bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 24
Leviticus 24
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 25 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Lagira Abayisirayeli bakuleetere omuzigo omukamule ogw'oliva omwereere ku lw'ettawaaza, ebeere ng'eyaka obutasalako.
3
Ebweru w'olutimbe lw'Endagaano mu Weema ey'Ensisinkano Aroni anaalabiriranga ettawaaza okuva akawungeezi okutuusa ku makya mu maaso g'Omukama obutasalako. Lino tteeka lya lubeerera mu mazadde gammwe gonna.
4
Ettawaaza mu maaso g'Omukama eri ku kikondo ekya zaabu omuyooyoote ya kulabirirwanga obutasalako.
5
“Oddiranga obuwunga obukuŋŋunte obulungi n'ofumbamu bukkeeki kkumi na bubiri, buli kkeeki ng'etwala ebyekkumi bibiri ebya efa.
6
Ogiteekanga ku mmeeza eya zaabu eri mu maaso g'Omukama mu nnyiriri bbiri, eruuyi mukaaga n'eruuyi mukaaga.
7
Ku buli lunyiriri ossangako obubaani obuse obulungi, nga bugenda n'emigaati, ng'ekitundu kyakyo eky'ekijjukizo, ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro.
8
Buli lwa Sabbaato emigaati ginassibwanga mu maaso g'Omukama ku lw'Abayisirayeli ng'endagaano ey'olubeerera.
9
Giribanga gya Aroni ne batabani be; bagiriiranga mu kifo ekitukuvu kubanga gwe mugabo gwabwe omutukuvu ennyo ogw'olubeerera oguvudde ku bitone ebiwongere Omukama n'omuliro.”
10
Olwatuuka omusajja omu mutabani w'omukazi Omuyisirayeli n'omusajja Omumisiri n'agenda mu lusiisira lw'Abayisirayeli; oluyombo ne lubalukawo wakati we n'omusajja Omuyisirayeli.
11
Mutabani w'omukazi Omuyisirayeli n'avuma erinnya ly'Omukama, n'alivumirira. Ne bamuleeta ewa Musa; erinnya lya nnyina nga ye Selomiti, muwala wa Diburi, ow'ekika kya Daani.
12
Ne bamussa mu kkomera, okutuusa lwe banaamanya Omukama ky'ayagala kikolebwe.
13
Omukama n'agamba Musa nti:
14
“Oyo eyavumye Katonda mumufulumye ebweru w'olusiisira, bonna abaamuwulira basse emikono ku mutwe gwe, ekibiina kyonna kimukube amayinja.
15
Ogambe Abayisirayeli nti: ‘Omuntu alivumirira Katonda we, anaabanga n'omusango.
16
Anaavumanga erinnya ly'Omukama wa kuttibwanga, ekibiina kyonna kimussisanga mayinja; ne bw'abanga mugwira oba muzaaliranwa. Anaabanga avumye erinnya ly'Omukama wa kuttibwanga buttibwa.
17
“ ‘Attanga omuntu naye wa kuttibwanga.
18
“ ‘Oli bw'attanga ensolo ya munne, azzangawo endala; anti obulamu olw'obulamu.
19
“ ‘Oli bw'assanga ku munne obuvune, nga bw'aliba akoze naye bw'akolebwanga:
20
Okumenya olw'okumenya, eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo; oli nga bw'alumizza munne, naye bwe bamulumyanga.
21
Oli bw'attanga ensolo, azzangawo endala, kyokka attanga omuntu, ye wa kuttibwanga.
22
Mubeeranga n'etteeka lye limu ku muzaaliranwa ne ku mugwira. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
23
Musa n'ayogera eri Abayisirayeli; eyali avumye Katonda ne bamufulumya mu lusiisira, ne bamukuba amayinja. Abayisirayeli ne bakola ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27