bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 12
Matthew 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 13 →
1
Awo mu budde obwo, Yezu yayita mu nnimiro z'eŋŋano ku Sabbaato; abayigirizwa be enjala yali ebaluma, ne batandika okunuula ebirimba by'eŋŋano nga balya.
2
Abafarisaayo bwe baabalaba, ne bamugamba nti: “Laba, abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukola ku Sabbaato.”
3
N'abagamba nti: “Temusomanga Dawudi kye yakola, bwe yalumwa enjala, ye n'abaali naye,
4
nga bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya Emigaati egy'Okwolesebwa egyali gimuzira okulya, ye n'abaali naye, wabula bakabona bokka?
5
Oba temusomanga mu tteeka nga ku Sabbaato bakabona mu Kiggwa boonoona Sabbaato ne bataba na musango?
6
Ka mbabuulire, wano waliwo n'akira Ekiggwa ekitiibwa.
7
Naye muba kumanya kino kye kitegeeza, nti: ‘Njagala kisa sso si kitambiro,’ temwandinenyezza bataliiko musango,
8
kubanga Omwana w'Omuntu ye mukama wa Sabbaato.”
9
Awo Yezu n'ava awo, n'ayingira mu sinaagooga yaabwe.
10
Mwalimu omuntu ow'omukono omukalu. Ne bamubuuza nti: “Kisaanye okuwonya ku Sabbaato?”, balyoke bamuwawaabire.
11
Ye n'abagamba nti: “Ani muntu mu mmwe abeera n'endiga n'egwa mu bunnya ku Sabbaato, atagikwata n'agiggyamu?
12
Omuntu ng'asingira wala endiga omuwendo! Awo nno kisaanye okukolera obulungi ku Sabbaato.”
13
Awo n'agamba omusajja nti: “Golola omukono gwo.” N'agugolola; ne guddirawo ddala, gwonna omulamba ng'omulala.
14
Abafarisaayo ne bafuluma, ne bagenda ne bamuteesaako nga bwe banaamuzikiriza.
15
Yezu bwe yakimanya, n'avaawo. Bangi ne bamugoberera, n'abawonya bonna.
16
N'abakomako obutamwatuukiriza.
17
Yisaaya omulanzi kye yalanga kituukirire nti:
18
“Wuuno omuweereza wange gwe nalonda, omwagalwa wange, omwoyo gwange gwe gwesiimiramu. Ndimussaako Mwoyo wange, alibuulira amawanga obutuukirivu.
19
Talikaayana wadde okuleekaana, era tewaliba awulira ddoboozi lye mu nguudo;
20
olumuli olumenyese talirukutula, n'enfuuzi enyooka taligizikiza, okutuusa lw'alituusa obutuukirivu ku buwanguzi;
21
n'amawanga mu linnya lye mwe galisuubirira.”
22
Awo ne bamuleetera omuntu akwatiddwa omwoyo omubi, nga muzibe wa maaso ate nga kasiru, n'amuwonya, kasiru n'asobola okwogera n'okulaba n'alaba.
23
Abantu bonna ne bawuniikirira, ne bagamba nti: “Ono teyandiba Omwana wa Dawudi?”
24
Naye Abafarisaayo bwe baakiwulira, ne bagamba nti: “Ono emyoyo emibi tagigoba ku bwa mulala, okuggyako Beelizebuli, omukulu w'emyoyo emibi.”
25
Bwe yamanya bye balowooza, n'abagamba nti: “Buli bwakabaka obwetemamu bwa kuzikirira; tewali kibuga oba ennyumba ebyetemamu bijja kunywera.
26
Oba Sitaani agoba Sitaani, awo nno yeetemyemu; obwakabaka bwe bunaanywera butya?
27
Oba nze ngoba emyoyo emibi ku bwa Beelizebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? Olwekyo kyebaliva babeera abalamuzi bammwe.
28
Naye obanga ngoba emyoyo emibi ku lwa Mwoyo wa Katonda, awo nno obwakabaka bwa Katonda bubatuuseeko.
