bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 19
Matthew 19
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 20 →
1
Awo Yezu bwe yasirissa ebigambo ebyo, n'avaayo e Galilaaya, n'ajja mu bitundu bya Buyudaaya, emitala wa Yorudani.
2
Ebibiina bingi ne bimugoberera, n'abawonyeza eyo.
3
Abafarisaayo ne basembera w'ali ne bamukema, ne bamubuuza nti: “Omusajja akkirizibwa okugoba mukazi we ng'amulanga buli nsonga yonna?”
4
N'abaanukula nti: “Temusomanga nti eyabakola okuva mu masooka yabakola omusajja n'omukazi?”
5
Era n'agamba nti: “Olw'ekyo omusajja kyaliva alirekanga kitaawe ne nnyina n'agattibwa ne mukazi we; ababiri balifuuka omubiri gumu.
6
Olwo nga tebakyali babiri, wabula omuntu omu. Awo nno Katonda ky'aggasse awamu, omuntu takigattululanga.”
7
Ne bamugamba nti: “Ate Musa yalagirira ki okuwandiika ebbaluwa ey'obugobe n'okumusiibula?”
8
N'abagamba nti: “Musa yabakkiriza okugoba bakazi bammwe olw'okubeera obukakanyavu bw'emitima gyammwe, sso ng'olubereberye si bwe kyali.
9
Awo nno nze mbagamba nti buli agoba mukazi we, wabula mpozzi olw'obwenzi, amala awasa omulala, aba ayenze.”
10
Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Obanga ensonga bwe ziri zityo ku musajja ne mukazi we, tekigwana kuwasa.”
11
Naye ye n'abagamba nti: “Si bonna nti bategeera ekigambo kino, wabula abo abakiweereddwa,
12
kubanga waliwo abalaawo abaazaalibwa bwe batyo, ne wabaawo abalaawo abaalaayibwa abantu, ate ne wabaawo n'abalaawo abeeraawa bokka olw'okubeera obwakabaka obw'omu ggulu. Kino ayinza okukitegeera, ategeere.”
13
Awo abaana ne baleetebwa w'ali abasseeko emikono asabe. Abayigirizwa ne babakomako.
14
Naye Yezu n'abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubaziyiza; kubanga abafaanana nga bano be bannannyini bwakabaka obw'omu ggulu.”
15
N'abassaako emikono, n'agenda.
16
Awo ne wajjawo omu w'ali, n'agamba nti: “Muyigiriza, nnaakola kirungi ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” Ye n'amugamba nti:
17
“Ombuuliza ki ku kirungi? Anti omulungi ali omu; naye obanga oyagala okuyingira mu bulamu, kwata ebiragiro.”
18
N'amugamba nti: “Biri wa?” Yezu n'amugamba nti: “Tottanga; Toyendanga; Tobbanga; Tojuliranga bya bulimba;
19
Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa; Oyagalanga munno nga ggwe wennyini bwe weeyagala.”
20
Omuvubuka n'amugamba nti: “Ebyo byonna nabikwata; nkyabulwako ki ate?”
21
Yezu n'amugamba nti: “Obanga oyagala okutuukirira, genda, tunda by'olina owe abaavu, olwo obugagga olibeera nabwo mu ggulu; ojje ongoberere.”
22
Omuvubuka bwe yawulira ebigambo ebyo, n'agenda nga munakuwavu, kubanga yalina eby'obugagga bingi.
23
Yezu n'agamba abayigirizwa be nti: “Mazima mbagamba nti nga kiriba kizibu abalina obugagga okuyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu!
24
Ka mbabuulire era, kiba kyangu eŋŋamiya okuyita mu nnyindo y'empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”
25
Abayigirizwa bwe baawulira ebyo, ne bawuniikirira nnyo; ne bagamba nti: “Awo nno ani asobola okulokoka?”
26
Yezu n'abatunuulira, n'abagamba nti: “Ku bantu kino tekisoboka, naye ku Katonda byonna bisoboka.”
27
Awo Petero n'addamu, n'amugamba nti: “Kale ffe twaleka byonna ne tukugoberera, kale tulifuna ki?”
28
Yezu n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti mmwe abangoberera, ensi bw'eriba ezziddwa obuggya, Omwana w'Omuntu bw'alituula ku nnamulondo ey'obukulu bwe, nammwe mulituula ku nnamulondo kkumi na bbiri nga mulamula ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli.
29
Ate buli muntu eyaleka amayumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba abaana, oba ebibanja olw'okubeera erinnya lyange, alifuna emirundi kikumi ko n'okusikira obulamu obutaggwaawo.
30
Naye bangi ab'olubereberye baliba ab'oluvannyuma, n'ab'oluvannyuma baliba ab'olubereberye.”
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28