bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Leviticus 18
Leviticus 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 19 →
1
Omukama yagamba Musa nti:
2
“Yogera eri Abayisirayeli obagambe nti: ‘Nze Mukama Katonda wammwe.
3
Temukolanga ng'ab'e Misiri gye mwabeeranga bwe baakolanga, era temukolanga ng'ab'omu Kanaani gye mbatwala bwe bakola. N'empisa zaabwe temuzigobereranga.
4
Mutuusanga ennamula yange n'amateeka gange. Mwekkaanye, mubigobereranga. Nze Mukama Katonda wammwe.
5
Mukwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange; oyo abituusa aliba mulamu olw'okubeera byo. Nze Mukama.
6
“ ‘Tewabangawo omuntu asemberera ow'oluganda lwe okwebaka naye. Nze Mukama.
7
“ ‘Toweebuulanga kitaawo nga weebaka ne nnyoko; oyo nnyoko, teweebakanga naye.
8
“ ‘Teweebakanga ne muka kitaawo. Ekyo kiweebuula kitaawo.
9
“ ‘Teweebakanga ne mwannyoko oba ne muwala wa kitaawo, oba mubbeere wo, abeere ng'azaalibwa awo awaka oba walala; teweebakanga naye.
10
“ ‘Teweebakanga ne muwala wa mutabani wo oba muwala wa muwala wo. Ekyo kikuweebuula.
11
“ ‘Teweebakanga ne muwala wa mukazi wa kitaawo gwe yamuzaalira, kubanga ddala oyo mwannyoko.
12
“ ‘Teweebakanga ne mwannyina kitaawo, kubanga ono wa luganda ne kitaawo.
13
“ ‘Teweebakanga ne muganda wa nnyoko, kubanga ono wa luganda ne nnyoko.
14
“ ‘Toweebuulanga kitaawo omuto nga weebaka ne mukazi we; tomusembereranga, kubanga ono nnyoko.
15
“ ‘Teweebakanga ne mukaamwana, kubanga ono muka mutabani wo; teweebakanga naye.
16
“ ‘Teweebakanga ne mulamu wo, kubanga kino kiweebuula muganda wo.
17
“ ‘Teweebakanga ne muwala w'omukazi gwe weebakako naye. Era teweebakanga ne muwala wa mutabani we oba muwala wa muwala we, kubanga bano ba luganda lwe. Buno bugwenyufu.
18
“ ‘Towasanga muganda wa mukazi wo, kumufuula muggya we, era teweebakanga naye nga mukazi wo akyali mulamu.
19
“ ‘Tosembereranga mukazi kwebaka naye ng'ali mu biseera eby'omwezi, w'atabeerera mulongoofu.
20
“ ‘Toyendanga ne muka munno, ne weeyonoona naye.
21
“ ‘Toddiranga n'omu ku baana bo n'omuwaayo awongerwe Moleki mu muliro, kubanga kigaanibwa okwonoona erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.
22
“ ‘Teweebakanga n'omusajja nga bwe wandyebase n'omukazi; ekyo kyenyinyalwa.
23
“ ‘Tokabawalanga n'ekisolo, ne weeyonoona nakyo; n'omukazi teyeewanga ekisolo okukabawala nakyo; ekyo kya bugwagwa.
24
“ ‘Temweyonoonanga na bino byonna; amawanga gonna ge ŋŋenda okugoba mu maaso gammwe bwe gatyo bwe geeyonoona.
25
Ensi bw'etyo yajaajaamizibwa, ne ngibonereza olw'ekibi kyayo, n'ensi yennyini n'esesema bannansi baamwo.
26
Mmwe mukwatenga amateeka gange n'ebiragiro byange. Abe muzaaliranwa oba omugwira asula mu mmwe, takolanga n'ekimu ku byenyinyalwa bino.
27
Bino byonna bannansi abaabakulembera baabikola, ensi ne bagijaajaamya.
28
Mwekkaanye, nammwe bwe munagijaajaamya, ejja kubasesema nga bwe yasesema amawanga agaabasooka okubaayo.
29
Omuntu yenna anaabanga akoze ekimu ku byenyinyalwa bino, wa kukutulwanga ku bantu be.
30
Mukwatenga bye nakuutira, muleke kuyisa mpisa mbi abaabakulembera ze baayisa, muleme kweyonoona olw'okubeera byo. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27