29
Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y'omuntu ow'amaanyi n'anyaga ebibye, wabula ng'asoose okusiba ow'amaanyi? Olwo anaasobola okunyagulula ennyumba ye.
30
Ataba nange, aba mulabe wange; atakuŋŋaanya nange, asaasaanya.
31
Ka mbabuulire, Buli kibi na buli kuvuma Katonda birisonyiyibwa, naye alivuma Mwoyo Mutuukirivu, talisonyiyibwa.
32
Na buli muntu alyogera ekigambo ku Mwana w'Omuntu, kirimusonyiyibwa, naye alyogera ku Mwoyo Mutuukirivu talisonyiyibwa, kibeere mu mirembe gino oba mu mirembe egirijja.
33
“Omuti mugukole nga mulungi, n'ekibala kyagwo kiba kirungi; omuti mugukole nga mubi, n'ekibala kyagwo kiba kibi; kubanga omuti gutegeererwa ku kibala kyagwo.
34
Mmwe ezzadde ly'amasalambwa, muyinza mutya okwogera obulungi sso nga muli babi? Anti ku bijjudde mu mutima akamwa kwe kaggya bye koogera.
35
Omuntu omulungi, ku birungi by'aterese kw'atoola ebirungi. N'omuntu omubi, ku bibi by'aterese kw'atoola ebibi.
36
“Ka mbabuulire, ku lunaku olw'okulamulibwa abantu balibitebya olwa buli kigambo ekyensumattu kye boogera,
37
kubanga olyejjeerezebwa okusinziira ku bigambo byo, oba olisalirwa omusango okukusinga okusinziira ku bigambo byo.”
38
Awo abamu ku bawandiisi ne ku Bafarisaayo ne bamuddamu nga bagamba nti: “Muyigiriza, twagala okulaba akabonero okuva gy'oli.”
39
Ye n'abaddamu nti: “Ezzadde ebbi era esseegu lisaba akabonero; naye tewali kabonero kajja kuliweebwa, wabula akabonero ka Yona omulanzi,
40
kubanga nga Yona bwe yabeera mu lubuto lw'ekyennyanja ekinene ennaku essatu n'ebiro bisatu, n'Omwana w'Omuntu bw'aliba atyo wansi mu ttaka ennaku essatu n'ebiro ebisatu.
41
“Ab'e Nineve ku kulamulibwa balisituka ne basalira ezzadde lino omusango okulisinga, kubanga bo baabonerera nga Yona ababuulidde; sso nga wano waliwo asinga Yona.
42
Nnaabakyala ow'emaserengeta ku kulamulibwa alisituka wamu n'abantu b'ezzadde lino, n'abasalira omusango okubasinga, kubanga yava ku nkingi z'ensi okuwulira amagezi ga Solomoni, sso nga wano waliwo akira Solomoni.
43
“Omwoyo omugwagwa bwe guva mu muntu, gutambulatambula mu bifo ebikalukalu, nga gunoonya we gunaawummulira, naye ne gubulwa.
44
Awo ne gugamba nti: ‘Nzija kudda mu nnyumba yange mwe nava.’ Bwe gujja, gugisanga nga njereere, eyereddwa, etereezeddwa.
45
Awo ne gugenda guleeta emyoyo emirala musanvu egigukira obubi, ne giyingira ne gisula omwo. Awo embeera y'omuntu ey'oluvannyuma n'eba mbi okukira ey'olubereberye. Bwe kityo bwe kiriba ne ku zzadde lino ebbi.”
46
Yali akyayogera eri ebibiina, nnyina ne baganda be ne bayimirira ebweru nga baagala okwogera naye.
47
Awo oli n'amugamba nti: “Nnyoko ne baganda bo bayimiridde wabweru baagala okwogera naawe.”
48
Eyali amugambye n'amwanukula nti: “Mmange ate ye ani, ne baganda bange be baani?”
49
Awo n'agololera omukono gwe eri abayigirizwa be, n'agamba nti: “Bano ye mmange, be baganda bange,
50
kubanga buli alikola Kitange ali mu ggulu ky'ayagala, ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28