bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 25
Matthew 25
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 26 →
1
“Olwo obwakabaka obw'omu ggulu bulifaanaanyirizibwa abawala ekkumi abaakwata ettawaaza zaabwe ne bagenda okwaniriza awasizza.
2
Abataano ku bo baali babuyabuya, naye abalala abataano nga balabufu.
3
Kubanga abataano ababuyabuya, bwe baakwata ettawaaza zaabwe, tebaatwalirako muzigo.
4
Abalabufu bo ne batwala omuzigo mu ccupa wamu n'ettawaaza zaabwe.
5
Awasa bwe yalwawo okutuuka, bonna ne basumagira, ne beebaka.
6
Eyo mu ttumbi, ne wabaawo obuluulu nti: ‘Awasa wuuyo! Mufulume mumusisinkane.’
7
Abawala bali bonna ne basituka, ne balongoosa ettawaaza zaabwe.
8
Ababuyabuya ne bagamba abalabufu nti: ‘Mutuwe ku muzigo gwammwe, kubanga ettawaaza zaffe zizikira.’
9
Abalabufu ne baddamu nga bagamba nti: ‘Oba oli awo ne gutatumala, ffe nammwe. Ekisinga mugende mu batunzi mwegulireyo.’
10
Baali bagenze okwegulira, awasa n'atuuka; abaali beetegese ne bayingira wamu naye ku mbaga, omulyango ne guggalibwa.
11
Oluvannyuma abawala abaasigalira ne bajja, nga bagamba nti: ‘Ssebo, ssebo, tuggulirewo.’
12
Ye n'ayanukula nti: ‘Mazima mbagamba nti nze sibamanyi.’
13
Awo nno mwekuumenga, kubanga temumanyi lunaku na kaseera.”
14
“Era kiriba ng'omuntu eyali agenda olugendo, eyayita abaweereza be, n'abakwasa ebintu bye,
15
omu n'amukwasa talenta ttaano, omulala bbiri, n'omulala emu ng'alabira ku busobozi bwa buli omu. N'agenda.
16
Eyaweebwa talenta ettaano n'agenda mangu, n'azisuubuza, n'aviisaamu talenta endala ttaano.
17
Eyaweebwa ebbiri naye bwe yakola, naviisaamu endala bbiri.
18
Naye eyaweebwa talenta emu, n'agenda n'asima mu ttaka, n'akukulira omwo ensimbi za mukama we.
19
Oluvannyuma lw'ebbanga ddene, mukama w'abaweereza abo n'atuuka, n'atereeza nabo ebibye.
20
Eyafuna talenta ettaano n'asembera, n'aleeta talenta endala ttaano, n'agamba nti: ‘Ssebo, wankwasa talenta ttaano; laba, naviisaamu endala ttaano.’
21
Mukama we n'amugamba nti: ‘Weebale, omuweereza omulungi omwesigwa, kubanga wali mwesigwa mu bitono, nzija kukukwasa ebingi. Kale yingira mu ssanyu lya mukama wo.’
22
Eyaweebwa talenta ebbiri n'asembera n'agamba nti: ‘Ssebo, wankwasa talenta bbiri; laba naviisaamu endala bbiri.’
23
Mukama we n'amugamba nti: ‘Weebale omuweereza omulungi, omwesigwa; kubanga wali mwesigwa mu bitono, nzija kukukwasa ebingi. Kale yingira mu ssanyu lya mukama wo.’
24
N'eyafuna talenta emu n'asembera, n'agamba nti: ‘Ssebo, nkumanyi ng'oli muntu mukalubo; okungula gy'otaasiga, okuŋŋaanya gy'otaawewera.
25
Natya; kwe kugenda talenta yo ne ngikukulira mu ttaka; kwata ekikyo.’
26
Mukama we n'addamu n'amugamba nti: ‘Muweereza ggwe omubi, engajaba! Wamanya nga nkungula gye saasiga, nkuŋŋaanya gye saawewera,
27
wali nno oteekwa ensimbi zange okuziwa abawaanyisa b'ensimbi; bwe nandikomyewo, ne nfuna ekyange ko n'amagoba.
28
Kale, talenta mugimuggyeeko, mugiwe oli alina ekkumi,
29
Kubanga buli alina aliweebwa n'afuna na biyitirivu; naye atalina ne ky'alina kirimuggyibwako.
30
Omuweereza ono entagasa mumukasuke ebweru mu nzikiza, eyo eriba okukaaba n'okuluma obujiji.’
31
“Omwana w'Omuntu bw'alijja mu kitiibwa kye, wamu ne bamalayika be bonna, olwo alituula ku nnamulondo ye ey'ekitiibwa.
32
Amawanga gonna ne gakuŋŋaanira mu maaso ge, n'abaawulamu kinnoomu ng'omusumba bw'ayawula endiga mu mbuzi.
33
Alissa endiga ku mukono gwe ogwa ddyo, naye embuzi ku gwa kkono.
34
Awo kabaka aligamba abo abalimubeera ku mukono ogwa ddyo, nti: ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabategekerwa okuva ensi lwe yabangibwawo.
35
Kubanga bwe nali nnumwa enjala, mwampa ku kyokulya; bwe nali nnumwa ennyonta, mwampa ku kyokunywa; bwe nali omugenyi mwannyaniriza;
36
bwe nali obwereere, mwannyambaza; bwe nali omulwadde, mwannambula; bwe nali mu kkomera, mwantuukako.’
37
Awo abatuukirivu balimuddamu nti: ‘Mukama, twakulaba ddi ng'olumwa enjala, ne tukuliisa; ng'olumwa ennyonta, ne tukuwa ekyokunywa?
38
Twakulaba ddi ng'oli mugenyi ne tukwaniriza; ng'oli bwereere ne tukwambaza?
39
Era twakulaba ddi ng'oli mulwadde, oba omusibe mu kkomera, ne tukulambula?’
40
Kabaka alibaddamu nti: ‘Mazima mbagamba nti nga bwe mwakikolera omu ku baganda bange bano abasingayo obuto, mwakikolera nze.’
41
Awo aligamba abo abalibeera ku mukono gwe ogwa kkono nti: ‘Bavumirire mmwe, muve we ndi, mugende mu muliro ogutaggwaawo ogwategekerwa Sitaani ne bamalayika be;
42
Kubanga nali nnumwa enjala, ne mutampa kyakulya, nali nnumwa ennyonta, ne mutampa kyakunywa;
43
nali mugenyi ne mutannyaniriza, nali bukunya ne mutannyambaza; nali mulwadde ne mu kkomera, ne mutannambula.’
44
Awo nabo balimuddamu nti: ‘Mukama, twakulaba ddi ng'olumwa enjala, oba ng'olumwa ennyonta, oba ng'oli mugenyi, oba ng'oli bwereere, oba ng'oli mulwadde, oba ng'oli mu kkomera ne tutakuweereza?’
45
Alibaddamu ng'abagamba nti: ‘Mazima mbagamba nti nga bwe mwagaana okukikolera omu ku basingayo obuto bano, mwagaana kukikolera nze.’
46
Abo nno baligenda mu kibonerezo ekitaggwaawo; abatuukirivu bo mu bulamu obutaggwaawo.”
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28