bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 10
Matthew 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 11 →
1
Awo n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'abawa obuyinza ku myoyo emigwagwa, bagigobe era bawonye buli bulwadde na buli buyongobevu.
2
Amannya g'Abatume ekkumi n'ababiri ge gano: Omubereberye Simoni, ayitibwa Petero, ne Andureya muganda we; Yakobo mutabani wa Zebedaayo ne Yowanna muganda we;
3
Filippo ne Barutolomaawo; Toma ne Matayo omusolooza w'omusolo; Yakobo mutabani wa Alufayo ne Taddewo;
4
Simoni Omukanaani ne Yuda Yisikariyoti eyamulyamu olukwe.
5
Ekkumi n'ababiri bano Yezu yabatuma, n'abalagira nti: “Temukwata makubo gagenda mu b'amawanga, temuyingira mu bibuga bya Basamariya;
6
wabula mugende eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Yisirayeli.
7
Bwe mugenda, mulangirire nga mugamba nti: ‘Obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.’
8
Abalwadde mubawonye, abafu mubazuukize, abagenge mubalongoose, emyoyo emibi mugigobe; mwaweebwa buweebwa, nammwe muwe buwi.
9
“Temubeera na zaabu newandibadde ffeeza, newandibadde ensimbi ez'ekikomo mu misipi gyammwe;
10
newandibadde ensawo ey'entanda, newandibadde ekkanzu ebbiri, newandibadde engatto, newandibadde omuggo, kubanga omukozi asaanira okuweebwa ekyokulya.
11
“Buli kibuga na buli kyalo kye muyingiramu, mubuuze ani alimu asaanye, awo we muba musula okutuusa lwe muvaayo.
12
Nga muyingira mu nnyumba eyo, mulamusenga abalimu.
13
Ennyumba eyo bw'eneebanga esaanidde, omukisa gwammwe gugijjengako; naye bw'eneebanga tesaanidde, omukisa gwammwe gubaddirenga.
14
“Yenna ataabaanirize oba okukkiriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu nnyumba eyo oba mu kibuga ekyo, mukunkumulanga enfuufu y'ebigere byammwe.
15
Ka mbabuulire, ekirituukirira ensi y'e Sodoma n'ey'e Gomorra ku lunaku olw'okulamulibwa kiriba kigumiikirizika okusinga ekirituukirira ekibuga ekyo.
16
“Wuuno nze mbatumye kyenkana ng'endiga mu misege wakati; awo nno mubeere balabufu ng'emisota, ate nga temuliiko kibavunaanibwa ng'enjiibwa.
17
“Mwerinde abantu; kubanga balibawaayo mu nkiiko, era banaabaswanyuliranga mu sinaagooga zaabwe;
18
mulitwalibwa mu maaso g'abaamasaza n'aga bakabaka okubeera nze, okujulira gye bali n'eri ab'amawanga.
19
Bwe babawangayo, temweraliikiriranga bwe munaayogera oba kye munaagamba; kye munaayogeranga kiribaweebwanga mu kabanga ako.
20
Kubanga si mmwe munaabanga mwogera, wabula Mwoyo wa Kitammwe y'anaayogeranga mu mmwe.
21
“Ow'oluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w'omwana omwana we; abaana balisitukira mu babazaala ne babawaayo battibwe.
22
Mulikyayibwa mwenna olw'okubeera erinnya lyange. Naye aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero, y'alirokoka.
23
Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu, muddukiranga mu kirala. Kubanga nze mbagambira ddala nti temulibuna byalo bya nsi ya Yisirayeli ng'Omwana w'Omuntu tannajja.
24
“Omuyigirizwa takira muyigiriza, n'omuweereza takira mukama we.
25
Kimala kasita omuyigirizwa abeera ng'omuyigiriza we, n'omuweereza nga mukama we. Kale obanga nnannyinimu bamuyise Beelizebuli, tebaasinzeewo bye banaayita ab'omu maka ge?
26
“Awo nno temubatya; kubanga tewali kibikkiddwa kitalibikkulibwa; tewali kikisiddwa kitalimanyibwa.
27
Kye mbagamba mu nzikiza, mukyogeranga mu kitangaala; ate kye muwulira mu kaama mukirangiriranga ku ntikko z'ennyumba.
28
Temutyanga abo abatta omubiri obubiri, naye nga tebayinza kutta mwoyo; wabula mutyenga oyo asobola okuzikiriza omwoyo n'omubiri mu Geyenna.
29
“Kale enkazaluggya ebbiri tezitundibwa ssente emu? Sso ku ezo tewali egwa ku ttaka nga Kitammwe tayagadde.
30
N'enviiri zennyini ku mitwe gyammwe mbale.
31
Awo nno temutya; muli ba muwendo okusinga enkazaluggya enkumu.
32
“Buli alinjatula mu maaso g'abantu, nange ndimwatula mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
33
Naye alinneegaana mu maaso g'abantu nange ndimwegaana mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
34
“Temulowooza nga najja kuleeta mirembe ku nsi; sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala.
35
Anti najja okukyawaganya omuntu ne kitaawe, omuwala ne nnyina, mukaamwana ne nnyazaala we;
36
oli abalabe be baliba abo ab'omu maka ge.
37
“Ayagala kitaawe ne nnyina okusinga nze, tansaanidde; n'ayagala mutabani we oba muwala we okusinga nze, tansaanidde.
38
N'oli atakwata musaalaba gwe n'angoberera, tansaanidde.
39
Asanga obulamu bwe, alibubuza, naye oli abubuza okubeera nze, alibusanga.
40
“Abaaniriza ng'ayanirizza nze; ate ayaniriza nze ng'ayanirizza Oli eyantuma.
41
Ayaniriza omulanzi kubanga mulanzi, alifuna ku mpeera y'obulanzi; n'oli ayaniriza omutuukirivu olw'obutuukirivu bwe, alifuna ku mpeera ey'omutuukirivu;
42
na buli omu aliwa omu ku bato abo ekikopo ky'amazzi amannyogovu ku lw'okuba nti muyigirizwa, mazima ka mbabuulire, talibulwa mpeera ye.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28