bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 5
Matthew 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 6 →
1
Bwe yalaba ebibiina, n'ayambuka ku lusozi, n'atuula, abayigirizwa be ne bamusemberera.
2
N'ayasamya akamwa ke n'abayigiriza nti:
3
“Beesiimye abaavu mu mwoyo, kubanga obwakabaka bw'omu ggulu bwabwe.
4
Beesiimye abasinda, kubanga balikubagizibwa.
5
Beesiimye abateefu, kubanga balirya ensi.
6
Beesiimye abalumwa enjala n'ennyonta eby'obutuukirivu, kubanga balikkuta.
7
Beesiimye ab'ekisa, kubanga baligirirwa ekisa.
8
Beesiimye ab'omutima omulongoofu, kubanga baliraba Katonda.
9
Beesiimye abaleeta emirembe, kubanga baliyitibwa baana ba Katonda.
10
Beesiimye abayigganyizibwa olw'obutuukirivu, kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bwabwe.
11
Mwesiimye bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe baboogerera buli kigambo kibi kyonna okubeera nze, nga balimba.
12
Musanyuke, mujaguze, kubanga empeera yammwe mu ggulu nnene. Anti bwe batyo bwe baayigganya abalanzi abaabasooka.
13
“Mmwe munnyo gw'ensi. Kale omunnyo bwe gusaabulukuka, gunazzikamu gutya ensa? Guba tegukyalina kye gugasa, wabula okumansibwa ebweru, ne gulinnyirirwa abantu.
14
“Mmwe kitangaala ky'ensi. Ekibuga ekikubiddwa ku lusozi, tekiyinza kukisibwa.
15
Era tebakoleeza ttawaaza ne bagissa mu kibbo, wabula ku kikondo, n'emulisa bonna abali mu nnyumba.
16
Ekitangaala kyammwe kyakire bwe kityo abantu, balabe ebikolwa byammwe ebirungi, balyoke bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.
17
“Muleke kulowooza nga najja kudibya Tteeka oba Abalanzi; sajja kudibya wabula okutuukiriza.
18
Mazima mbagamba nti okutuusa eggulu n'ensi lwe biriggwaawo, mpaawo kanyukuta, yadde akatonnyeze, biriva mu Tteeka okutuusa nga byonna bituukiridde.
19
Awo nno oyo yenna alimenya wadde ekimu ku biragiro bino ebisinga obutono, aliyitibwa asinga obutene mu bwakabaka obw'omu ggulu. Sso alibikwata n'abiyigiriza, aliyitibwa mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu,
20
kubanga, ka mbabuulire, obutuukirivu bwammwe bwe butalikira bwa bawandiisi na Bafarisaayo, temuliyingira mu bwakabaka bwa mu ggulu.
21
“Mwawulira ng'ab'edda baabagamba nti: ‘Tottanga; alitta alisalirwa omusango.’
22
Naye nze mbagamba nti buli yenna alisunguwalira muganda we, alisalirwa omusango. Aligamba muganda we nti: ‘Oli kintuntu!’ alisalirwa omusango mu Lukiiko. Ate aligamba muganda we nti: ‘Oli musiru!’ alisalirwa omusango gw'omuliro gwa Geyenna.
23
Awo nno, bw'obanga otwala ekitone kyo ku mwaliiro, n'ojjuukirira awo nga muganda wo akulinako ekigambo,
24
leka awo ekitone kyo mu maaso g'omwaliiro, osooke ogende otabagane ne muganda wo; awo olyoke odde oweereze ekitone kyo.
25
“Tabagana mangu ne gw'owoza naye nga mukyali mu kkubo, gw'owoza naye aleme kukutwala wa mulamuzi; omulamuzi aleme kukuwa mukuumi, n'osibibwa mu kkomera.
26
Mazima, ka nkubuulire, omwo tolivaamu, okutuusa ng'omaze okusasula akasente akasembayo.
27
“Mwawulira nga baagamba nti: ‘Toyendanga,’
28
naye nze mbagamba nti buli atunuulira omukazi ng'amwegomba, ng'amwenzeeko muli mu mutima gwe.
29
Obanga eriiso lyo erya ddyo likwesittaza, linokolemu olisuule eri, kubanga kisingako ekitundu ekimu ku ggwe okukufa okusinga omubiri gwo gwonna okusuulibwa mu Geyenna.
30
Obanga omukono gwo ogwa ddyo gukwesittaza, gutemeko ogusuule eri; kubanga kisingako okufiirwa ekitundu ekimu ku ggwe okusinga omubiri gwo gwonna okugenda mu Geyenna.
31
“Baagamba era nti: ‘Anaagobanga mukazi we, amuwanga ebbaluwa ey'obugobe.’
32
Naye nze mbagamba nti buli agoba mukazi we, wabula mpozzi olw'obwenzi, aba amusudde mu bwenzi; n'oyo awasa omukazi agobeddwa, aba ayenze.
33
“Era mwawulira ng'ab'edda baabagamba nti: ‘Tolayiriranga bya bulimba; by'olayidde obituukirizanga ew'Omukama.’
34
Naye nze, ka mbabuulire, temulayiranga n'akatono, newandibadde okulayira eggulu, kubanga ye ntebe ya Katonda;
35
newandibadde ensi, kubanga ke katebe k'ebigere bye; n'ewandibadde Yeruzaalemu, kubanga kye kibuga kya Kabaka omukulu;
36
newandibadde omutwe gwo, kubanga oluviiri olumu toyinza kulufuula lweru yadde oluddugavu.
37
Wabula kye mwogera kibenga ‘Yee’ aweetaagisa yee, oba ‘Nedda,’ aweetaagisa nedda; ekisinga ku ebyo kiva mu mubi.
38
“Mwawulira nga baagamba nti: ‘Liiso olw'eriiso, linnyo olw'erinnyo,’
39
Naye nze mbagamba nti teweereeganga na mubi; oli bw'akukubanga ku ttama erya ddyo, omukyusizanga n'eddala.
40
Oli bw'ayagalanga okukutwala mu mbuga okubowa ekkanzu yo, mulekere n'omunagiro,
41
na buli akuwalirizanga okugenda naye ebigere olukumi, genda naye enkumi bbiri,
42
Akusabanga, omuwanga; ne kw'oli ayagala okukwewolako tokyukiranga eri.
43
“Mwawulira nga baagamba nti: ‘Oyagalanga munno, n'okyawa omulabe wo.’
44
Naye nze mbagamba nti mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya,
45
lwe mulibeera abaana ba Kitammwe ali mu ggulu, ayasiza enjuba ye ababi n'abalungi, n'atonnyeseza enkuba ye abatuukirivu n'abatali batuukirivu.
46
Obanga mwagala babaagala, mufunamu mpeera ki? Abasolooza b'omusolo nabo si bakola kye kimu?
47
Obanga mulamusa baganda bammwe bokka, kiki kye mukola kye musinza abalala? Ne bannamawanga si bwe bakola?
48
Awo nno mube batuufu nga Kitammwe ow'omu ggulu bw'ali omutuufu.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28