bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 14
Matthew 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 15 →
1
Mu budde obwo, Erode omufuzi atwala ekitundu yawulira ettutumu lya Yezu,
2
n'agamba abaweereza be nti: “Ono ye Yowanna Batista; azuukidde mu bafu, amaanyi ago kyegava gakola mu ye.”
3
Kubanga Erode yali akutte Yowanna n'amusiba, n'amuteeka mu kkomera, olw'okubeera Erodiya muka Filippo muganda we,
4
kubanga Yowanna yamugambanga nti: “Tokkirizibwa kumwezza.”
5
Yayagalanga okumutta, naye n'atya abantu, kubanga baali bamutwala ng'omulanzi.
6
Naye olunaku olw'amazaalibwa ga Erode bwe lwatuuka, muwala wa Erodiya n'azina mu ddiiro, n'asanyusa Erode.
7
Erode n'atuuka n'okumusuubiza nga bw'alayira nti ajja kumuwa kyonna ky'anaasaba.
8
Ng'afukuutiriddwa nnyina, n'agamba nti: “Mpa wano kati omutwe gwa Yowanna Batista ku ssowaani.”
9
Kabaka n'anakuwala. Naye olw'okubeera ebirayiro bye yali alayidde n'olw'okubeera abagenyi be, n'alagira gumuweebwe.
10
N'atuma, n'atemako Yowanna omutwe mu kkomera,
11
omutwe gwe ne guleetebwa ku ssowaani, ne guweebwa omuwala, ye n'agutwalira nnyina.
12
Abayigirizwa be ne bajja, ne batwala omulambo ne baguziika; ne bagenda ne babuulira Yezu.
13
Yezu bwe yawulira ebyo, eyo n'avaayo mu lyato, n'agenda mu kifo eky'esuddeko ebbali yekka. Naye ebibiina bwe byawulira, abantu ne bamugoberera ku bigere nga bava mu bibuga.
14
Bwe yagoba ku mwalo, n'alaba ekibiina kinene; ne bamukwasa ekisa, n'awonya abalwadde baabwe.
15
Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne bamusemberera ne bagamba nti: “Ekifo kino kyesudde n'obudde buyise; siibula ekibiina abantu bagende mu bibuga beegulireyo emmere gye banaalya.”
16
Naye Yezu n'abagamba nti: “Tewali kibatwala; mmwe mubawe kye banaalya.”
17
Ne bamuddamu nti: “Tetulinaawo kantu wano okuggyako emigaati etaano gyokka, n'ebyennyanja bibiri.”
18
N'abagamba nti: “Mubindeetere wano.”
19
Awo n'alagira abantu okubatuuza wansi ku muddo; n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula ku ggulu, ne yeebaza, emigaati n'agimenyamu, n'agiwa abayigirizwa be, abayigirizwa ne bagigabira abantu.
20
Bonna ne balya ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya ebisero kkumi na bibiri ebijjudde obutundutundu obwalema.
21
Abaalya bonna baali abasajja enkumi ttaano, obutabala bakazi na baana.
22
Amangu ago n'awaliriza abayigirizwa be okusaabala mu lyato, bamukulemberemu, balage emitala w'eri, ye nga bw'asiibula ekibiina.
23
Bwe yamala okusiibula ekibiina, n'ayambuka ku lusozi n'abeera eyo yekka nga yeegayirira. Obudde ne buwungeera ng'akyali eyo yekka.
24
Lyo eryato kati lyali sitadiyo nnyingi okuva ku lukalu, amayengo nga galisunda, kubanga empewo yali ebafuluma mu maaso.
25
Mu kisisimuka ekyokuna n'ajja gye bali ng'atambula ku nnyanja.
26
Abayigirizwa bwe baamulaba ng'atambula ku nnyanja, ne beesisiwala, ne bagamba nti: “Ogwo muzimu!” ne bawowoggana olw'okutya.
27
Amangu ago Yezu n'ayogera gye bali, n'abagamba nti: “Mugume; ye Nze. Temutya.”
28
Petero n'ayanukula nti: “Mukama, oba ggwe wuuyo, ndagira nzije gy'oli ku mazzi.”
29
N'agamba nti: “Jjangu.” Petero n'ava mu lyato, n'atambula ku mazzi, n'agenda eri Yezu.
30
Naye bwe yalaba empewo nga nnyingi, n'atya; n'atandika okukka; n'aleekaana ng'agamba nti: “Mukama, mponya.”
31
Amangu ago Yezu n'agolola omukono n'amukwata, n'amugamba nti: “Ggwe ow'okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?”
32
Bwe baamala okusaabala mu lyato, empewo n'ekoma.
33
Abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti: “Mazima, oli Mwana wa Katonda.”
34
Bwe baawunguka, ne batuuka mu nsi y'e Gennesareti.
35
Ab'omu nsi eyo olwamutegeera, ne batuma buli wantu wonna mu nsi eyo, ne bamuleetera abalwadde bonna.
36
Ne bamwegayirira waakiri bakome ku lukugiro lw'ekyambalo kye; bonna abaalukomako ne bawonyezebwa.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28