bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 28
Matthew 28
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
1
Sabbaato bwe yaggwa, mu matulutulu ku lusooka mu wiiki, Mariya Magudalena ne Mariya omulala ne bajja okulaba entaana.
2
Ne wasituka musisi ow'amaanyi, kubanga malayika w'Omukama yakka n'ava mu ggulu n'ajja n'ayiringisaawo ejjinja, n'alituulako.
3
Yali afaanana ng'ekimyanso, n'ekyambalo kye nga kyeru ng'omuzira.
4
Abakuumi ne batekemuka olw'okumutya, ne baba ng'abafudde.
5
Malayika n'agamba abakazi nti: “Muleke kutya; mmanyi nga munoonya Yezu eyakomererwa ku musaalaba.
6
Muno taliimu; anti azuukidde, nga bwe yagamba. Mujje mulabe ekifo mwe yabadde agalamidde.
7
Mugende mangu mubuulire abayigirizwa be nti azuukidde, abeesooseeyo mu Galilaaya; eyo gye mulimulabira. Kale mbabuulidde.”
8
Ne bafuluma mangu mu ntaana n'ensisi ate n'essanyu lingi, ne baddukanako okubuulira abayigirizwa be.
9
Yezu n'abasisinkana, n'agamba nti: “Mirembe!” Bo ne bajja ne bavumbagira ebigere bye ne bamusinza.
10
Awo Yezu n'abagamba nti: “Temutya mugende mubuulire baganda bange, bagende e Galilaaya, eyo gye balindabira.”
11
Abakazi baba bakyagenda, abamu ku bakuumi ne bagenda mu kibuga, ne babuulira bakabona abakulu byonna ebyali bifuddeyo.
12
Bakabona abakulu ne bakuŋŋaana wamu n'abakadde, ne bateesa, ne bawa abaserikale omuwendo gw'ensimbi,
13
ne babagamba nti: “Mugambe nti: ‘Abayigirizwa be bazze ekiro ne bamubbamu ffe nga twebase.’
14
Ekyo bwe kinaatuuka ku wessaza, ffe tujja kumumatiza, mmwe tubawonye emitawaana.”
15
Bo ne batwala ensimbi, ne bakola nga bwe baabalagira. Olugambo olwo ne lulaalaasibwa mu Bayudaaya n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
16
Awo abayigirizwa ekkumi n'omu ne bagenda e Galilaaya, ku lusozi Yezu lwe yabalagira.
17
Bwe baamulaba ne bamusinza; naye abamu ne babuusabuusa.
18
Yezu n'abasemberera, n'abagamba nti: “Obuyinza bwonna mu ggulu ne mu nsi bwampeebwa.
19
Kale nno mugende muyigirize amawanga gonna, nga mubabatiza mu linnya lya Taata n'erya Mwana n'erya Mwoyo Mutuukirivu.
20
Mubayigirize okukwata byonna bye nabalagira. Nange ndi nammwe ennaku zonna okutuusa ku nkomerero y'emirembe.”
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28