bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 23
Matthew 23
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 24 →
1
Awo Yezu n'ayogera eri ebibiina n'abayigirizwa be, n'agamba nti:
2
“Abawandiisi n'Abafarisaayo batudde ku ntebe ya Musa,
3
byonna bye bagamba mubikwate, mubikole, naye temuyisa nga bo bwe bayisa, kubanga bye bagamba bo tebabikola.
4
Basiba emigugu emizito, egiteetikkika, ne bagissa ku bibegabega by'abantu, sso nga bo tebaagala kuginyeenyako n'akatono na ngalo yaabwe.
5
Mu byonna bye bakola bagenderera abantu babalabe; kyebava beekolera filakiteriya engazi n'ebituttwa ebiwanvu.
6
Baagala ebifo ebisinga ekitiibwa ku bijjulo n'entebe ez'oku mwanjo mu sinaagooga,
7
n'okulamusibwa mu mbuga n'abantu okubayita Rabbi.
8
Mmwe muleke kuyitibwa Rabbi, kubanga omuyigiriza wammwe ali omu, ate mwenna muli ba luganda.
9
Ku nsi temubangako na gwe muyita kitammwe, kubanga mulina Kitammwe omu yekka, ali mu ggulu.
10
Temuyitibwanga Bayigisa, kubanga mulina Omuyigisa omu, Kristu.
11
Asinga obukulu mu mmwe abeerenga muweereza wammwe;
12
kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa; ate buli eyeetoowaza, aligulumizibwa.
13
“Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Kubanga muggalira abantu obwakabaka obw'omu ggulu; mmwe mwennyini temuyingira, n'abandyagadde okuyingira temubaganya kuyingira.
15
“Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Kubanga mutalaaga ennyanja n'olukalu okukyusa omuntu omu mu kiyudaaya, bw'amala okukyuka ne mumusaanyiza Geyenna emirundi ebiri okusinga mmwe.
16
Zibasanze mmwe abakulembeze abazibe b'amaaso! Mugamba nti: ‘Buli alayidde Ekiggwa, ekyo si kantu, naye alayidde zaabu aweerezebwa Ekiggwa, ateekwa okutuukiriza ky'alayidde.’
17
Basiru mmwe abazibe b'amaaso! Ekisinga obukulu kiruwa, zaabu, nandiki Ekiggwa ekitukuza zaabu?
18
“Era mugamba nti: ‘Buli aba alayidde omwaliiro, ekyo si kantu, naye alayidde ekitone ekiriko, ateekwa okutuukiriza ky'alayidde.’
19
Bamuzibe mmwe, ekisinga obukulu kiruwa? Ekitone, nandiki omwaliiro ogutukuza ekitone?
20
Awo nno alayira omwaliiro, agulayira n'alayirirako na byonna ebiguliko.
21
Na buli alayira Ekiggwa, akirayira n'alayiririramu n'oyo akisulamu.
22
Na buli alayira eggulu, alayira nnamulondo ya Katonda n'oyo agituulako.
23
“Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Mutona ekyekkumi ekya nnabbugira, n'eky'aneta n'ekya kontamiiri, ne muleka ebisinga obukulu ebiragirwa mu mateeka: obutuukirivu, ekisa n'okukkiriza; sso ebyo mwanditeekeddwa okubikola nga na biri temubirese.
24
Bakulembeze mmwe abazibe b'amaaso, musengejjako akabu obubu, eŋŋamiya ne mugimira.
25
“Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Kubanga ebikopo n'essowaani mubitukuza kungulu, naye nga munda bijjudde obunyazi n'omululu.
26
Mufarisaayo ggwe omuzibe w'amaaso, sooka otukuze ekikopo n'essowaani munda, kungulu kw'abyo kulyoke nakwo kutukule.
27
“Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Kubanga mufaanana ng'amalaalo amatukuze n'ennoni, agalabika obulungi kungulu, sso nga munda gajjudde eŋŋumbagumba z'abafu, na buli bujama.
28
Nammwe bwe mutyo bwe muli; kungulu abantu mubalabikira ng'abatuukirivu, sso nga munda mujjudde obukuusa n'obugwenyufu.
29
“Zibasanze, mmwe abawandiisi n'Abafarisaayo, bakuusa mmwe! Kubanga muzimba amalaalo g'abalanzi, ne munyiriza ebiggya by'abatuukirivu,
30
ne mugamba nti: ‘Singa twaliwo mu nsangi za bajjajjaffe, tetwandyetabye nabo kuyiwa musaayi gwa balanzi.’
31
Awo nno mwennyini mwerumiriza nga bwe muli abaana ba bali abattanga abalanzi.
32
Kale, mmwe mujjuulirize bajjajjammwe we baalekera.
33
Misota mmwe, abaana b'amasalambwa, mulisobola okudduka okusalirwa omusango gwa Geyenna?
34
“Kale nno nzija kubatumira abalanzi, n'ab'amagezi, n'abawandiisi; abamu mujja kubatta mubakomerere ku misaalaba; abalala mujja kubaswanyuulira mu sinaagooga zammwe, mubayigganye okuva mu kibuga ekimu okudda mu kirala.
35
Awo nno omusaayi gubaddeko ogw'abatuukirivu gwonna ogwali guyiiyiddwa mu nsi okuviira ddala ku musaayi gwa Abeli ataaliko musango, okutuuka ku musaayi gwa Zakariya mutabani wa Barakiya, gwe mwatemulira wakati w'Ekiggwa n'Omwaliiro.
36
Mazima mbagamba nti ebyo byonna birijjira ab'ezzadde lino.
37
“Yeruzaalemu, Yeruzaalemu, ggwe atta abalanzi n'abakutumirwa n'obakuba amayinja! Emirundi emeka gye nayagala okukuŋŋaanya abaana bo ng'enkoko bw'ekumiriza obwana bwayo wansi w'ebiwaawaatiro byayo, n'otaganya?
38
Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa ttayo.
39
Ka mbabuulire, temulindaba okutuusa lwe muligamba nti: ‘Atenderezebwe oyo ajja mu linnya ly'Omukama.’ ”
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28