bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 24
Matthew 24
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 25 →
1
Awo Yezu n'ava mu Kiggwa; aba agenda, abayigirizwa be ne basembera w'ali okumulaga enzimba y'Ekiggwa.
2
Ye n'abaddamu nti: “Ebyo byonna mubirabye? Mazima mbagamba nti wano tewalisigala jjinja liri ku linnaalyo litalisuulibwa wansi.”
3
Bwe yali atudde ku Lusozi lw'Oliva, abayigirizwa be ne basembera w'ali ebbali yekka, ne bagamba nti: “Tubuulire, ebyo biribeerawo ddi, kaluwa akaliba akabonero k'okujja kwo n'ak'enkomerero y'emirembe?”
4
Yezu n'ayanukula n'abagamba nti: “Mwekkaanye, tewabaawo abawubisa.
5
Kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti: ‘Nze Kristu,’ era baliwubisa bangi.
6
Muliwulira entalo, n'eŋŋambo z'entalo. Mwekuume, temwekanganga. Ebyo tebirirema kubaawo; naye yo enkomerero eriba tennatuuka.
7
Kubanga eggwanga lirisitukira mu linnaalyo, n'obwakabaka mu bunnaabwo; walibaawo enjala ne musisi mu bifo ebimu;
8
naye ebyo byonna kwe kusookereza kw'okulumwa.
9
“Balibawaayo okubabonyaabonya ne babatta. Amawanga gonna galibakyawa olw'okubeera erinnya lyange.
10
Bangi baliterebuka, ne balyaŋŋanamu enkwe, ne bakyawagana.
11
Abalanzi ab'obulimba bangi balisituka ne bawubisa bangi.
12
Olw'obugwenyufu okugenda nga bweyongera, bangi okwagala kwabwe kulinnyogoga.
13
Naye aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero alirokoka.
14
N'Evangili eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, ng'obukakafu eri amawanga gonna; olwo nno enkomerero n'eryoka etuuka.
15
“Awo nno bwe muliraba ekyenyinyalwa ekizikiriza, Danyeli omulanzi kye yayogerako, nga kiri mu Kifo Ekitukuvu, asoma bino ategeeranga.
16
Olwo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi;
17
aliba ku kasolya waggulu takkanga kuggyamu kantu mu nnyumba ye,
18
n'alibeera mu nnimiro, taddanga kutwala munagiro gwe.
19
Zibasanze abo abaliba embuto n'abayonsa mu nnaku ezo!
20
Mwegayirire okudduka kwammwe kuleme kutuuka mu budde bwa butiti oba ku Sabbaato.
21
Kubanga mu nnaku ezo mulibaamu ebibonoobono bingi ebitabangawo okuva mu masooka g'ensi n'okutuusa kati, era tebiribaawo nate.
22
Era singa ennaku tezaakendeezebwako, tewandiwonye muntu n'omu; naye, olw'okubeera abalondemu, ennaku ezo zirikendeezebwako.
23
“Awo nno bwe wabangawo abagamba nti: ‘Laba, Kristu wuuno wano,’ oba nti: ‘Wuuli wali!’ temukkirizanga.
24
Kubanga Bakristu ab'obulimba n'abalanzi ab'obulimba bagenda kusituka; balikola obubonero obunene n'ebyewuunyisa okuwubisa n'ewandibadde abalondemu, singa kiyinzika.
25
Laba, mbalabuliddewo.
26
Awo nno ne bwe babagambanga nti: ‘Wuuli mu ddungu,’ temugendangayo; oba nti: ‘Wuuno wano mu nnyumba,’ temukkirizanga.
27
Kubanga ng'ekimyanso bwe kimyansiza ebuvanjuba ne kyaka okutuuka ebugwanjuba, n'okutuuka kw'Omwana w'Omuntu bwe kuliba kutyo.
28
Omulambo we gubeera, n'ensega we zirikuŋŋaanira.
29
“Amangu ng'ebibonoobono eby'ennaku ezo byakaggwa, enjuba eriddugala, omwezi gulirekayo okwaka, n'emmunyeenye zirigwa okuva ku ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa.
30
Awo akabonero k'Omwana w'Omuntu kalirabika ku ggulu; ebika byonna eby'oku nsi ne biryoka bitema ebiwoobe; baliraba Omwana w'Omuntu ng'ajjira ku bire eby'oku ggulu, n'amaanyi mangi, n'ekitiibwa kinene.
31
Alituma bamalayika be n'okuvuga kw'ekkondeere okw'amaanyi ne bakuŋŋaanya abalonde be okuva mu njuyi ennya, okuva ku nsonda emu ey'eggulu okutuuka ku ndala.
32
“Mulabire ku mukunyu; ettabi lyagwo bwe lidda obuto, ne lissaako amakoola, mutegeera ng'obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka.
33
Nammwe nno, bwe mulabanga ebyo byonna, mumanyanga nti ali kumpi, ku miryango kwennyini.
34
Mazima mbagamba nti ezzadde lino teririggwaawo ebyo byonna nga tebinnatuukirira.
35
Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
36
“Kyokka olunaku lwennyini oba akadde tewali abimanyi, newandibadde bamalayika mu ggulu, yadde Mwana, wabula Taata yekka.
37
Ng'obudde bwa Nowa bwe bwali, bwe guliba ne mu kujja kw'Omwana w'Omuntu.
38
Nga bwe gwali mu nnaku ezaakulembera omujjuzi: abantu baali balya, baali banywa, nga bawasa, nga bafumbiza, okutuusa olunaku Nowa lwe yayingira mu kyombo,
39
ne batamanya, okutuusa omujjuzi lwe gwajja ne gubeerawo bonna, n'okujja kw'Omwana w'Omuntu bwe kuliba bwe kutyo.
40
“Abasajja babiri balibeera mu nnimiro, omu alitwalibwa, omulala n'alekebwa.
41
Abakazi babiri baliba basa ku lubengo, omu alitwalibwa, omulala n'alekebwa.
42
Awo nno mutunule, kubanga temumanyi lunaku ki Mukama wammwe lw'alituukirako.
43
Mumanye na kino nti singa nnannyinimu yali ategedde akaseera omubbi k'anajjiramu, yanditunudde, n'ataganya nnyumba ye kumenyebwa.
44
Nammwe nno mwetegekenga, kubanga Omwana w'Omuntu alijja mu kaseera ke mutalowooza.
45
“Awo nno ye ani oyo omuweereza omwesigwa era omwegendereza mukama we gwe yassa ku b'omu nnyumba ye okubawa emmere akadde nga katuuse?
46
Omuweereza oyo yeesiimye mukama we bw'alijja amala amusanga ng'akola bw'atyo!
47
Mazima mbagamba nti alimussa ku bibye byonna.
48
Naye singa omuweereza omubi oyo agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange aludde,’
49
n'asooka okukuba baweereza banne, n'alya, n'anywa n'abatamiivu,
50
mukama w'omuweereza oyo alijja ku lunaku lw'atamusuubira ne mu kaseera k'atamanyi.
51
Alimubonereza nnyo, n'amuteeka n'abakuusa, eyo awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.”
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28