bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 17
Matthew 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 18 →
1
Nga wayise ennaku mukaaga, Yezu n'atoola Petero ne Yakobo ne Yowanna muganda we, n'abambusa ku lusozi oluwanvu ku bbali bokka,
2
n'afuuka mu maaso gaabwe; amaaso ge ne gayakaayakana ng'enjuba, ebyambalo bye nga byeru ng'ekitangaala.
3
Awo ne balabikirwa Musa ne Eliya; baali boogera naye.
4
Awo Petero n'agamba Yezu nti: “Mukama, kirungi ffe okubeera wano; obanga oyagala, nzija kukola wano ensiisira ssatu: emu yiyo, emu ya Musa n'emu ya Eliya.”
5
Yali akyayogera atyo, ekire ekitangalijja ne kibabuutikira; eddoboozi ne liva mu kire, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe neesiimiramu, mumuwulirenga.”
6
Abayigirizwa bwe baawulira, ne bagwa ku maaso gaabwe, ne batya nnyo.
7
Yezu n'asembera n'abakwatako, n'abagamba nti: “Musituke, muleke kutya.”
8
Bwe baayimusa amaaso, nga tebakyalabawo mulala, wabula Yezu yekka.
9
Bwe baali baserengeta olusozi, Yezu n'abalagira nti: “Kye mulabye temukibuulirangako muntu okutuusa Omwana w'Omuntu ng'amaze okuzuukira mu bafu.”
10
Awo abayigirizwa ne bamubuuza ne bamugamba nti: “Ate lwaki abawandiisi bagamba nti Eliya alina okusooka okujja?”
11
N'ayanukula n'abagamba nti: “Kituufu Eliya ajja, era ajja kutereeza byonna.
12
Naye nze mbagamba nti Eliya yajja dda, ne batamutegeera, wabula ne bamukola kyonna kye baayagala. N'Omwana w'Omuntu bw'atyo bw'agenda okubonaabonera mu mikono gyabwe.”
13
Awo abayigirizwa be ne bategeera nga yali ayogera ku Yowanna Batista.
14
Bwe baatuuka awali ekibiina, omusajja n'ajja w'ali, n'amufukaamirira, n'agamba nti:
15
“Mukama, saasira mutabani wange, kubanga agwa ensimbu, mulwadde nnyo; agwa lutata mu muliro, ne mu mazzi lunye.
16
Abayigirizwa bo namubaleetera, ne batasobola kumuwonya.”
17
Yezu n'ayanakula n'agamba nti: “Owa, ezzadde lino eritakkiriza, eryonoonefu! Ndituusa wa okubeera nammwe? Ndituusa wa okubagumiikiriza? Mumundeetere wano.”
18
Awo Yezu n'akabukira omwoyo omubi, ne gumuvaako; omulenzi n'awonera ddala okuva mu kaseera ako.
19
Abayigirizwa be ne bajja gy'ali mu kyama, ne bagamba nti: “Lwaki ffe tetwasobodde kugugoba?”
20
Yezu n'abagamba nti: “Lwa kubeera kukkiriza kwammwe okutono. Mazima mbagamba nti singa muba n'okukkiriza okwenkana ng'empeke ya kaladaali, mwandigambye olusozi luno nti: ‘Vva wano, genda eri,’ ne lugenda; tewaliba kantu ke mutalisobola.”
22
Bwe baali bakyakuŋŋaana mu Galilaaya, Yezu n'abagamba nti: “Omwana w'Omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu;
23
balimutta, kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.” Ne banakuwala nnyo.
24
Bwe baatuuka e Kafarunawumu, abasolooza b'ekitundu kya sekeli ne bajja eri Petero, ne bamugamba nti: “Mukama wammwe tawa kitundu kya sekeli?”
25
Ye n'addamu nti: “Awa.” Bwe yayingira mu nnyumba, Yezu n'amwesooka n'amugamba nti: “Simoni, olowooza otya? Bakabaka b'ensi bawooza ku baani empooza oba omusolo? Ku baana baabwe bennyini nandiki ku balala?”
26
N'agamba nti: “Ku balala.” Awo Yezu n'amugamba nti “Awo nno abaana ba ddembe.
27
Kyokka obutabeesittaza, genda mu nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja ekinaasooka okwambuka kikwate; bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoosangamu sekeli; gitwale ogibawe ku lwange ne ku lulwo.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28