bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 15
Matthew 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 16 →
1
Awo Abafarisaayo n'abawandiisi ne bava e Yeruzaalemu, ne bajja awali Yezu, ne bagamba nti:
2
“Abayigirizwa bo ekibamenyesa empisa z'abakadde kiki! Kubanga tebanaaba mu ngalo nga bagenda okulya emmere.”
3
N'abaanukula nti: “Nammwe ekibamenyesa ekiragiro kya Katonda okubeera empisa zammwe kiki?
4
Kale Katonda yagamba nti: ‘Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa.’ Ate nti: ‘Avumanga kitaawe oba nnyina, wa kuttibwanga.’
5
Sso mmwe mugamba nti: ‘Oli bw'agambanga kitaawe oba nnyina nti: “Kye wandinfunyeeko kati kitone,” oyo teyeetaaga kuwa kitaawe oba nnyina kitiibwa.’
6
Ne mudibya mutyo ekigambo kya Katonda olw'okubeera empisa zammwe.
7
Bakuusa mmwe, Yisaaya yalanga bulungi ku mmwe bwe yagamba nti:
8
“ ‘Abantu bano bampa ekitiibwa kya ku mumwa bumwa; emitima gyabwe gindi wala.
9
Okusinza kwe bansinzaamu temuli kantu; enjigiriza gye bayigiriza mateeka g'abantu.’ ”
10
Awo n'ayita ekibiina w'ali n'agamba nti: “Muwulire era mutegeere.
11
Ekiyingira mu kamwa si kye kyonoona omuntu, wabula ekifuluma mu kamwa; ekyo kye kyonoona omuntu.”
12
Awo abayigirizwa be ne basembera ne bamugamba nti: “Omanyi ng'Abafarisaayo banyiize bwe bawulidde ekigambo ekyo?”
13
Ye n'ayanukula n'agamba nti: “Buli muti Kitange ali mu ggulu, gw'atasimba, gulisimbulwa.
14
Mubaleke abo; bakulembeze abazibe b'amaaso. Sso muzibe bw'akulembera muzibe munne, bombi bagwa mu bunnya.”
15
Petero n'addamu nti: “Tuvvuunule olugero luno.”
16
N'agamba nti: “Nammwe temunnaba kutegeera?
17
Temulaba nga buli kintu ekiyingira mu kamwa, kigenda mu lubuto, ne kisuulibwa ebweru mu kiyigo?
18
Sso ebifuluma mu kamwa biva mu mutima; ebyo bye byonoona omuntu.
19
Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obutemu, obwenzi, obukaba, obubbi, okulimba mu kujulira, n'okuwaayiriza.
20
Ebyo bye byonoona omuntu; naye okulya n'engalo ezitali nnaabe tekyonoona muntu.”
21
Yezu n'ava awo n'alaga mu bitundu by'e Tiiro ne Sidoni.
22
Awo omukazi Omukanaani okuva erudda eyo, n'ajja, n'akoowoola ng'agamba nti: “Nsaasira, Mukama, Omwana wa Dawudi; muwala wange ajoonyesebwa nnyo omwoyo omubi.”
23
Naye ye n'atamunyega kigambo. Abayigirizwa be ne basembera ne bamwegayirira nga bagamba nti: “Mugobe; ajja atuleekaanira.”
24
Ye n'ayanukula nti: “Saatumirwa balala, wabula endiga ez'omu nnyumba ya Yisirayeli ezaabula.”
25
Omukazi n'ajja n'amuvunnamira n'agamba nti: “Mukama, nnyamba.”
26
N'ayanukula n'agamba nti: “Si kirungi kuddira mmere y'abaana n'ogikasukira embwa.”
27
Omukazi n'agamba nti: “Weewaawo, Mukama, naye era n'embwa zirya obukunkumuka obuva ku mmeeza ya bakama baazo.”
28
Awo Yezu n'ayanukula nti: “Mukazi ggwe, okukkiriza kwo nga kunene! Kale kikukolerwe nga bw'oyagala.” Amangu ago omuwala n'awona.
29
Yezu n'ava awo, n'ayitira ku nnyanja y'e Galilaaya. N'ayambuka mu nsozi, n'atuula eyo.
30
Ebibiina binene ne bijja w'ali nga baleese abalema, abagongobavu, bamuzibe, bakasiru, n'abalala bangi. Ne babassa ku bigere bye n'abawonya;
31
ebibiina ne byewuunya ng'abantu balaba bakasiru bayogera, abagongobavu nga bazzeewo, abalema nga batambula, ne bamuzibe nga balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Yisirayeli.
32
Awo Yezu n'ayita abayigirizwa be w'ali, n'abagamba nti: “Ekibiina kino kinkwasa ekisa; kubanga babadde nange kati ennaku ssatu, ate nga tebalina kye balya. Saagala kubasiibula njala, sikulwa nga bagwa ku kkubo.”
33
Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Tunaggya wa mu ddungu muno emigaati emingi bwe gityo eginakkusa ekibiina ekinene bwe kiti?”
34
Yezu n'abagamba nti: “Mulinawo emigaati emeka?” Ne bamugamba nti: “Musanvu n'obwennyanja butono.”
35
Awo n'alagira ekibiina okukkalira wansi.
36
N'akwata emigaati omusanvu n'ebyennyanja, ne yeebaza, n'abimenyamu, n'akwasa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagabira ekibiina.
37
Bonna ne balya ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya ebisero musanvu ebijjudde obutundutundu obwalema.
38
Abaalya baawera abasajja enkumi nnya, obutabala bakazi na baana.
39
Bwe yamala okusiibula ekibiina, n'asaabala mu lyato n'agenda mu kitundu ky'e Magadani.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28