bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 6
Matthew 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 7 →
1
“Mwekkaanyenga, ebikolwa byammwe eby'obutuukirivu obutabikolanga mu maaso g'abantu nga mugoberera babalabe; kubanga olwo temulifuna mpeera ewa Kitammwe ali mu ggulu.
2
“Awo nno ggwe bw'ogabanga, tokulembezangamu kkondeere ng'abakuusa bwe bakola mu sinaagooga ne mu mbuga, abantu balyoke babawe ekitiibwa. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe yonna bagifunye.
3
Naye ggwe bw'ogabanga, omukono gwo ogwa kkono togulekanga kumanya gwa ddyo kye gukoze,
4
bwe kityo ky'ogabye kibeere kya kyama; ye Kitaawo alaba ebiri mu kyama alikuweera.
5
“Bwe mwegayiriranga, temubeeranga ng'abakuusa abaagala okwegayirira nga bayimiridde mu sinaagooga ne mu masaŋŋanzira g'enguudo, abantu balyoke babalabe. Mazima mbagamba nti empeera yaabwe yonna bagifunye.
6
Naye ggwe nga weegayirira, oyingiranga mu nnyumba yo, n'oggalawo oluggi n'olyoka weegayirira Kitaawo ali mu kyama. Kitaawo alaba ebiri mu kyama alikuweera.
7
Ate nga mwegayirira, temubujjabujjananga ng'abakafiiri bwe bakola; balowooza nti mu kutontoma ebingi mwe banaawulirirwa.
8
Temubafaanana, anti Kitammwe kye mwetaaga muba temunnaba na kukimusaba, ng'akimanyi.
9
Kale nno mwegayiriranga bwe muti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litiibwe.
10
Obwakabaka bwo bujje; by'oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.
11
Tuwe leero emmere yaffe eya buli lunaku.
12
Tusonyiwe amabanja gaffe, nga naffe bwe tusonyiye be tubanja.
13
Totutwala mu kukemebwa, naye tuwonye mu bubi.
14
“Kubanga bwe munaasonyiwanga abantu ensobi zaabwe, nammwe ne Kitammwe ow'omu ggulu anaabasonyiwanga.
15
Naye bwe mutaasonyiwenga bantu, ne Kitammwe taabasonyiwenga nsobi zammwe.
16
“Bwe musiibanga, temwenakuwazanga ng'abakuusa bwe bakola; bafumyafumya amaaso gaabwe abantu balyoke babalabe nti basiiba; ka mbabuulire, empeera yaabwe yonna bagifunye.
17
Naye ggwe ng'osiiba, omutwe gwo ogusiiganga omuzigo, amaaso go n'oganaaba,
18
abantu baleme kukulaba nti osiiba, wabula Kitaawo ali mu nkiso y'aba akulaba; oyo Kitaawo alaba ebiri mu nkiso alikuweera.
19
“Temwekuŋŋaanyirizanga bya bugagga kuno ku nsi ennyenje n'obutalagge mwe bibwonoonera, n'ababbi gye bamenya ne babubba,
20
wabula obugagga bwammwe mubwekuŋŋaanyirizenga mu ggulu eyo ennyenje n'obutalagge gye bitabwonoonera n'ababbi gye batamenya kububba,
21
kubanga awabeera obugagga bwo, eyo era n'omutima gwo gye gulibeera.
22
“Eriiso ye ttawaaza y'omubiri. Awo nno eriiso lyo bwe liba eddamu, n'omubiri gwo gwonna gutangaala.
23
Naye eriiso lyo bwe liba eddwadde, omubiri gwo gwonna gujja kubeera mu nzikiza. Kale obanga ekitangaala ekikulimu nzikiza, enzikiza eyo nga nnyingi!
24
“Mpaawo ayinza kuweereza baami babiri; kubanga oba alikyawako omu n'ayagala omulala, oba alyesiba ku omu omulala n'amunyooma. Temuyinza kuweereza Katonda na byabugagga.
25
“Kyenva mbagamba nti temweraliikiriranga bulamu bwammwe, nti munaalya ki, oba nti munaanywa ki, newandibadde omubiri gwammwe nti munaayambala ki. Obulamu si bwe bukira emmere n'omubiri si gwe gukira ekyokwambala?
26
Mutunuulire ebinyonyi eby'omu bbanga, tebisiga wadde okukungula wadde okukuŋŋaanyiza mu byagi, sso Kitammwe ali mu ggulu abiriisa. Mmwe temuli ba muwendo okubisinga?
27
Ani mu mmwe, ne bwe yeeraliikirira atya, ayinza okwongera omukono ogumu ku buwanvu bwe?
28
N'ebyokwambala lwaki mubyeraliikirira? Mwetegereze amalanga g'okuttale, tegakola wadde okulanga engoye,
29
naye, ka mbabuulire, newandibadde Solomoni mu kitiibwa kye kyonna, teyayambalanga ng'erimu ku go.
30
Kale obanga omuddo ogw'oku ttale oguliwo leero enkya ne gusuulibwa mu kabiga, Katonda agwambaza bw'atyo, talisingawo nnyo okubambaza, mmwe ab'okukkiriza okutono?
31
Awo nno temweraliikiriranga, nga mugamba nti: ‘Tunaalya ki?’ oba nti: ‘Tunaanywa ki?’ oba nti: ‘Tunaayambala ki?’
32
Ab'amawanga bettanira ebyo byonna; ye Kitammwe ow'omu ggulu amanyi ng'ebyo byonna mubyetaaga.
33
Musookenga kunoonya bwakabaka bwe na butuukirivu bwe, n'ebyo byonna biribongerwako.
34
Awo nno mulekenga kweraliikirira lwa nkya; olw'enkya lulyeraliikirira ebyalwo. Olunaku lubeera n'emitawaana gyalwo egirumala.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28