bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Matthew 8
Matthew 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 9 →
1
Awo Yezu bwe yava ku lusozi, ebibiina bingi ne bimugoberera.
2
Omusajja omugenge n'ajja gy'ali, n'amuvunnamira ng'agamba nti: “Mukama, bw'oyagala, osobola okunnongoosa.”
3
N'agolola omukono gwe, n'amukwatako, n'agamba nti: “Njagala, longooka.” Amangu ago ekigenge kye ne kirongooka.
4
Yezu n'amugamba nti: “Laba nti tobaako gw'obuulira; wabula genda weeyoleke ewa kabona, oweeyo ekitone Musa kye yalagira, ng'obukakafu gye bali.”
5
Bwe yali ayingira mu Kafarunawumu, senturiyo omu n'ajja gy'ali, n'amwegayirira
6
ng'agamba nti: “Mukama, omuweereza wange eka akonzibidde wansi, alumizibwa ekiyitiridde.”
7
Yezu n'amugamba nti: “Kale, ka nzije ntuukeyo, mmuwonye.”
8
Senturiyo n'addamu n'amugamba nti: “Mukama, sisaanidde ggwe kuyingira mu nnyumba yange, wabula yogera bwogezi kigambo, omuweereza wange anaawona,
9
kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nnina n'abaserikale be ntwala. Bwe ŋŋamba omu nti: ‘Genda,’ ng'agenda; n'omulala nti: ‘Jjangu,’ ng'ajja; n'omuddu wange nti: ‘Kino kikole’ ng'akikola.”
10
Yezu bwe yawulira ebyo, ne yeewuunya, n'agamba abaali bamugoberera nti: “Mazima mbagamba nti yadde mu Yisirayeli, sinnasanga kukkiriza kuli ng'okwo.
11
Ka mbabuulire: Bangi baliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba ne batuula wamu ne Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo mu bwakabaka obw'omu ggulu;
12
bo abaana b'obwakabaka ne bagoberwa ebweru mu nzikiza omuliba okukaaba n'okuluma obujiji.”
13
Yezu n'agamba senturiyo nti: “Genda, kikukolerwe nga bw'okkiriza.” Mu kaseera ako kennyini omuweereza n'awona.
14
Yezu bwe yayingira mu nnyumba ya Petero, n'alaba nnyina mukazi we ng'agalamidde wansi alina omusujja;
15
n'amukwata ku mukono, omusujja ne gumuta; n'agolokoka n'amuweereza.
16
Obudde nga buwungedde, ne bamuleetera bangi abakwatiddwa emyoyo emibi; emyoyo n'agigoba na kigambo bugambo, n'awonya bonna abaali abalwadde.
17
Yisaaya omulanzi kye yayogera kituukirire nti: “Yatwala obuyongobevu bwaffe, ne yeetikka endwadde zaffe.”
18
Yezu bwe yalaba ebibiina ebinene ebimwebunguludde, n'alagira baveewo bagende emitala.
19
Awo omuwandiisi omu n'asembera, n'amugamba nti: “Muyigiriza, nzija kukugobereranga yonna gy'onoogendanga.”
20
Yezu n'amugamba nti: “Ebibe birina ebinnya n'ebinyonyi eby'omu bbanga birina ebisu byabyo, naye Omwana w'Omuntu talina w'awunzika mutwe.”
21
Omulala mu bayigirizwa be n'amugamba nti: “Mukama, nzikiriza nsooke ŋŋende nziike kitange.”
22
Yezu n'amugamba nti: “Ngoberera; leka abafu baziike abafu baabwe.”
23
Awo n'asaabala mu lyato, abayigirizwa be ne bamugoberera.
24
Awo omuyaga mungi ne gusituka ku nnyanja, ng'eryato amayengo galibuutikira. Ye yali yeebase.
25
Ne basembera w'ali ne bamuzuukusa, nga bagamba nti: “Mukama, tuwonye; tusaanawo.”
26
N'abagamba nti: “Mutya biki, mmwe ab'okukkiriza okutono?” N'agolokoka, omuyaga n'ennyanja n'abikomako; ne guba mulaala nnyo.
27
Abantu ne beewuunya nga bagamba nti: “Muntu wa kika ki ono okuba nti omuyaga n'ennyanja bimuwulira?”
28
Bwe yatuuka emitala mu nsi y'Abagadara, abantu babiri abakwatiddwa emyoyo emibi ne bajja okumusisinkana nga bava mu biggya; baali bakambwe nnyo nga tewali na muntu ayinza kusala kkubo eryo.
29
Ne bawowoggana nga bagamba nti: “Otwagaza ki ggwe, Omwana wa Katonda? Ozze wano okutubonyaabonya ng'obudde tebunnatuuka?”
30
Kati nno waaliwo eggana ly'embizzi nnyingi nga lirya ewalako okuva we baali.
31
Emyoyo emibi ne gimusaba nti: “Bw'otugobamu, tusindike mu ggana ly'embizzi.”
32
N'agigamba nti: “Mugende.” Ne gibamaamukako, ne gyefubitika mu mbizzi. Awo eggana lyonna ne lifubutuka okuva waggulu ku bbanga, ne lyesolessa mu nnyanja, ne lifiira mu mazzi.
33
Abaali bazirunda ne badduka, ne bagenda mu kibuga, ne banyumya byonna, n'ebya bali abaali bakwatiddwa emyoyo emibi.
34
Awo ekibuga kyonna ne kifuluma okusisinkana Yezu. Bwe baamulaba, ne bamwegayirira ave mu kitundu kyabwe.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28