“ ‘Bw'abanga akaliga takasobodde, aweerezanga Omukama amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri ng'omutango olw'ekibi kye. Akamu ka kitambiro olw'ekibi, ate akalala ka kitambiro ekyokye.
8
Abuleeteranga kabona; oyo asookanga kuweeerezaako kamu ng'ekitambiro olw'ekibi; akanyoolanga omutwe aguggye ku nsingo, kyokka nga tagukutuliddeeko ddala,
9
olwo n'addira ku musaayi gwako n'amansira ebisenge by'omwaliiro. Omusaayi ogufisseewo gwonna aguyiwanga awo wansi w'omwaliiro. Kino kitambiro olw'ekibi.
10
Olwo n'aweereza akalala ng'ekitambiro ekyokye okuddaabiriza olw'ekibi kye ng'etteeka bwe ligamba. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lulwe olw'ekibi kye yakola, olwo anaasonyiyibwanga.
11
“ ‘Obanga taasobole kufuna mayiba abiri oba obuyiibwa obubiri, aweerezanga olw'ekibi kye ekyekkumi kimu ekya efa eky'obuwunga obw'eŋŋano olw'ekitambiro olw'ekibi. Tassangako muzigo, wadde obubaani, kubanga kino kitambiro lwa kibi.
12
Obuwunga abuleeteranga Kabona, ono n'atoolako olubatu lulamba, ng'ekitundu kyakyo eky'ekijjukizo, n'abwokera ku mwaliiro kungulu kw'ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro. Kino kitambiro lwa kibi.
13
Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lulwe olw'ebibi bye bino by'aliba akoze, era olwo anaasonyiyibwanga. Ekitundu ekisigadde eky'ekitone kinaddiranga kabona nga bwe kiri ku kitone eky'obuwunga.’ ”
14
Omukama yagamba Musa nti:
15
“Omuntu bw'ayonoonanga n'akola ekibi mu butanwa mu bintu by'Omukama ebitukuvu, ng'omutango aweerezanga Omukama endiga ennume etaliiko kamogo okuva mu kisibo kye, omuwendo gwayo nga bw'ogubaliridde mu ffeeza ey'omu Kitukuvu. Kino kitambiro olw'omusango.
16
Ne kye yafiiriza ku bitukuvu akiriwanga, n'asukkirizaamu ekyokutaano kimu eky'ekyo kye yafiiriza, n'akiwa kabona, ono anaaweerezanga endiga ennume ng'ekitambiro olw'omusango okuddaabiriza olw'ekibi kye era olwo anaasonyiyibwanga.
17
“Omuntu bw'akolanga ekibi olw'obutamanya, n'abaako ky'akola ku ebyo ebigaanibwa mu biragiro by'Omukama, anaabanga azzizza omusango era aneetikkanga omusango gw'ekyonoono kye.
18
Ng'omutango, anaaleeteranga kabona endiga ennume eteriiko kamogo okuva mu kisibo kye, omuwendo gwayo nga bw'ogubaliridde. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lulwe olw'ebisobyo bye bye yagwamu mu butanwa, era olwo anaasonyiyibwanga.
19
Kino kitambiro olw'omusango, kubanga abadde n'omusango olw'okusobya ew'Omukama.”
20
Omukama yagamba Musa nti:
21
“Omuntu bw'akolanga ekibi, n'anyooma Omukama, ng'alimbalimba munne ku kintu ekyamusingirwa, oba ekintu ekyamuteresebwa, oba ekyabbibwa, oba n'amukumpanya,
22
obanga alonze ekintu, n'akyegaana, n'alayira mu bulimba, oba n'akola ekibi ekiri ng'ekyo abantu kye bamanyidde okukola,
23
anaabanga akoze ekibi, bw'atyo anaabanga azzizza omusango. Azzangayo byonna by'abanga abbye oba by'akumpanyizza ku munne, oba ebyamuteresebwa, oba bye yalonda,
24
oba bye yalayirirako eby'obulimba. Abizzangayo bulambalamba n'ayongerako n'ekyokutaano kyabyo, n'abiddiza nnyinibyo ku lunaku lw'aliweererezaako ekitambiro kye olw'omusango.
25
Ng'omutango anaaleetanga ewa kabona, kwe kugamba ew'Omukama, ekitambiro olw'omusango: endiga ennume etaliiko kamogo okuva mu kisibo kye, omuwendo gwayo nga bw'ogubaliridde.
26
Bw'atyo kabona anaddaabirizanga ku lulwe ew'Omukama; era olwo anaasonyiyibwanga ebyo byonna bye yakola ebyamuleetera okugwa mu musango.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27